ABASOMI BAFFE BABUUZA . . .
Lwaki Katonda Aleka ab’Amaanyi Okunyigiriza Abanafu?
Waliwo abantu abaayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya aboogerwako mu Bayibuli. Lowooza ku kyatuuka ku Nabosi. * Mu kyasa eky’ekkumi ng’embala eno tennatandika, Akabu kabaka wa Isiraeri yaleka Yezeberi mukyala we okukola olukwe Nabosi ne batabani be ne battibwa, kabaka asobole okutwala ennimiro ya Nabosi ey’emizabbibu. (1 Bassekabaka 21:1-16; 2 Bassekabaka 9:26) Lwaki Katonda yaleka kabaka oyo okukozesa obubi obuyinza bwe?
‘Katonda tayinza kulimba.’
Ka tulabeyo ensonga emu enkulu. Katonda tayinza kulimba. (Tito 1:2) Ekyo kikwatagana kitya n’abantu okunyigiriza bannaabwe? Okuviira ddala ku ntandikwa, Katonda yalabula abantu nti bwe bandimujeemedde bandifudde. Okuva Adamu ne Kaawa lwe baajeemera Katonda mu lusuku Adeni, abantu bazze bafa n’okutuusa leero, era ng’ekyo kikakasa nti Katonda kye yayogera kituufu. Mu butuufu, Kayini ye muntu eyasooka okukola ekikolwa eky’obukambwe bwe yatta muganda we Abbeeri.
Ng’eyogera ku ngeri abantu gye bazze bayisaamu bannaabwe, Bayibuli egamba nti: ‘Wabaawo ekiseera omuntu lw’abeera n’obuyinza ku mulala olw’okumukola obubi.’ (Omubuulizi 8:9) Ebigambo ebyo bituukiridde? Yakuwa Katonda yalabula abantu be, Abaisiraeri, nti bakabaka baabwe bandibanyigirizza, ekyandiviiriddeko abantu okumukaabirira. (1 Samwiri 8:11-18) Ne Kabaka Sulemaani eyalina amagezi amangi yanyigiriza abantu. (1 Bassekabaka 11:43; 12:3, 4) Bakabaka ababi, gamba nga Akabu, bo ate baanyigirizanga nnyo abantu. Kati lowooza ku kino: Singa ebikolwa ebyo byonna ebibi Katonda yabiziyiza ne bitabaawo, ebyo bye yayogera ku ngeri abantu gye bandifuzeemu tebyandibadde bya bulimba?
‘Wabaawo ekiseera omuntu lw’abeera n’obuyinza ku mulala olw’okumukola obubi.’
Ate era kijjukire nti Sitaani yagamba nti abantu baweereza Katonda olw’okuba alina by’abawa. (Yobu 1:9, 10; 2:4) Singa Katonda akuuma abaweereza be ne batatuukibwako kizibu kyonna, ekyo tekyandiraze nti Sitaani kye yayogera kituufu? Ate era singa Katonda akuuma abantu bonna ne batafuna kizibu kyonna, ekyo kyandiraze nti Bayibuli by’eyogera bya bulimba. Bangi bandirowoozezza nti abantu basobola okwefuga bokka ne baba bulungi nga tebagoberedde bulagirizi bwa Katonda, so ng’ate Bayibuli eraga nti ekyo tekisoboka. (Yeremiya 10:23) Twetaaga Obwakabaka bwa Katonda kubanga bwe bwokka obujja okuggyawo ebizibu byonna.
Ekyo kitegeeza nti Katonda tafaayo abantu bwe baba banyigiriza bannaabwe? Nedda. Lowooza ku nsonga bbiri. Esooka, atutegeeza engeri abantu gye banyigirizaamu bannaabwe. Ng’ekyokulabirako, Ekigambo kye kiraga kalonda yenna akwata ku lukwe lwa Yezeberi olw’okutta Nabosi. Ate era Bayibuli eraga nti ebikolwa ebibi ng’ekyo bikubirizibwa omufuzi ow’amaanyi atayagala bantu bamumanye. (Yokaana 14:30; 2 Abakkolinso 11:14) Bayibuli egamba nti ye Sitaani Omulyolyomi. Katonda okwanika ebikolwa ng’ebyo ebibi n’oyo akubiriza abantu okubikola, kituyamba okwewala ebikolwa ebyo. Bwe tubyewala Katonda ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo.
Ensonga ey’okubiri, Katonda asuubiza nti ajja kukomya ebikolwa ebibi byonna. Engeri gye yayanikamu Akabu ne Yezeberi, n’engeri gye yababonerezaamu nga mw’otwalidde n’abalala abaali nga bo, bitukakasa nti ddala Katonda ajja kubonereza abantu bonna ababi nga bwe yasuubiza. (Zabbuli 52:1-5) Ate era Katonda asuubiza nti ajja kuggyawo ebizibu byonna abo abamwagala basobole okunyumirwa obulamu. * Nabosi ne batabani be bajja kuzuukizibwa babeere wano ku nsi eriba efuuliddwa olusuku lwa Katonda era eteribaamu butali bwenkanya.
^ lup. 3 Laba ekitundu ekirina omutwe, “Koppa Okukkiriza Kwabwe” ekiri mu katabo kano.
^ lup. 8 Laba essuula 11 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.