Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abazadde bayigiriza abaana baabwe okwagala nga babateerawo ekyokulabirako

EKINTU EKIKULU EKIYAMBA MU KUGONJOOLA EKIZIBU

Abantu Balina Okuyigirizibwa Ekituufu n’Ekikyamu

Abantu Balina Okuyigirizibwa Ekituufu n’Ekikyamu

Abaana b’essomero erimu bwe baali bagenze okulambula, waliwo abamu ku balenzi b’essomero eryo abaakabasanya mulenzi munnaabwe. Essomero eryo lye limu ku masomero agaali gatwalibwa ng’agasingayo obulungi mu Canada. Ekintu ekyo bwe kyabaawo, munnamawulire ayitibwa Leonard Stern yawandiika nti: “Okuba omugezi, okufuna obuyigirize obulungi, n’okuba omugagga tebisobola kuyamba bavubuka kulekera awo kukola bintu bibi.”

Stern era yagamba nti: “Wandisuubidde nti ekiruubirirwa ekikulu abazadde kye bandibadde nakyo kwe kutendeka abaana baabwe okuba n’empisa ennungi. Naye kirabika abazadde abasinga obungi kye basinga okutwala ng’ekikulu kwe kuba nti abaana baabwe bakola bulungi ku ssomero basobole okufuna emirimu egisasula ssente ennyingi.”

Kyo kituufu nti okusoma kintu kikulu. Naye n’obuyigirize obusingayo obulungi omuntu bw’ayinza okufuna mu masomero tebusobola kumuyamba kweggyamu kwegomba kubi oba ndowooza mbi. Kati olwo wa we tuyinza okufuna obuyigirize obusobola okutuyamba okuba n’empisa ennungi?

OBUYIGIRIZE OBUSOBOLA OKUYAMBA OMUNTU OKUBA N’EMPISA ENNUNGI N’OKUFUNA ENKOLAGANA ENNUNGI NE KATONDA

Bayibuli eringa endabirwamu. Bwe tugikozesa okwekebera, tusobola okumanya obusobozi bwaffe we bukoma n’obunafu bwaffe we buli. (Yakobo 1:23-25) Ate era Bayibuli etuyamba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa n’okukulaakulanya engeri eziyamba mu kuleetawo emirembe n’obumu. Engeri ezo zizingiramu obulungi, ekisa, obugumiikiriza, okwefuga, n’okwagala. Mu butuufu okwagala “kunywereza ddala obumu.” (Abakkolosaayi 3:14) Lwaki okwagala kintu kikulu nnyo? Weetegereze ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kwagala.

  • “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekukwatibwa buggya, tekwewaana, tekwegulumiza, tekweyisa mu ngeri etesaana, tekwenoonyeza byakwo, tekunyiiga era tekusiba kiruyi. Tekusanyukira bitali bya butuukirivu [bibi], naye kusanyukira wamu n’amazima. Kugumira ebintu byonna, . . . kugumiikiriza ebintu byonna. Okwagala tekulemererwa.”​—1 Abakkolinso 13:4-8.

  • “Omuntu alina okwagala takola munne kibi.”​—Abaruumi 13:10.

  • “Okusinga byonna, mwagalanenga nnyo, kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.”​—1 Peetero 4:8.

Bw’oba n’abantu abakwagala owulira otya? Owulira ng’olina obukuumi era ng’otebenkedde mu mutima. Oba okimanyi nti bakwagaliza ekisingayo obulungi, era nti tebasobola kukola bintu bikulumya mu bugenderevu.

Okwagala era kusobola okuleetera abantu okukola enkyukakyuka ez’amaanyi okusobola okuganyula abalala. Ng’ekyokulabirako, omusajja gwe tujja okuyita George yafuna omuzzukulu. Yali ayagala nnyo okubeera ne muzzukulu we oyo. Naye waaliwo obuzibu. George yali anywa nnyo ssigala, era bba wa muwala we yali tayagala anywere ssigala okumpi n’omwana we. Kiki George kye yakola? Wadde nga yali amaze emyaka 50 ng’anywa ssigala, yalekayo omuze ogwo asobole okubeera ne muzzukulu we. Mazima ddala, okwagala kulina amaanyi!

Bayibuli etuyamba okukulaakulanya engeri ennungi nnyingi, omuli obulungi, ekisa, n’okusingira ddala okwagala

Okwagala tukuyiga buyizi. Abazadde bakola kinene nnyo mu kuyigiriza abaana baabwe okwoleka okwagala. Baliisa abaana baabwe, babakuuma, era babayamba nga waliwo ekibalumizza oba nga balwadde. Abazadde abalungi banyumyako n’abaana baabwe era babayigiriza. Ate era bakangavvula abaana baabwe, nga kino kizingiramu okubayigiriza emisingi emirungi egibayamba okumanya ekituufu n’ekikyamu. Okugatta ku ekyo, abazadde abalungi bateerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi kye basobola okukoppa.

Eky’ennaku, abazadde abamu tebatuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe obwo. Ekyo kiba kitegeeza nti abaana baabwe tebasobola kuba bantu balungi? Nedda! Waliwo n’abantu abakulu bangi, omuli n’abo abaakulira mu maka agatali malungi, abakoze enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe ne bafuuka abantu abafaayo ku balala era abeesigika. Nga bwe tugenda okulaba mu kitundu ekiddako, mu bantu abo mulimu n’abo abaali batwalibwa ng’abatakyasobola kukyuka!