KAWEEFUBE OW’OKUYITA ABANTU KU KIJJUKIZO
Yesu Ajja Kumalawo Obumenyi bw’Amateeka
Yesu amanyi engeri omuntu gy’awuliramu ng’atuusiddwako ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka era ng’ayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Yesu yawaayirizibwa, yakubibwa, yagezesebwa, yasibibwako emisango era yattibwa mu bulumi. Wadde nga teyalina musango, yawaayo obulamu bwe okuba ekinunulo ku lw’abangi. (Matayo 20:28; Yokaana 15:13) Kati Yesu afuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, era mu kiseera ekitali kya wala ajja kumalawo obutali bwenkanya n’obumenyi bw’amateeka mu nsi yonna.—Isaaya 42:3.
Bayibuli eraga engeri ensi bw’eriba nga Yesu afuga ensi mu bujjuvu nga Kabaka:
“Ababi tebalibaawo; olitunula we baabeeranga, naye tebalibaawo.Naye abawombeefu balisikira ensi, era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”—Zabbuli 37:10, 11.
Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ebyo byonna Yesu by’atukoledde n’ebyo by’ajja okutukolera? Mu Lukka 22:19, Yesu yagamba abagoberezi be okujjukiranga okufa kwe. Eyo ye nsonga lwaki buli mwaka ku lunaku Yesu lwe yafiirako, Abajulirwa ba Yakuwa bakuŋŋaana wamu okujjukira okufa kwe. Tukwaniriza okutwegattako nga tujjukira okufa kwa Yesu ku Ssande, Maaki 24, 2024.