“Omuntu Omutegeevu Alwawo Okusunguwala”
Omutendesi w’omupiira agobwa ku mulimu olw’obutafuga busungu bwe.
Omwana akaaba nnyo olw’okuba tafunye ky’ayagala.
Maama ayombesa mutabani we olw’okuba mutabani we tayonja kisenge kye.
FFENNA twali tulabye ku muntu anyiize, era naffe twali tunyiizeeko. Wadde nga tukimanyi nti obusungu bubi, emirundi mingi tusunguwala naddala singa omuntu atuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya. Ekitongole ky’Amerika ekinoonyereza ku mbeera z’abantu kigamba nti “kya bulijjo okusunguwala, kirina kye kiyamba ku bulamu bw’omuntu, era obusungu y’emu ku nneewulira ze tulina.”
Endowooza eyo erabika ng’entuufu bwe tulowooza ku ebyo Omutume Pawulo bye yaluŋŋamizibwa okuwandiika. Olw’okuba yali akimanyi nti oluusi abantu basunguwala, yagamba nti: “Musunguwalenga naye temwonoona; enjuba eremenga okugwa nga mukyali basunguwavu.” (Abeefeso 4:26) Ekyo kitegeeza nti kiba kituufu okusunguwala?
KIBA KITUUFU OKUSUNGUWALA?
Omutume Pawulo okwogera ebigambo ebyo oboolyawo yali alowooza ku bigambo by’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Bwe musunguwala temwonoona.” (Zabbuli 4:4, NW) Naye lwaki omutume Pawulo yawandiika ebigambo ebyo? Yagamba nti: “Okusiba ekiruyi, okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, okuvuma, awamu n’obubi bwonna biggyibwe mu mmwe.” (Abeefeso 4:31) Ebigambo ebyo biraga nti Pawulo yali akubiriza Abakristaayo okwewala okusunguwala. Ekitongole ky’Amerika ekinoonyereza ku mbeera z’abantu era kyagamba nti: ‘Omuntu bw’asunguwala ennyo ayongera kwonoona mbeera era obusungu tebumuyamba kumalawo kizibu.’
Kiki ekisobola okutuyamba okwewala obusungu n’ebizibu bye buleeta? Kabaka Sulemaani ow’amagezi yawandiika nti: “Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala, era bw’abuusa amaaso ensobi y’omulala aba akoze kya ttendo.” (Engero 19:11, NW) ‘Omuntu okuba omutegeevu’ kimuyamba kitya okufuga obusungu bwe?
OKUBA OMUTEGEEVU KIYAMBA KITYA OMUNTU?
Omuntu omutegeevu y’oyo asobola okwekenneenya ensonga n’amanya byonna ebizingirwamu.
Okuba abategeevu kiyinza kitya okutuyamba nga waliwo atunyiizizza?Omuntu bw’akola ekintu ekitali kya bwenkanya tuyinza okusunguwala. Kyokka bwe tulemererwa okufuga obusungu, tuyinza okwerumya oba okulumya omuntu omulala. Ng’omuliro ogutazikiziddwa bwe gusobola okusaanyaawo ennyumba, bwe tutafuga busungu tuyinza okwonoona erinnya lyaffe n’enkolagana yaffe n’abantu abalala awamu ne Katonda. N’olwekyo bwe tuwulira nga tutandise okusunguwala kiba kirungi ne tulowooza ku byonna ebizingirwamu. Ekyo kijja kutuyamba okufuga obusungu.
Kabaka Dawudi, kitaawe wa Sulemaani yali agenda kutta abantu abataalina musango olw’omusajja ayitibwa Nabbali. Naye bwe yayambibwa okumanya byonna ebyali bizingirwamu, teyabatta. Kiki ekyaliwo? Dawudi n’abasajja be bwe baali mu ddungu lya Yuda, baakuuma endiga za Nabbali. Mu kiseera eky’okusala ebyoya by’endiga, Dawudi yasaba Nabbali amuwe ku mmere awe abasajja be. Nabbali yaddamu Dawudi nti: ‘Ntoole emigaati gyange n’amazzi gange n’ennyama yange gye nzitidde abasajja bange abasala ebyoya, mbiwe abasajja be ssimanyiiko gye bavudde?’ Dawudi bwe yawulira ebigambo ebyo yasunguwala nnyo, era ye n’abasajja be 400 baasalawo okugenda batte Nabbali n’ab’omu maka ge bonna.
Abbigayiri, mukyala wa Nabbali, bwe yakimanyaako yayanguwa n’agenda okusisinkana Dawudi n’abasajja be. Bwe yabasisinkana, yavunnama mu maaso ga Dawudi n’agamba nti: ‘Omuzaana wo k’ayogere nkwegayiridde, era wulira ebigambo by’omuzaana wo.’ Yannyonnyola Dawudi nti omwami we musirusiru era nti Dawudi yandyejjusizza olw’okwesasuza n’okutta abantu abatalina musango.
Ebyo Abbigayiri bye yayogera byayamba bitya Dawudi okufuga obusungu? Ekisooka, Dawudi yakitegeera nti Nabbali teyali musajja mutegeevu. Eky’okubiri, Dawudi yakiraba nti singa yeesasuza yandisse abantu abatalina musango. Okufaananako Dawudi, naawe omuntu ayinza okukunyiiza. Mu mbeera eyo kiki ky’osaanidde okukola? Ekitabo ekimu ekikwata ku by’ekisawo kigamba nti: “Sika omukka ng’oguzza munda okumala akaseera era obale okuva ku emu okutuuka ku kkumi.” Yee, sooka olowooze ku kiviiriddeko ekizibu era n’ebiyinza okuvaamu singa tofuga busungu. Okuba omutegeevu kijja kukuyamba okufuga obusungu, sinakindi okubwewalira ddala.
Leero waliwo abantu bangi abayize okufuga obusungu. Sebastian, eyasibibwako mu kkomera erimu ery’omu Poland nga wa myaka 23, bwe yatandika okusoma Bayibuli yayiga okufuga obusungu. Yagamba nti, “Nsooka kulowooza ku kiba kinnyiizizza, oluvannyuma ne nfuba okussa mu nkola amagezi agali mu Bayibuli. Nkizudde nti amagezi agali mu Bayibuli ge gasingayo obulungi.”
Setsuo naye Bayibuli yamuyamba okuyiga okufuga obusungu. Yagamba nti: “Bakozi bannange bwe bannyiizanga, nnababoggoleranga. Naye okuyiga Bayibuli kinnyambye nnyo. Kati omuntu bw’annyiiza, nsooka kwebuuza nti: ‘Ani ali mu nsobi? Kyandiba nga nze ndi mu nsobi?’” Okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo kimuyamba okufuga obusungu.
Obusungu buyinza okuba obw’amaanyi, naye Ekigambo kya Katonda kye kisinga okuba eky’amaanyi. Bw’ossa mu nkola amagezi agali mu Bayibuli era n’osaba Katonda akuyambe, ojja kusobola okufuga obusungu.