Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
Biki Yesu by’anaakola mu biseera eby’omu maaso?
Mu mwaka gwa 33 embala eno, Yesu yafa, n’azuukira, era n’agenda mu ggulu. Nga wayiseewo ekiseera, Yesu yaweebwa obuyinza okufuga nga Kabaka. (Danyeri 7:13, 14) Mu biseera eby’omu maaso, Yesu ajja kuleeta emirembe ku nsi era aggyewo obwavu.
Yesu bw’anaaba afuga ensi ajja kugirongoosa
Yesu bw’anaaba afuga nga Kabaka, ajja kukolera abantu ebirungi bingi. Ajja kukozesa amaanyi Kitaawe ge yamuwa asobozese abantu okufuna obulamu obutuukiridde. Bajja kunyumirwa obulamu ku nsi emirembe gyonna nga tebakaddiwa era nga tebafa.
Biki Yesu by’akola kati?
Mu kiseera kino, Yesu alabirira omulimu gw’okubuulira abagoberezi be ab’amazima gwe bakola mu nsi yonna. Bayigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda nga bakozesa Bayibuli. Yesu yagamba nti ajja kweyongera okuwagira omulimu guno ogw’okubuulira okutuusa Obwakabaka bwa Katonda lwe bulizikiriza gavumenti z’abantu.
Ng’akozesa ekibiina Ekikristaayo eky’amazima, Yesu ayamba abantu okuba n’obulamu obw’amakulu. Bw’aliba azikiriza ababi, ajja kuwonyaawo abalungi babeere mu nsi empya Katonda gye yasuubiza.