EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OMANYI KATONDA KYE YAKUKOLERA?
Omukolo gw’Otosaanidde Kusubwa
Mu kiro ekyasembayo nga Yesu tannattibwa, yalagira abagoberezi be abeesigwa okujjukiranga okufa kwe. Ng’akozesa omugaati ogutaliimu kizimbulukusa n’envinnyo emmyufu, Yesu yatandikawo omukolo oguyitibwa Eky’Ekiro kya Mukama Waffe era n’agamba nti: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga nze.”
Buli mwaka, Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna baba n’omukolo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu. Omwaka guno, omukolo ogwo gujja kubaawo ku Bbalaza, nga Apuli 14, ng’enjuba emaze okugwa.
Oyanirizibwa ku mukolo ogwo. Ku lunaku olwo tujja kunnyonnyolwa ensonga lwaki okufa kwa Yesu kukulu nnyo. Okuyingira kwa bwereere, era tewajja kubaawo kusolooza ssente. Omuntu akuwadde akatabo kano asobola okukubuulira ekiseera n’ekifo awanaabeera omukolo ogwo mu kitundu kyammwe, oba oyinza okugenda ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti, jw.org. Fuba okulaba nti obaawo ku mukolo ogwo.