Musa—Omusajja Eyalina Okukkiriza
OKUKKIRIZA KUZINGIRAMU KI?
Okusinziira ku Bayibuli, “okukkiriza” kuzingiramu okuba omukakafu nti ekintu ky’osuubira kijja kutuukirira. Omuntu akkiririza mu Katonda aba mukakafu nti Katonda ajja kutuukiriza byonna by’asuubizza.
MUSA YAYOLEKA ATYA OKUKKIRIZA?
Ebyo Musa bye yasalawo mu bulamu bwe biraga nti yali akkiririza mu bisuubizo bya Katonda. (Olubereberye 22:15-18) Yali asobola okusigala mu bulamu obweyagaza mu Misiri, naye yalondawo “okuyisibwa obubi awamu n’abantu ba Katonda, mu kifo ky’okubeera mu ssanyu ly’ekibi ery’akaseera obuseera.” (Abebbulaniya 11:25) Musa yejjusa olw’ekyo kye yasalawo? Nedda, teyejjusa kubanga Bayibuli egamba nti Musa “yeeyongera okuba omunywevu ng’alinga alaba Oyo atalabika.”—Abebbulaniya 11:27.
Musa yanywezanga okukkiriza kw’abalala. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo ekyaliwo Abaisiraeri bwe baali balowooza nti bataayiziddwa wakati w’eggye lya Falaawo n’Ennyanja Emmyufu. Olw’okuba baali batidde nnyo, baakaabirira Yakuwa ne Musa. Musa yandikoze ki?
Musa ayinza okuba nga yali tamanyi nti Katonda yali agenda kwawulamu Ennyanja Emmyufu kisobozese Abaisiraeri okufuna ekkubo mwe bandiyise nga badduka abalabe baabwe. Kyokka, yali mukakafu nti waliwo Katonda kye yandikozeewo okukuuma abantu be. Musa yali ayagala Baisiraeri banne nabo babe bakakafu ku ekyo. Bayibuli egamba nti: “Musa n’abagamba abantu nti Temutya, muyimirire buyimirizi, mulyoke mulabe obulokozi bwa Mukama bw’anaabakolera leero.” (Okuva 14:13) Musa yayamba Baisiraeri banne okuba n’okukkiriza okunywevu, kubanga Bayibuli egamba nti: “Olw’okukkiriza, baayita mu Nnyanja Emmyufu nga balinga abayita ku lukalu.” (Abebbulaniya 11:29) Okukkiriza kwa Musa kwamuganyula era ne kuganyula n’abalala.
BIKI BYE TUMUYIGIRAKO?
Tusobola okukoppa Musa nga tusalawo mu ngeri eraga nti tukkiririza mu bisuubizo bya Katonda. Ng’ekyokulabirako, Katonda atusuubiza okutuwa bye twetaaga singa tukulembeza by’ayagala. (Matayo 6:33) Kyo kituufu nti, kiyinza obutatwanguyira kukulembeza Katonda by’ayagala kubanga abasinga obungi essira balitadde ku kunoonya bya bugagga. Naye tusobola okuba abakakafu nti bwe twerekereza ebintu ebitali bikulu nnyo, ne twemalira ku kukola Yakuwa by’ayagala, ajja kutuwa byonna bye twetaaga. Atukakasa nti: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.”—Abebbulaniya 13:5.
Ate era tusaanidde okuyamba abalala okuba n’okukkiriza. Abazadde basaanidde okukimanya nti kikulu nnyo okuyamba abaana baabwe okukkiririza mu Katonda. Beetaaga okuyigiriza abaana baabwe okuviira ddala mu buto nti Katonda gyali era nti atuyamba okumanya ekituufu n’ekikyamu. Okugatta ku ekyo, kikulu nnyo abazadde okuyamba abaana baabwe okuba abakakafu nti okugoberera emitindo gya Katonda kye kijja okubasobozesa okuba mu bulamu obusingayo obulungi. (Isaaya 48:17, 18) Abazadde bwe bayamba abaana baabwe okukkiriza nti Katonda “waali era nti y’awa empeera abo abafuba okumunoonya,” baba babawadde ekirabo eky’omuwendo ennyo.—Abebbulaniya 11:6.