OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Noovemba 2015

Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa mu kibiina okuva nga Ddesemba 28, 2015, okutuuka nga Jjanwali 31, 2016.

Yamba Omwana Wo Akyali Omuto Okuweereza Yakuwa

Waliwo engeri ssatu Yesu ze yayoleka ng’ali ku nsi ezisobola okukuyamba okutendeka obulungi abaana bo.

Yamba Abaana Bo Abatiini Okuweereza Yakuwa

Oyinza otya okuyamba omwana wo omutiini okukulaakulana mu by’omwoyo?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Bukakafu ki obulaga nti ekibuga Yeriko kyawambibwa mu kiseera kitono nnyo oluvannyuma lw’okukizingiza?

Kirage nti Osiima Ebyo Yakuwa by’Atukoledde

Bayibuli eraga endowooza gye tusaanidde okuba nayo nga tuwaayo ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.

Yakuwa Ye Katonda ow’Okwagala

Yakuwa akyolese atya nti ayagala nnyo abantu?

Oyagala “Muntu Munno nga Bwe Weeyagala Wekka”?

Osobola okukolera ku kiragiro kya Yesu mu bufumbo bwo, mu kibiina, ne mu mulimu gw’okubuulira.

Emyaka Kikumi ng’Obwakabaka Bufuga!

Bintu ki ebisatu ebituyambye okukola obulungi omulimu gw’okubuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda?

OKUVA MU TTEREKERO LYAFFE

“Tewali Kintu Kyonna Wansi w’Enjuba Kisaanidde Kubalemesa!”

Bapayoniya abaali mu Bufalansa myaka gya 1930 baali banyiikivu era nga bagumiikiriza.