Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abaana Basaanidde Okuyiga Ebikwata ku Katonda?

Abaana Basaanidde Okuyiga Ebikwata ku Katonda?

Abaana Basaanidde Okuyiga Ebikwata ku Katonda?

“Amadiini agaliwo gatuleetera buleetezi kukyawagana, so si kwagalana.”​—JONATHAN SWIFT, OMUWANDIISI W’EBITABO OMUNGEREZA.

WADDE ng’omwami ayitibwa Swift yayogera ebigambo ebyo mu kyasa ekya 18, abantu bangi leero bayinza okukkiriziganya naye. Mu butuufu, abamu balowooza nti abazadde tebasaanidde kuyigiriza baana baabwe bikwata ku Katonda. Balowooza nti si kirungi abaana okukulira mu maka agettanira eby’eddiini.

Gwe olowooza otya? Eruwa ku nsonga zino wammanga esinga okuba ey’amakulu?

● Abazadde tebasaanidde kuyigiriza baana baabwe ebikwata ku Katonda.

● Abazadde basaanidde okulinda abaana baabwe bakule balyoke babayigirize ebikwata ku ddiini.

● Ng’abaana bakyali bato, abazadde basaanidde okubayigiriza enzikiriza zaabwe. Naye abaana bwe bagenda bakula, abazadde basaanidde okubakubiriza okulowooza ku nsonga eyo basobole okwesalirawo.

● Abaana bateekwa buteekwa kugoberera ddiini y’abazadde baabwe.

Eddiini Ya Kabi eri Abaana?

Tewali muzadde mulungi yandyagadde kulumya mwana we. Naye, ebizuuliddwa biwagira endowooza z’abo abagamba nti tekyandibadde kituufu kuyigiriza baana ebikwata ku Katonda? Abeekenneenya bamaze emyaka mingi nga banoonyerezza ku ekyo enzikiriza z’abazadde kye ziyinza okukola ku baana baabwe. Kiki kye bazudde?

Abeekenneenya bakizudde nti mu kifo ky’eddiini okuba ey’akabi eri abaana ng’abantu abamu bwe balowooza, esobola okuba ey’omuganyulo mu kukula kw’omwana. Lipoota eyafulumizibwa mu magazini eyitibwa Social Science Research * mu 2008 egamba nti: “Kizuuliddwa nti eddiini esobola okunyweza enkolagana wakati w’abaana n’abazadde.” Lipoota eno yagattako nti: “Eddiini n’okufaayo ku by’omwoyo kirabika bikulu nnyo mu bulamu bw’abaana era nga binyweza enkolagana ebaawo mu maka.” Weetegereze ngeri ebyo gye bikwataganamu n’ebigambo bya Yesu: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”​—Matayo 5:3.

Ate kiri kitya ku ndowooza egamba nti abaana balina kusooka kukula balyoke bayige ebikwata ku Katonda n’eddiini? Endowooza eyo eyawukana ku bukakafu buno: Obwongo bw’omwana bulinga ensuwa enkalu eyeetaaga okujjuzibwa. Mu butuufu, abazadde balina okusalawo ekimu ku bino: bo bennyini okujjuza “ensuwa” eyo emitindo gy’empisa awamu n’enzikiriza ze bamanyi nti zijja kuyamba abaana baabwe oba okuleka abantu abalala abatali ba mu maka okujjuza obwongo n’emitima gy’abaana abo endowooza zaabwe.

Omanyi Ekyama?

Ebyafaayo biraga nti eddiini esobola okusiga obusosoze n’obukyayi mu bantu. Kati olwo abazadde bayinza batya okwewala ekyo Jonathan Swift kye yayogerako? Bayinza batya okuyigiriza abaana baabwe enzikiriza ezinaabayamba okwagala abalala?

Okusobola okutegeera ekyama ekyo, weetaaga okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebisatu: (1) Biki abaana bye basaanidde okuyiga? (2) Ani asaanidde okubayigiriza? (3) Ngeri ki ezisingayo obulungi z’oyinza okubayigirizaamu?

[Obugambo obuli wansi]

^ Okunoonyereza okwo kwakolebwa ku baana abasukka mu 21,000 ababeera mu Amerika, nga kw’otadde abazadde n’abasomesa baabwe.