Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
Bamalayika basobola okutuyamba?
Yakuwa Katonda yali yatonda dda bamalayika bukadde na bukadde nga tannatonda bantu. (Yobu 38:4, 7) Bamalayika bitonde bya mwoyo era ba maanyi nnyo. Oluusi Katonda yabatumanga ku nsi okuwa abaweereza be obulagirizi n’obukuumi. (Zabbuli 91:10, 11) Leero, bamalayika bayamba abantu okuganyulwa mu mawulire amalungi abagoberezi ba Yesu ge babuulira.
Naye tusaanidde okusaba bamalayika? Nedda. Okusaba kuba kusinza, era Katonda yekka y’agwanidde okusinzibwa. (Okubikkulirwa 19:10) Okuva bwe kiri nti bamalayika baweereza ba Katonda, bakola ebyo Katonda by’abagamba so si abantu. N’olwekyo, Katonda yekka gwe tulina okusaba nga tuyitira mu Yesu.
Eriyo bamalayika ababi?
Okufaananako abantu, Katonda yatonda bamalayika nga balina eddembe ly’okwesalirawo, era basobola okusalawo okukola ekirungi oba ekibi. Eky’ennaku, waliwo bamalayika bangi abaajeemera Katonda. (2 Peetero 2:4) Eyasookera ddala ye Sitaani; bamalayika abalala abaamwegattako baafuuka badayimooni. Kati wayiseewo emyaka egiwerako bukya Sitaani ne badayimooni be bagobwa mu ggulu ne basuulibwa ku nsi.
Okubonaabona n’ebikolwa eby’obukambwe ebibaddewo okuva mu 1914 biraga nti Katonda anaatera okuzikiriza Sitaani ne badayimooni be. Ekyo bwe kinaggwa, ensi Katonda ajja kugizza buggya efuuke ekifo ekirabika obulungi.