Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUKENDEEZA KU KWERALIIKIRIRA

Kisoboka Okuba mu Bulamu Obutaliimu Kweraliikirira

Kisoboka Okuba mu Bulamu Obutaliimu Kweraliikirira

Amagezi agali mu Bayibuli gasobola okutuyamba okukendeeza ku kweraliikirira. Abantu tetusobola kumalirawo ddala bintu bituviirako kweraliikirira. Naye ye Omutonzi waffe asobola. Alina ne gwe yalonda okutuyamba, ng’ono ye Yesu Kristo. Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu ajja kukola ebintu eby’ekitalo mu nsi yonna ebisinga n’ebyo bye yakola ng’ali ku nsi. Ng’ekyokulabirako:

YESU AJJA KUWONYA ABALWADDE NGA BWE YAKOLA.

“Ne bamuleetera abo bonna abaali balina endwadde eza buli kika . . . , n’abawonya.”​—MATAYO 4:24.

YESU AJJA KUSOBOZESA BULI OMU OKUFUNA AW’OKUSULA ERA N’EMMERE.

“[Abo Yesu b’alifuga] balizimba ennyumba ne bazibeeramu, era balisimba ennimiro z’emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n’abeeramu, era tebalisimba abalala ne balya.”​—ISAAYA 65:21, 22.

OBUFUZI BWA YESU BUJJA KULEETA EMIREMBE N’OBUTEBENKEVU MU NSI YONNA.

“Mu nnaku ze abatuukirivu bajja kumeruka, era emirembe ginaabanga mingi nnyo okutuusa omwezi lwe guliba nga tegukyaliwo. Anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja n’okuva ku Mugga okutuuka ensi gy’ekoma. . . . Abalabe be banaakombanga enfuufu.”​—ZABBULI 72:7-9.

YESU AJJA KUMALAWO OBUTALI BWENKANYA.

“Anaasaasiranga abanaku n’abaavu, era anaawonyanga obulamu bw’abaavu. Anaabawonyanga okunyigirizibwa era n’ebikolwa eby’obukambwe.”​—ZABBULI 72:13, 14.

YESU AJJA KUMALAWO OKUBONAABONA N’OKUFA.

“Okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”​—OKUBIKKULIRWA 21:4.