Enjigiriza Ezituwa Essuubi
Katonda atusuubiza nti mu biseera eby’omu maaso wagenda kubaayo ebintu ebirungi. Agenda kumalawo okubonaabona ku nsi era asobozese abantu okuba abasanyufu. (Zabbuli 37:11) Lwaki tukkiriza nti ekisuubizo ekyo kijja kutuukirira? Kubanga “Katonda si muntu nti asobola okulimba.” (Okubala 23:19) Weetegereze ebimu ku bintu ebirungi Omutonzi waffe by’agenda okukola.
Katonda Agenda Kujjawo Abantu Ababi
“Ababi bwe bameruka ng’omuddo, era n’abakozi b’ebibi bonna ne baala, ekyo kiba bwe kityo balyoke bazikirizibwe.”—ZABBULI 92:7.
Nga bwe tulabye mu kitundu ekivuddeko, ebintu ebibi byeyongera buli lukya. Ekyo tekitwewuunyisa kubanga Bayibuli yali yakiraga dda mu 2 Timoseewo 3:1-5, nti mu “nnaku ez’enkomerero” abantu bandibadde babi nnyo. Nnaku za nkomerero yaaki? Za nkomerero y’abantu abatatya Katonda. Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda agenda kuzikiriza abantu abagaana okukyusa amakubo gaabwe amabi. Abantu abalungi bokka, abagondera Katonda, be bajja okusigalawo. Bayibuli egamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29.
Katonda Ajja Kuzikiriza Sitaani
“Katonda agaba emirembe ajja kubetenta Sitaani.”—ABARUUMI 16:20.
Abantu ababi, ne Sitaani, ne badayimooni, bwe banaamala okuggibwawo, ensi ejja kubaamu emirembe. Mikka 4:4.
Omutonzi waffe asuubiza nti: “tewalibaawo n’omu abatiisa.”—Katonda Ajja Kuggyawo Endwadde n’Okufa
“Weema ya Katonda eri wamu n’abantu . . . Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”—OKUBIKKULIRWA 21:3, 4.
Okubonaabona kwonna n’endwadde bijja kuggwaawo kubanga Katonda agenda kuggyawo ebintu ebibi ebyaleetebwa Sitaani, Adamu, Kaawa, n’obutali butuukirivu bwaffe. Ekyo kitegeeza nti ‘n’okufa tekulibaawo nate.’ Abantu abaagala Katonda era abamugondera, bajja kubaawo emirembe gyonna. Naye banaabeera wa?
Omutonzi Waffe Ajja Kufuula Ensi Ekifo Ekirabika Obulungi Ennyo
“Olukoola n’ensi enkalu birijaganya, n’eddungu lirisanyuka era lirimulisa ng’amalanga.”—ISAAYA 35:1.
Katonda bw’anaamala okuggyawo ebintu ebibi, ensi ejja kuba nnungi nnyo! Buli wamu wajja kuba walabika bulungi nnyo, era emmere ejja kubaayo mu bungi. (Zabbuli 72:16) Agayanja, ennyanja, n’emigga, bijja kuba biyonjo era nga birimu ebiramu bingi. Abantu tebalijjukira nti ensi yaliko enkyafu era ng’eyonooneddwa! Abantu bajja kubeera mu mayumba agaabwe ku bwabwe ge beezimbira. Tewajja kuddamu kubaawo muntu atalina w’abeera, alumwa enjala, oba omwavu.—Isaaya 65:21, 22.
Abantu Abaafa Katonda Ajja Kubasobozesa Okuddamu Okuba Abalamu
“Wajja kubaawo okuzuukira.”—EBIKOLWA 24:15.
Wandyagadde okuddamu okulaba abantu bo abaafa? Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna ajja kubasobozesa okuddamu okuba abalamu, oba okubazuukiza wano ku nsi eneeba efuuliddwa olusuku lwe. Ojja kuba osobola okubategeera era nabo bajja kukutegeera. Teeberezaamu essanyu ggwe nabo lye munaaba nalyo! Lwaki tuli bakakafu nti ddala abantu bajja kuzuukira? Kubanga mu Bayibuli mulimu ebyokulabirako by’abantu abakulu n’abaana abato Katonda be yazuukiza ne baddamu okubeera n’abantu baabwe. Era ng’emirundi egisinga abantu abo baazuukizibwa ng’abantu bangi balaba. (Lukka 8:49-56; Yokaana 11:11-14, 38-44) Eri Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, tewali kitasoboka.