Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Amadiini gonna gasanyusa Katonda?

Bw’oba otera okuwulira amawulire, oyinza okuba nga wali owuliddeko ebintu ebibi amadiini bye gakola. Amadiini mangi tegasanyusa Katonda. (Matayo 7:15) Mu butuufu, abantu bangi nnyo babuzaabuziddwa.Soma 1 Yokaana 5:19.

Wadde kiri kityo, Katonda alaba abantu abeesimbu abaagala okukola ebirungi era eby’amazima. (Yokaana 4:23) Katonda ayagala abantu ng’abo bayige amazima agali mu Kigambo kye Bayibuli.Soma 1 Timoseewo 2:3-5.

Eddiini ey’amazima ogitegeerera ku ki?

Yakuwa Katonda ayamba abantu aba buli ngeri okuba obumu ng’abayigiriza amazima agamukwatako era ng’abayigiriza okwagalana. (Mikka 4:2, 3) N’olwekyo, eddiini ey’amazima y’eyo erimu abantu abafaayo ku bannaabwe era abaagalana.Soma Yokaana 13:35.

Yakuwa Katonda ayamba abantu aba buli ngeri okuba obumu ng’akozesa eddiini ey’amazima.Zabbuli 133:1

Abali mu ddiini ey’amazima bye bakkiririzaamu ne bye bakola byesigamiziddwa ku Bayibuli. (2 Timoseewo 3:16) Bakozesa erinnya lya Katonda. (Zabbuli 83:18) Ate era babuulira nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okugonjoola ebizibu by’abantu. (Danyeri 2:44) Bakoppa Yesu nga baleka ‘ekitangaala kyabwe okwaka,’ kwe kugamba, nga bakolera bantu bannaabwe ebirungi. (Matayo 5:16) N’olwekyo, abo abali mu ddiini ey’amazima bakyalira abantu mu maka gaabwe ne bababuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda.Soma Matayo 24:14; Ebikolwa 5:42; 20:20.