Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Akatoffaali Akeewuunyisa

Akatoffaali Akeewuunyisa

Ekitabo ekiyitibwa Nature’s Building Blocks kigamba nti: “Akatoffaali ka carbon ke kasinga okuba ak’omugaso mu bulamu.” Enkula y’akatoffaali ka carbon ekasobozesa okwegatta n’obutaffaali obw’ekikula ekirala okukola ebintu ebitali bimu.

Ng’ebyokulabirako wammanga bwe biraga, obutoffaali bwa carbon era busobola okwegatta ne bunnaabwo ne muvaamu ebintu ebitali bimu. Mu butuufu, akatoffaali ka carbon keewuunyisa!

ALIMANSI

Oluusi obutoffaali bwa carbon bwepanga ng’amasiro, nga buli katoffaali kayungiddwa ku butoffaali bwa ka carbon obulala buna. Obutoffaali obwo bwe bwepanga butyo, kiba kizibu nnyo okubwawulamu, era eyo ye nsonga lwaki ejjinja lya alimansi lye lisingayo obugumu mu mayinja agamanyiddwa. Alimansi alimu butoffaali bwa carbon bwokka.

GRAPHITE

Okusobola okukola graphite, obutoffaali bwa carbon bwepanga ne bukola amasa. Amasa ago gaba ng’empapula ezipangiddwa awamu, nga buli lupapula lusobola okuseerera ne luva ku lunnaalwo. Eyo ye nsonga lwaki oluusi graphite akozesebwa nga giriisi era akozesebwa ne mu kukola obumwa bw’ekkalaamu. *

GRAPHENE

Essa limu erya graphite liyitibwa graphene. Graphene alina obugumu obulinga obw’ekyuma. Olukoloboze lw’okola ng’owandiisa ekkalaamu lusobola okubaamu obububi bwa graphene obuwerako.

FULLERENES

Okusobola okukola fullerenes obutoffaali bwa carbon bwepanga ne bukola obuntu obufaananako ng’omupiira. Obugazi bwabwo babupima nga bakozesa ekipimo ekiyitibwa nanometers. Mu mita emu mulimu nanometer akawumbi kamu.

EBIRAMU

Obutoffaali obusinga obungi obuli mu bimera, mu nsolo, ne mu bantu, bulimu carbon. Carbon asangibwa mu mmere erimu ebiriisa, gamba nga carbohydrates, amasavu, ne mu bika bya asidi ayitibwa amino.

“Engeri [za Katonda] ezitalabika . . . zitegeererwa ku bintu ebyatondebwa.”Abaruumi 1:20.

^ lup. 7 Laba Awake! eya Jjulaayi 2007, olupapula 13-14.