Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBUZIBU

Ebintu Ebitweraliikiriza

Ebintu Ebitweraliikiriza

“Omulembe guno gukulaakulanye nnyo mu bya tekinologiya, mu bya ssaayansi, ne mu by’enfuna . . . Kyokka era gwe mulembe ogukyasinzeeyo okwonoona ensi n’eba ng’eyolekedde okusaanawo.”​—The Global Risks Report 2018, World Economic Forum.

LWAKI LEERO ABANTU BANGI BEERALIIKIRIRA EBISEERA EBY’OMU MAASO N’EKYO EKIYINZA OKUTUUKA KU NSI? LOWOOZA KU BIMU KU BIZIBU BYE TWOLEKAGANA NABYO.

  • OBUMENYI BW’AMATEEKA OBUKOLEBWA OKUYITIRA KU INTANEETI: Olupapula lw’amawulire oluyitibwa The Australian lwagamba nti: “Buli lukya okukozesa Intaneeti kyeyongera okuba eky’obulabe. Intaneeti yettanirwa nnyo abantu abaagala okukabasanya abaana, abatiisatiisa abalala, abaagala okutabangula emirembe gy’abalala, n’abo abaagala okubba ebyama by’abalala. Leero abantu bangi bakozesa Intaneeti okukola ebintu ebikyamu mu mannya g’abalala. . . . Era okuyitira ku intaneeti abantu booleka obukambwe n’ettima ebitagambika.”

  • OBUTALI BWENKANYA MU BY’ENFUNA: Okusinziira ku lipoota eyafulumizibwa ekitongole kya Oxfam International, obugagga bw’abantu omunaana abasingayo obugagga mu nsi yonna businga obugagga obw’ekimu kya kubiri eky’abantu bonna mu nsi. Ekitongole ekyo era kyagamba nti: “Obutali bwenkanya mu byenfuna bungi mu nsi kubanga abagagga ennyo beeyongera kugaggawala n’abaavu beeyongera kwavuwala, era ng’abasinga bungi ku bo bakazi.” Abamu balowooza nti obutali bwenkanya obwo buyinza okuleetawo obwegugungo.

  • OBUTABANGUKO N’OKUYIGGANYIZIBWA: Mu 2018, lipoota eyafulumizibwa ekitongole ky’Amawanga Amagatte ekikola ku banoonyi b’obubudamo yagamba nti: “Omuwendo gw’abantu ababundabunda leero gwe gukyasinzeeyo obunene mu byafaayo.” Abantu abasukka mu bukadde 68 badduka mu maka gaabwe olw’obutabanguko oba olw’okuyigganyizibwa. Lipoota eyo era yagamba nti: “Buli luvannyuma lw’obutikitiki bubiri, omuntu omu adduka mu maka ge.”

  • OKWONOONEBWA KW’OBUTONDE: Lipoota emu eyafulumizibwa mu 2018 yagamba nti: “Ebika by’ebisolo bingi n’eby’ebimera bisaanawo ku sipiipi ya waggulu, era okwonoonebwa kw’empewo n’ennyanja kutadde obulamu bw’abantu mu matigga.” Mu nsi ezimu omuwendo gw’ebiwuka gukendedde nnyo. Olw’okuba ebiwuka bitambuza empumbu esobozesa ebimera okussaako ensigo, ebimera bingi byolekedde okusaanawo. Ebimera eby’omu nnyanja (Coral reefs) nabyo biri mu kabi. Bannassaayansi bagamba nti ekitundu nga kimu kya kubiri eky’ebimera ebyo kisaanyeewo mu myaka 30 egiyise.

Tusobola okuleetawo enkyukakyuka eziyinza okutereeza ensi ne waba nga tewakyaliwo bitweraliikiriza? Abamu bagamba nti abantu bwe bayigirizibwa kisobola okuyambako mu okugonjoola ebizibu ebiri mu nsi. Bwe kiba kityo, buyigirize bwa ngeri ki bwe beetaaga okufuna? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.