Biki Ebikakasa nti Abaafa Bajja Kuzuukira?
Kiba kya magezi okulowooza nti abafu bajja kuzuukira? Ng’aluŋŋamizibwa Katonda, omutume Pawulo yawandiika nti: “Bwe kiba nti mu bulamu buno mwokka mwe tusuubirira mu Kristo, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna. Kyokka, Kristo yazuukizibwa mu bafu, era ye bye bibala ebibereberye eby’abo abeebaka mu kufa.” (1 Abakkolinso 15:19, 20) Pawulo yali mukakafu nti abafu bajja kuzuukira. Okuzuukira kwa Yesu bwe bukakafu obulaga nti abafu bajja kuzuukira. * (Ebikolwa 17:31) Pawulo yagamba nti Yesu bye “bibala ebibereberye” kubanga Yesu ye yasooka okuzuukizibwa n’aweebwa obulamu obutaggwaawo. Yesu bw’aba nga ye yasooka okuzuukizibwa, ekyo kitegeeza nti waliwo abalala abajja okuzuukizibwa.
Waliwo ensonga endala etukakasa nti abaafa bajja kuzuukira. Yakuwa Katonda wa mazima, ekitegeeza nti ‘tayinza kulimba.’ (Tito 1:2) Yakuwa talimbangako era talirimba. Ayinza okutuwa essuubi ery’okuzuukira era n’alaga n’okulaga nti asobola okuzuukiza abafu, kyokka ate n’atakikola? Kikafuuwe!
Lwaki Yakuwa yakola enteekateeka ey’okuzuukiza abantu abaafa? Kubanga ayagala nnyo abantu. Yobu yabuuza nti: “Omuntu bw’afa aliba mulamu nate?” Ye kennyini yaddamu nti: ‘Wandimpise, nange n[n]andikuyitabye: wandibadde n’okwegomba eri omulimu gw’emikono gyo.’ (Yobu 14:14, 15) Yobu yali mukakafu nti bwe yandifudde, Kitaawe ow’omu ggulu yandibadde ayagala nnyo okumuzuukiza. Katonda takyukanga kubanga ye kennyini agamba nti: “Nze Mukama sijjulukuka.” (Malaki 3:6) Katonda akyayagala nnyo okuzuukiza abaafa babeere balamu bulungi era nga basanyufu. Katonda alinga omuzadde ayagala ennyo okulaba omwana we aba amufuddeko. Naye okwawukana ku muzadde ng’oyo, ye Katonda alina amaanyi okukola ekyo ky’aba ayagadde.
Okufa kizibu kya maanyi, naye Katonda yakinogera dda eddagala
naye ‘yakaaba.’ (Yokaana 11:35) Ku mulundi omulala, Yesu yasisinkana nnamwandu ow’e Nayini eyali afiiriddwa mutabani we omu yekka. Yesu ‘yamusaasira, n’amugamba nti: “Lekera awo okukaaba.” ’ Amangu ago Yesu yazuukiza mutabani wa nnamwandu. (Lukka 7:13) N’olwekyo, Yesu awulira bubi nnyo bw’alaba abantu abali mu nnaku olw’okufiirwa abantu baabwe. Ajja kuba musanyufu nnyo bw’anaayamba abantu mu nsi yonna okufuna essanyu mu kifo ky’okuba abanakuwavu!
Yakuwa ajja kukozesa Omwana we okuzuukiza abafu, aleetere abantu baabwe essanyu lya nsusso. Naye ye Yesu awulira atya ku ky’okuzuukiza abafu? Nga tannazuukiza Laazaalo, Yesu bwe yalaba bannyina ba Laazaalo ne mikwano gyabwe nga bakaabaWali ofiiriddwako? Oyinza okulowooza nti abafu tebasobola kuddamu kuba balamu. Naye ekituufu kiri nti, bajja kuddamu babeere balamu. Katonda ajja kukozesa Omwana we okuzuukiza abo abaafa. Kijjukire nti ayagala olabe abafu nga bazuukiziddwa. Ayagala oddemu okubeera n’abantu bo abaafa. Kuba akafaananyi nga mwetegekera ebiseera eby’omu maaso eby’olubeerera awatali kuddamu kulowooza ku kufa!
Lionel, ayogeddwako mu kitundu ekisooka agamba nti: “Oluvannyuma nnayiga ebikwata ku kuzuukira. Mu kusooka, kyali kizibu okukkiririza mu kuzuukira era n’oyo eyambuulira ebikwata ku kuzuukira saasooka kumukkiririzaamu. Naye bwe nnanoonyereza mu Bayibuli nnakizuula nti bye yambuulira byali bituufu! Nneesunga nnyo okuddamu okulaba jjajja wange eyafa.”
Wandyagadde okumanya ebisingawo? Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukulaga mu Bayibuli ensonga lwaki bakakafu nti mu biseera eby’omu maaso abafu bajja kuzuukira. *
^ lup. 3 Okusobola okumanya obanga ddala Yesu yazuukizibwa, laba akatabo, The Bible
^ lup. 9 Laba essuula 7 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.