‘Erinnya Eddungi Lisinga eby’Obugagga Ebingi’
ERINNYA eddungi lya muwendo nnyo ne kiba nti mu nsi ezimu omuntu avunaanibwa mu mateeka singa ayonoona erinnya ly’omulala, oboolyawo ng’amwogerako bubi, ng’amuwandiikako bubi, oba ng’akozesa emikutu gy’empuliziganya okulyonoona. Ekyo kitujjukiza ebigambo bino ebyawandiikibwa emyaka mingi emabega: “Okulondawo erinnya eddungi kisinga okulondawo eby’obugagga ebingi; okussibwamu ekitiibwa kisinga ffeeza ne zzaabu.” (Engero 22:1) Tuyinza tutya okuba n’erinnya eddungi n’okuba nga tussibwamu ekitiibwa? Bayibuli erimu amagezi amalungi agakwata ku nsonga eyo.
Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo ebirimu mu Zabbuli 15. Bwe yali addamu ekibuuzo ekigamba nti, “Ani ayinza okukyala mu weema [ya Katonda]?” omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Y’oyo . . . akola ebituufu, era ayogera amazima mu mutima gwe. Takozesa lulimi lwe kuwaayiriza balala . . . , takola muntu munne kintu kibi, era tayogera bubi ku mikwano gye. Yeewala omuntu yenna omubi . . . Atuukiriza by’asuubiza ne bwe kiba nga kimukosa. . . . Era takkiriza kuweebwa nguzi.” (Zabbuli 15:1-5) Kya lwatu nti omuntu ow’engeri eyo omussaamu ekitiibwa.
Ekintu ekirala ekireetera omuntu okussibwamu ekitiibwa bwe bwetoowaze. Engero 15:33 wagamba nti: “Obuwombeefu buvaamu ekitiibwa.” Omuntu omwetoowaze alaba we yeetaaga okulongoosaamu era n’afuba okulongosaamu. Ate era omuntu omwetoowaze bw’anyiiza omulala aba mwetegefu okwetonda. (Yakobo 3:2) Naye omuntu ow’amalala si bw’atyo bw’aba era ayanguwa okunyiiga. Engero 16:18 wagamba nti: “Amalala gaviirako omuntu okugwa, era okwegulumiza kuviirako omuntu okwesittala.”
Watya singa wabaawo omuntu ayonoona erinnya lyo? Wandyanguyirizza okunyiiga era n’obaako ky’okolawo mu bwangu? Weebuuze, ‘Bwe ngezaako okulaga abalala nti bye banjogerako si bituufu, tekindeetere kwongera kusaasaanya bulimba obwo?’ Wadde ng’oluusi kiyinza okwetaagisa okutwala omuntu mu mbuga z’amateeka, Bayibuli etuwa amagezi gano amalungi: “Toyanguwanga kuwaaba musango.” Mu kifo ky’ekyo, “ensonga mugyogereko ne munno.” (Engero 25:8, 9) * Okukwata embeera mu ngeri eyo ey’obukkakkamu kikuyamba n’okwewala okusaasaanya ssente mu mbuga z’amateeka.
Bayibuli si kitabo butabo eky’eddiini, naye era erimu amagezi agatuyamba mu bulamu bwaffe. Abo bonna abakolera ku magezi agagirimu beeyisa mu ngeri ennungi ebaviirako okuba n’erinnya eddungi era n’okuweebwa ekitiibwa.
^ lup. 5 Amagezi amalala agasobola okukuyamba okugonjoola obutakkaanya gasangibwa mu Matayo 5:23, 24; 18:15-17.