Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
Lwaki tusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje?
Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya mu ggulu. Yesu yagamba abagoberezi be okusaba Obwakabaka obwo bujje kubanga bwe bujja okuleeta obutuukirivu n’emirembe ku nsi. Tewali gavumenti y’abantu esobola kumalawo bikolwa bya bukambwe, obutali bwenkanya, oba endwadde, naye Obwakabaka bwa Katonda busobola era bujja kumalawo ebizibu ebyo byonna. Katonda yalonda Omwana we Yesu okuba Kabaka w’Obwakabaka obwo. Ate era waliwo abantu be yalonda abajja okufugira awamu ne Yesu mu Bwakabaka obwo.
Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okuzikiriza abo bonna abaziyiza obufuzi bwa Katonda. N’olwekyo bwe tusaba nti Obwakabaka bwa Katonda bujje, tuba tusaba buggyewo gavumenti z’abantu zonna bwo bwe buba bufuga.
Lwaki Obwakabaka bwa Katonda bujja kuganyula nnyo abantu?
Yesu Kabaka mulungi kubanga musaasizi. Ate era olw’okuba Yesu Mwana wa Katonda, asobola okuyamba abantu bonna abali mu bwetaavu.
Obwakabaka bwa Katonda bujja kuganyula abo bonna abasaba bujje era abakola Katonda by’ayagala. Ojja kuganyulwa nnyo bw’oneeyongera okuyiga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda.