Obadde Okimanyi?
Abaddu baayisibwanga batya mu kiseera ky’obufuzi bw’Abaruumi?
Mu bufuzi bw’Abaruumi, abantu bangi nnyo baafuukanga baddu. Abamu baabawambanga mu lutalo ate abalala nga bababuzaawo bubuza. Abo abaawambibwanga baatundibwanga era tebaddangayo mu maka gaabwe, wadde okuddamu okulaba ku b’eŋŋanda zaabwe.
Abaddu abaakolanga mu birombe mwe baasimanga eby’obugagga eby’omu ttaka baakozesebwanga nnyo abamu ne batuuka n’okufiirayo, naye abo abaakozesebwanga ku faamu n’abaakolanga emirimu gy’awaka bo baayisibwanga bulungiko. Omuddu yakakibwanga okwambala akuuma mu bulago akaali kalaga empeera eyandiweereddwa omuntu eyandizzizzaayo omuddu oyo ewa mukama we, singa yabanga atolose. Abaddu abaagenzangako okutoloka emirundi egiwera, baabayolangako ennukuta F ku kyenyi. Ennukuta eyo eva mu kigambo ky’Olulattini fugitivus, ekitegeeza nti atolose.
Ekitabo kya Bayibuli ekiyitibwa Firemooni kiraga nti omutume Pawulo yasindika Onesimo addeyo ewa mukama we Firemooni gye yali atolose. Wadde nga Firemooni yali asobola okubonereza omuddu we Onesimo ng’amateeka bwe gaali galagira, Pawulo yasaba Firemooni ‘amwanirize n’ekisa’ era ng’ow’oluganda.
Lwaki Foyiniikiya ey’edda yali emanyiddwa nnyo olwa langi eya kakobe eyakolebwangayo?
Foyiniikiya, eyalinga mu kitundu awali eggwanga eriyitibwa Lebanooni, yali emanyiddwa nnyo olwa langi eya kakobe, era langi eyo yakolebwanga mu kibuga Ttuulo. Yeekaalu Kabaka Sulemaani owa Isiraeri gye yazimba yagitimbamu engoye eza kakobe, ezaakolebwa omusajja omukugu eyava mu kibuga Ttuulo. (2 Ebyomumirembe 2:
Langi eyo ye yali esinga okuba ey’ebbeeyi mu kiseera ekyo kubanga okugifuna tekyabanga kyangu. Okusookera ddala, abavubi baakuŋŋaanyanga amakovu ag’omu masonko. * Okusobola okufuna langi egenda mu lugoye lumu lwokka, baalinanga okukuŋŋaanya amakovu nga 12,000. Amakovu ago gaggibwanga mu masonko gaago, oluvannyuma ne gaggibwamu ebitundu ebyakozesebwanga okukola langi. Ebitundu ebyo bye baagaggyangamu baabiteekangamu omunnyo ne babyanika mu kasana okumala ennaku ssatu. Oluvannyuma baabiteekanga mu kipipa ekinene, ne babiyiwamu amazzi g’ennyanja era ne babifumba ku muliro omutonotono okumala ennaku eziwera.
Olw’okuba abantu b’omu Foyiniikiya baawamba amatwale manene, era nga baali basuubuzi batutumufu, baamala emyaka mingi nga batunda langi eyakolebwanga mu kibuga Ttuulo. Ebimu ku bintu ebyakozesebwanga mu kukola langi eyo byazuulibwa mu bitundu ebyetoolodde ennyanja Meditereniyani ne mu kitundu ekiyitibwa Cádiz, eky’omu Sipeyini.
^ lup. 8 Amasonko ago gaabanga ga inci bbiri oba ssatu obuwanvu.