Lwaki Osaanidde Okuyigirizibwa Katonda?
Yiga Okuva Mu Kigambo Kya Katonda
Lwaki Osaanidde Okuyigirizibwa Katonda?
Ekitundu kino kirimu ebibuuzo by’oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako era kiraga w’oyinza okusanga eby’okuddamu mu Bayibuli yo. Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu okukubaganya naawe ebirowoozo ku by’okuddamu ebyo.
1. Lwaki osaanidde okuyigirizibwa Katonda?
Katonda alina amawulire amalungi eri abantu bonna agakwata ku kintu ekisinga obulungi. Atubuulira ebikikwatako okuyitira mu Bayibuli. Bayibuli eringa ebbaluwa okuva eri Kitaffe ow’okwagala ali mu ggulu.—Soma Yeremiya 29:11.
2. Amawulire ago amalungi ge galuwa?
Abantu bonna beetaaga gavumenti ennungi. Tewali mufuzi n’omu wano ku nsi asobodde okuggyawo ettemu, obutali bwenkanya, endwadde, oba okufa. Naye waliwo amawulire amalungi. Katonda ajja kuwa abantu gavumenti ennungi. Ejja kuggyawo ebintu byonna ebireetera abantu okubonaabona.—Soma Danyeri 2:44.
3. Lwaki kikulu okuyigirizibwa Katonda?
Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kuggyawo abantu bonna abaleetera abalala okubonaabona. Mu kiseera kino, ayigiriza abantu bukadde na bukadde abawombeefu okuba mu bulamu obulungi obulimu okwagalana. Okuyitira mu kusoma Ekigambo kya Katonda, abantu bayiga engeri y’okwaŋŋangamu ebizibu, engeri y’okufuna essanyu erya nnamaddala, n’engeri gye bayinza okusanyusaamu Katonda.—Soma Zeffaniya 2:3.
4. Ani Yawandiika Bayibuli?
Bayibuli erimu ebitabo 66. Yawandiikibwa abasajja 40. Ebitabo ebitaano ebisooka byawandiikibwa Musa emyaka nga 3,500 emabega. Ekitabo ekisembayo kyawandiikibwa omutume Yokaana era nga wayiseewo emyaka egisoba mu 19,000. Naye abo abaawandiika Bayibuli, baawandiika birowoozo bya Katonda so si byabwe. N’olwekyo Katonda ye yawandiika Bayibuli.—Soma 2 Timoseewo 3:16; 2 Peetero 1:21.
Tumanyi nti Bayibuli Kigambo kya Katonda kubanga buli ky’eragula kituukirira. Tewali muntu asobola kukola kintu ng’ekyo. (Isaaya 46:9, 10) Ate era, Bayibuli etubuulira engeri za Katonda. Erina amaanyi agasobola okukyusa obulamu bw’abantu. Bino byonna bireetedde abantu bukadde na bukadde okukakasa nti Baibuli Kigambo kya Katonda.—Soma Yoswa 23:14; 1 Abassessaloniika 2:13.
5. Osobola otya okutegeera Bayibuli?
Yesu yayatiikirira nnyo ng’omusomesa w’Ekigambo kya Katonda. Wadde ng’abantu abasinga obungi be yayogeranga nabo baali basomi ba Bayibuli, baali beetaaga okuyambibwa basobole okugitegeera. Okusobola okubayamba, Yesu yajulizanga Ebyawandiikibwa eby’enjawulo era n’abannyonnyola ‘n’amakulu gaabyo.’ Ekitundu kino ekiyitibwa, “Yiga Okuva mu Kigambo kya Katonda,” kijja kukola kye kimu okukuyamba.—Soma Lukka 24:27, 45.
Teri kisinga kuleeta ssanyu ng’okuyigirizibwa Katonda ku bikwata ku kigendererwa ky’obulamu. Naye abantu abamu tebajja kusanyuka kukulaba ng’oyiga Bayibuli. Naye ekyo tokiganya kukulemesa. Essuubi lyo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo lyesigamye ku kumanya Katonda.—Soma Matayo 5:10-12; Yokaana 17:3.
Okumanya ebisingawo, laba essuula 2 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.