Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OMUTWE OGULI KUNGULU | OKUTUUSA OBUBAKA KU BANTU AB’ENNIMI EZ’ENJAWULO

Okutuusa Obubaka ku Bantu ab’Ennimi ez’Enjawulo

Okutuusa Obubaka ku Bantu ab’Ennimi ez’Enjawulo

OKUBA nti mu nsi mulimu ennimi ezoogerwa nga 7,000 oluusi kiyinza okuzibuwaza eby’entambula, eby’obusuubuzi, eby’enjigiriza, n’emirimu gya gavumenti. Bwe kityo bwe kibadde okuva edda. Ng’ekyokulabirako, awo nga mu mwaka gwa 475 E.E.T., mu bufuzi bwa Kabaka Akaswero (oboolyawo ng’ono ye Zakisiisi I), Abaperusi baasaasaanya ebiwandiiko mu bitundu byonna ebyali bifugibwa obwakabaka bwa Buperusi, “okuva mu Buyindi okutuuka mu Esiyopiya, amasaza 127, buli ssaza mu mpandiika yaalyo na buli ggwanga mu lulimi lwalyo.” *

Leero, ebibiina bitono nnyo oba gavumenti ntono nnyo ezisobola okugezaako okukola ekintu ng’ekyo ekitali kyangu. Naye waliwo ekibiina kimu ekisobodde okukola ekintu ekyo. Abajulirwa ba Yakuwa bafulumya magazini, vidiyo, n’ebitabo ebirala bingi, nga muno mwe muli ne Bayibuli, mu nnimi ezisukka mu 750. Mu nnimi ezo mwe muli n’eza bakiggala nga 80. Era Abajulirwa ba Yakuwa bakuba n’ebitabo eby’enjawulo ebya bamuzibe.

Mu kukola omulimu ogwo Abajulirwa ba Yakuwa tebasasulwa. Mu butuufu, Abajulirwa ba Yakuwa abakola ogw’okuvvuunula bonna bakola nga bannakyewa. Naye lwaki bafuba nnyo okuvvuunula ebitabo byabwe mu nnimi ennyingi bwe zityo, era omulimu ogwo bagukola batya?

^ lup. 3 Laba Eseza 8:9 mu Bayibuli.