Ddala Eriyo Eddiini Eyeesigika?
Bwe wabaawo eddiini eyakuviirako okwetamwa amadiini, kiyinza okukuzibuwalira okwesiga eddiini endala yonna. Naye beera mukakafu nti waliwo eddiini eyeesigika. Yesu bwe yali ku nsi, yayigiriza abagoberezi be emitindo gya Katonda egy’empisa. Abagoberezi ba Kristo ab’amazima abakola Katonda by’ayagala ne leero weebali. Oyinza kubategeera otya?
Estelle, eyayogeddwako agamba nti: “Oluvannyuma Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okunjigiriza Bayibuli. Mu kaseera katono ‘nnamanya amazima, era amazima ne ganfuula wa ddembe.’”—Yokaana 8:32
Ray, nga naye yayogeddwako yagamba nti: “Abajulirwa ba Yakuwa bwe baatandika okunjigiriza Bayibuli, nnakitegeera nti Katonda si y’atuleetera okubonaabona. Ate era nnayiga nti Katonda alina ensonga ennungi lwaki akyaleseewo okubonaabona, era asuubiza nti anaatera okukuggyawo.”
Kyo kituufu nti kizibu okweyisa obulungi ng’abantu abasinga obungi beeyisa bubi. Naye kisoboka. Abantu bangi beetaaga okuyambibwa okutegeera Bayibuli n’okukolera ku ebyo by’eyigiriza. N’olw’ensonga eyo, Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna bayigiriza obukadde n’obukadde bw’abantu Bayibuli ku bwereere. Buli wiiki, abantu bangi bayigirizibwa Bayibuli, ekibayamba okufuna enkolagana ennungi n’Omutonzi waabwe n’okufuna essanyu erya nnamaddala. *
Buuza Abajulirwa ba Yakuwa ensonga kwe basinziira okwesiga eddiini yaabwe
Lw’onoddamu okusisinkana Abajulirwa ba Yakuwa, babuuze ensonga kwe basinziira okwesiga eddiini yaabwe. Weekenneenye ebyo bye bayigiriza era weetegereze engeri gye beeyisaamu. Oluvannyuma weesalirawo eddiini gy’osobola okwesiga.
^ Okumanya ebisingawo, soma akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.