Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Thomas Jackson/Stone via Getty Images

BEERA BULINDAALA!

Engeri gye Tuyinza Okuba n’Essuubi mu 2024—Kiki Bayibuli ky’Egamba?

Engeri gye Tuyinza Okuba n’Essuubi mu 2024—Kiki Bayibuli ky’Egamba?

 Bangi balowooza nti tewali ngeri gye tujja kuvvuunukamu bizibu ebigenda okubaawo mu nsi mu 2024. Naye tusobola okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. Tuyinza kulijja wa?

Bayibuli etuwa essuubi

 Bayibuli egamba nti Katonda ajja kumalawo ebizibu ebireetera obulamu okulabika ng’obutali bwa makulu. Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda agenda kusangula “buli zziga mu maaso [gaffe] era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”Okubikkulirwa 21:4.

Engeri Bayibuli gy’esobola okukuyamba mu kiseera kino

 Bayibuli etuwa essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso era ng’ekyo kisobola okukuyamba okulwanyisa endowooza ezitali nnungi n’oba n’endowooza ennuŋŋamu. (Abaruumi 15:13) Ate era, amagezi agali mu Bayibuli gasobola okukuyamba ng’oyolekagana n’ebizibu gamba ng’obwavu, obutali bwenkanya, n’obulwadde.

 Baako ky’okolawo omwaka 2024 gukubeerere ogw’essanyu awamu n’ab’omu maka go. Laba engeri Bayibuli gy’esobola okukuyambamu. Osobola okuyiga naffe Bayibuli ku bwereere nga tukubaganya ebirowoozo. Laba engeri Katonda gy’asobola okukuyamba okufuna “emirembe” kati, “n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi era n’essuubi.”—Yeremiya 29:11.