Okukozesa Obulungi Ssente
Abantu bangi bakendeezezza ku bizibu by’eby’enfuna olw’okukolera ku magezi agali mu Bayibuli.
BEERA N’ENTEEKATEEKA ENNUNGI
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi, naye abo bonna abapapa bajja kwavuwala.”—Engero 21:5.
KYE KITEGEEZA: Kikulu nnyo okukola enteekateeka era n’oginywererako. Fumiitirizanga nga tonnasaasaanya ssente. Kijjukire nti tosobola kugula buli kintu ky’oyagala. N’olwekyo weegendereze engeri gy’okozesaamu ssente zo.
BY’OSOBOLA OKUKOLA:
-
Nywerera ku mbalirira gy’oba okoze. Wandiika ebintu bye weetaaga okusaasaanyizaako ssente era obiteeke mu biti ebitali bimu. Salawo ssente z’ogenda okusaasaanyiza ku bintu ebiri mu biti ebyo eby’enjawulo. Ebintu ebiri mu kiti ekimu bw’obisaasaanyizaako ssente ezisukka ku ezo z’oba obaliridde, kozesa ezimu ku ssente z’oba obaliridde okusaasaanyiza ku bintu ebiri mu kiti ekirala. Ng’ekyokulabirako, singa osaasaanyiza ssente nnyingi ku by’entambula okusinga ku ezo z’oba obaliridde, osobola okutoola ku ssente z’obaliridde okukozesa ku kintu ekitali kikulu nnyo, gamba ng’okulya mu wooteeri.
-
Weewale amabanja agateetaagisa. Kola kyonna ekisoboka okwewala okufuna ebbanja. Fuba okuterekangawo ssente okusobola okugula ebintu bye weetaaga. Bw’oba okozesa credit card fuba okusasulanga ssente eziba zikubanjibwa buli mwezi weewale okuggibwako amagoba. Bw’oba olina ebbanja, kola entegeka okubaako omutemwa gwa ssente gw’osasulako buli luvannyuma lwa kiseera, era onywerere ku ntegeka eyo.
Okunoonyereza okumu kulaga nti abantu bwe bakozesa credit card okugula ebintu, batera okusaasaanya ennyo ssente okusinga bwe bandikoze nga balina ssente enkalu. N’olwekyo bw’oba olina credit card, gikozese n’obwegendereza.
WEEWALE ENDOWOOZA ENKYAMU
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Omugayaavu talima mu budde obunnyogovu, kyava asabiriza mu kiseera eky’amakungula kubanga aba talina kantu.”—Engero 20:4.
KYE KITEGEEZA: Obugayaavu busobola okuleeta obwavu. N’olwekyo ba mukozi munyiikivu, era kola ekisoboka okuterekawo ssente ezinaakuyamba mu biseera eby’omu maaso.
BY’OSOBOLA OKUKOLA:
-
Ba mukozi munyiikivu. Bw’oba omukozi omunyiikivu era ng’oli wa buvunaanyizibwa, bakama bo ku mulimu tebajja kwagala kukuta.
-
Beera mwesigwa. Tobba mukama wo. Obutali bwesigwa busobola okwonoona erinnya lyo ne kikubeerera kizibu okufuna omulimu omulala mu biseera eby’omu maaso.
-
Weewale omululu. Okululunkanira ssente kiviirako obulamu bw’omuntu okukosebwa era kyonoona enkolagana ye n’abalala. Kijjukire nti ssente si kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu.
AMAGEZI AMALALA OKUVA MU BAYIBULI
TOYONOONERA SSENTE ZO NA BISEERA BYO KU MIZE EMIBI.
“Omutamiivu n’omuluvu baavuwala, era okwebakiriza kwambaza omuntu enziina.”—ENGERO 23:21.
WEEWALE OKWERALIIKIRIRA EKISUKKIRIDDE.
“Mulekere awo okweraliikirira ebikwata ku bulamu bwammwe nti munaalya ki oba nti munaanywa ki, oba ebikwata ku mibiri gyammwe nti munaayambala ki.”—MATAYO 6:25.
WEEWALE ENSAALWA.
“Omuntu ow’ensaalwa ayagala nnyo okugaggawala, kyokka n’atamanya nti aliyavuwala.”—ENGERO 28:22.