EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OBWAKABAKA BWA KATONDA
Obwakabaka bwa Katonda —Bunaakuganyula Butya?
Mu bitundu ebivuddeko, oyinza okuba ng’okirabye nti Abajulirwa ba Yakuwa bassa nnyo essira ku Bwakabaka bwa Katonda. Ate era oyinza okuba ng’okwatiddwako nnyo olw’ebyo Obwakabaka obwo bye bujja okutukolera. Naye oyinza okuba nga weebuuza nti: ‘Ddala ebisuubizo ebyo binaatuukirira?’
Si kirungi kumala gakkiriza buli kimu ky’oba owulidde. (Engero 14:15) Kiba kirungi okusooka okukola ekyo abantu ab’omu kibuga Beroya * eky’edda kye baakola. Abantu abo bwe baabuulirwa amawulire amalungi ag’Obwakabaka, tebaamala gakkiriza ebyo bye baawulira. Baasooka kwekenneenya Byawandiikibwa “okulaba obanga ebintu ebyo byali bituufu.” (Ebikolwa 17:11) Abantu b’omu Beroya baageraageranya amawulire amalungi ge baawulira n’ekyo Ekigambo kya Katonda kye kigamba. Oluvannyuma, baakakasa nti amawulire amalungi ge baawulira gaali geesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda.
Abajulirwa ba Yakuwa bakukubiriza okukola kye kimu. Tuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere ne basobola okugeraageranya ebyo bye tukkiririzaamu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, n’ebyo Bayibuli by’eyigiriza.
Bw’onooyiga Bayibuli tojja kukoma ku kuyiga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, naye era ojja kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu ennyo, gamba nga bino:
Twava wa?
N’ekisinga byonna, okuyiga Bayibuli kijja kukusobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. (Yakobo 4:8) Gy’onookoma okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda, gy’ojja okukoma okulaba engeri Obwakabaka bwe gye bujja okukuganyulamu kati, n’emirembe gyonna. Yesu bwe yali asaba Katonda yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.”
^ par. 4 Beroya kyali kibuga mu ssaza ly’e Makedoni.