“Bw’Otyo Bwe Wasiima”
“Ebintu bino wabikweka abagezi n’abayivu, n’obibikkulira abaana abato.”
1. Kiki ekyaleetera Yesu ‘okujjula essanyu n’omwoyo omutukuvu’? (Laba ekifaananyi waggulu.)
LOWOOZA ku ngeri Yesu Kristo gye yali afaananamu ‘ng’ajjudde essanyu n’omwoyo omutukuvu.’ Ayinza okuba nga yali ataddeko akamwenyumwenyu era nga yenna ajjudde essanyu. Kiki ekyali kimuleetedde essanyu eryo? Emabegako yali asindise abayigirizwa be 70 okugenda okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Yali ayagala okulaba engeri gye bandikozeemu omulimu gwe yali abakwasizza. Mu kiseera ekyo, waaliwo bangi abaali baziyiza omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi, nga muno mwe mwali abawandiisi n’Abafalisaayo abaali abayivu. Abawandiisi n’Abafalisaayo baaleetera abantu bangi okunyooma Yesu nga bamutwala ng’omubazzi obubazzi era nga n’abayigirizwa be babatwala ng’abantu ‘abataayigirizibwa nnyo.’ (Bik. 4:13; Mak. 6:3) Wadde kyali kityo, abayigirizwa baakomawo nga bava okubuulira nga basanyufu nnyo. Mu butuufu ne badayimooni tebaasobola kubalemesa kubuulira! Kiki ekyabayamba okusigala nga bavumu era nga basanyufu?
2. (a) Lwaki Yesu yayita abayigirizwa be abaana abato? (b) Kiki ekyayamba abagoberezi ba Kristo okutegeera ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda?
2 Weetegereze ebigambo Yesu bye yagamba Yakuwa. Yamugamba nti: “Nkutendereza mu lujjudde, Kitange, Mukama w’eggulu Mat. 11:25, 26) Lwaki Yesu yayita abayigirizwa be abaana abato? Kubanga obutafaananako abantu abayivu era abaali beetwala okuba abagezi, abayigirizwa ba Yesu baali beetegefu okuyigirizibwa era nga beetoowaze. (Mat. 18:1-4) Okuba abeetoowaze kyabaganyula kitya? Yakuwa yakozesa omwoyo omutukuvu n’abayamba okutegeera ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kye, naye ng’ate abo abaali batwalibwa okuba abayivu tebaasobola kubitegeera olw’okuba baali ba malala era nga ne Sitaani abazibye amaaso.
n’ensi, kubanga ebintu bino wabikweka abagezi n’abayivu, n’obibikkulira abaana abato. Weewaawo Kitange, kubanga bw’otyo bwe wasiima.” (3. Kiki kye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?
3 Yesu kyamusanyusa nnyo okulaba engeri Yakuwa gy’ayambamu abantu abeetoowaze okutegeera ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kye, ka babe nga bayivu oba nga si bayivu. Eyo ye ngeri Yakuwa gye yasiima okukolamu ebintu era takyukanga. Yakuwa akiraze atya nti eyo ye ngeri gye yasiima okukolamu ebintu? Okwetegereza eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, naffe kijja kutuyamba okufuna essanyu lingi.
OKUYAMBA ABANTU ABA BULI NGERI OKUTEGEERA EBINTU EBY’EBUZIBA
4. Magazini ya Watchtower eri mu Lungereza olugonzeddwamu eganyudde etya abantu ba Yakuwa?
4 Ennaku zino, ekibiina kya Yakuwa kyeyongedde okuyigiriza mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi. Lowooza ku byokulabirako bino ebisatu. Ekisooka, waliwo magazini ya Watchtower eri mu Lungereza olugonzeddwamu. * Magazini eyo eyambye abantu bangi abasanga obuzibu mu kusoma, oba abatategeera bulungi Lungereza. Emitwe gy’amaka bangi bakirabye nti kati abaana baabwe bategeera bulungi ebyo ebifulumira mu magazini y’Omunaala gw’Omukuumi, nga guno gwe mukutu omukulu Yakuwa mw’ayitira okutuliisa mu by’omwoyo. Waliwo bangi abawandiise amabaluwa nga bakiraga nti basanyufu nnyo olw’okuba nti waliwo magazini eri mu lulimi olugonzeddwamu. Mwannyinaffe omu yagamba nti: ‘Nnatuulanga butuuzi mu lukuŋŋaana olw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi, naye kati ndwenyigiramu mu bujjuvu. Kati nziramu emirundi egiwerako era sikyalimu kutya. Nneebaza nnyo Yakuwa n’ekibiina kye olw’okutuwa magazini eyo.’
5. Lwaki Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eya 2013 nnungi nnyo?
5 Eky’okubiri, waliwo Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eyafulumizibwa ku lukuŋŋaana olwa buli mwaka olwaliwo nga Okitobba 5, 2013. * Ebyawandiikibwa bingi kati birimu ebigambo bitonoko, naye ate ng’amakulu tegaakyuka, si na kindi nga geeyongedde okuvaayo obulungi. Ng’ekyokulabirako, Yobu 10:1 mwalimu ebigambo 27 naye kati biri 19; Engero 8:6 mwalimu ebigambo 20 naye kati biri 13. Ennyiriri ezo zombi kati nnyangu okutegeera okusinga bwe kyali. Ow’oluganda omu eyafukibwako amafuta, amaze emyaka mingi ng’aweereza Yakuwa n’obwesigwa, yagamba nti: ‘Nnasomye ekitabo kya Yobu mu Enkyusa ey’Ensi Empya eya 2013, era kati mpulira nga nkitegeera bulungi!’ Waliwo n’abalala bangi aboogedde ebigambo ebifaananako ng’ebyo.
6. Owulira otya okuba nti tweyongera okutangaazibwa ku ebyo ebiri mu Matayo 24:45-47?
6 Eky’okusatu, lowooza ku nkyukakyuka ezikoleddwa gye buvuddeko awo ezikwata ku ngeri gye tutegeeramu Ebyawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, mu Omunaala gw’Omukuumi Mat. 24:45-47) Kyannyonnyolwa bulungi nti omuddu omwesigwa ke Kakiiko Akafuzi, ate ‘ng’ab’omu nju’ beebo bonna abaliisibwa mu by’omwoyo, ka babe nga baafukibwako amafuta oba nga ba ‘ndiga ndala.’ (Yok. 10:16) Nga kitusanyusa nnyo okuyiga ebintu ng’ebyo era n’okubibuulirako abapya! Bintu ki ebirala ebiraga nti Yakuwa ayagala abantu be bayigirizibwe mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi?
ogwa Jjulaayi 15, 2013, twatangaazibwa ku ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (EBIRI MU BAYIBULI BINNYONNYOLWA MU NGERI ENNYANGU ERA ETEGEEREKEKA OBULUNGI
7, 8. Ebimu ku bintu ebiri mu Bayibuli ebirina kye bikiikirira bye biruwa?
7 Bwe kiba nti omaze ekiseera kiwanvu ng’oweereza Yakuwa, oteekwa okuba ng’okirabye nti leero waliwo enjawulo mu ngeri ebintu ebiri mu Bayibuli gye binnyonnyolwamu mu bitabo byaffe. Mu biseera by’edda, mu bitabo byaffe mwafulumirangamu nnyo ebitundu ebyabanga binnyonnyola ebintu ebitali bimu ebyogerwako mu Bayibuli era ne biraga nti birina kye bikiikirira, naye ekyo kati tekikyakolebwa nnyo. Ekituufu kiri nti ebintu ebimu ebiri mu Bayibuli birina kye bikiikirira. Ng’ekyokulabirako, Yesu yayogera ku “kabonero . . . aka nnabbi Yona.” (Soma Matayo 12:39, 40.) Yesu yakiraga nti ekiseera Yona kye yamala mu lubuto lw’ekyennyanja kyali kikiikirira ekiseera kye yandimaze mu ntaana.
8 Waliwo n’ebintu ebirala ebyogerwako mu Bayibuli ebirina kye bikiikirira. Omutume Pawulo yayogera ebimu ku byo. Ng’ekyokulabirako, enkolagana eyali wakati wa Ibulayimu, Agali, ne Saala ekiikirira enkolagana eyali wakati wa Yakuwa n’eggwanga lya Isiraeri era n’enkolagana eri wakati wa Yakuwa n’ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kye. (Bag. 4:22-26) Mu ngeri y’emu, weema entukuvu ne yeekaalu, Olunaku olw’Okutangirirako Ebibi, kabona asinga obukulu, n’ebintu ebirala ebyaliwo ng’Abaisiraeri bakyali wansi w’amateeka ga Musa byali ‘kisiikirize busiikirize eky’ebintu ebirungi ebyali bigenda okujja.’ (Beb. 9:23-25, 10:1) Okusoma ku bintu ng’ebyo kisobola okunyweza okukkiriza kwaffe era kisobola okutuleetera essanyu lingi. Naye kiba kituufu okulowooza nti buli kintu ekyogerwako mu Bayibuli kirina kye kikiikirira?
9. Ebyo ebikwata ku Nabosi byannyonnyolwa bitya mu biseera by’edda?
9 Edda, enkola ng’eyo yagobererwanga nnyo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo bye tusoma ku Nabosi. Nnaabakyala Yezeberi yalagira Nabosi attibwe, omwami we, Akabu, asobole okutwala ennimiro ya Nabosi. (1 Bassek. 21:1-16) Mu mwaka 1932, kyalagibwa nti ebyo ebikwata ku Nabosi birina kye bikiikirira. Kyagambibwa nti Akabu ne Yezeberi bakiikirira Sitaani n’abagoberezi be; Nabosi akiikirira Yesu; era nti okufa kwa Nabosi kukiikirira okufa kwa Yesu. Kyokka, ekitabo ekyafulumizibwa mu 1961 ekyalina omutwe “Let Your Name Be Sanctified,” kyagamba nti Nabosi akiikirira Abakristaayo abaafukibwako amafuta, era nti Yezeberi akiikirira amadiini ga Kristendomu. Era ekitabo ekyo kyagamba nti okuyigganyizibwa kwa Nabosi, kukiikirira okuyigganyizibwa kw’abaafukibwako amafuta mu nnaku ez’enkomerero. Okumala emyaka mingi, okunnyonnyola ebintu ebiri mu Bayibuli mu ngeri eyo kyanywezanga okukkiriza kw’abantu ba Katonda. Naye lwaki kati enkola ng’eyo tekyagobererwa nnyo?
10. (a) Omuddu omwesigwa yeeyongedde atya okuba omwegendereza ng’annyonnyola ebintu ebiri mu Bayibuli? (b) Mu bitabo byaffe, kati essira lissibwa ku ki?
10 Kyokka ekiseera bwe kigenze kiyitawo, Yakuwa ayambye “omuddu omwesigwa *
era ow’amagezi” okwongera okuba omwegendereza. Kati omuddu omwesigwa yeewala okugamba nti ekintu ekiri mu Bayibuli kirina kye kikiikirira okuggyako nga waliwo obukakafu obw’amaanyi okuva mu Byawandiikibwa obukiraga. Okugatta ku ekyo, kyazuulibwa nti ebintu ebyannyonnyolwanga mu ngeri eyo byabanga bizibu okutegeera n’okujjukira. Ate era essira bwe lyassibwanga ku bintu ne kye bikiikirira, kyaleeteranga omusomi okuwugulibwa n’alemererwa okulaba ebyo by’ayinza okuyigira ku ebyo ebyogerwako mu Bayibuli. N’olwekyo, ennaku zino mu bitabo byaffe, essira lissibwa ku ebyo bye tuyigira ku bintu ebiri mu Bayibuli ebisobola okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe, okugumiikiriza, okwemalira ku Katonda, n’okwoleka engeri endala ennungi.11. (a) Kati tutegeera tutya ebyo ebikwata ku Nabosi, era ekyokulabirako kye kituganyula kitya? (b) Lwaki ennaku zino ebitabo byaffe tebikyayogera nnyo ku bintu nga biraga nti birina kye bikiikirira? (Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu magazini eno.)
11 Kati tutegeera tutya ebyo ebikwata ku Nabosi? Mu ngeri ennyangu tuyinza okugamba nti: Omusajja oyo omutuukirivu yafa, si lwa kuba nti yali akiikirira Yesu oba abaafukibwako amafuta, naye lwa kuba yali musajja mwesigwa. Yanywerera ku Mateeka ga Yakuwa ne bwe yali ng’ayigganyizibwa abo abaali bakozesa obubi obuyinza bwabwe. (Kubal. 36:7; 1 Bassek. 21:3) Ekyokulabirako kya Nabosi kya muganyulo nnyo gye tuli kubanga ffenna tusobola okwolekagana n’okuyigganyizibwa olw’okunywerera ku mateeka ga Katonda. (Soma 2 Timoseewo 3:12.) Eky’okuyiga ng’ekyo buli omu asobola okukitegeera obulungi, okukijjukira, n’okulaba engeri gye kiyinza okumuyamba okunyweza okukkiriza kwe.
12. (a) Kiki kye tuyinza okwogera ku bintu ebiri mu Bayibuli? (b) Lwaki tusobola okutegeera obulungi ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda? (Laba obugambo obuli wansi.)
12 Kati olwo tugambe nti ebintu byonna ebiri mu Bayibuli birimu bya kuyiga bye tusobola kukozesa mu bulamu bwaffe obwa bulijjo mwokka era nti tebisobola kuba na makulu malala gonna? Nedda. Leero bwe kituuka ku bintu ebimu ebyogerwako mu Bayibuli, ebitabo byaffe tebigamba nti birina kye bikiikirira. Mu kifo ky’ekyo, biraga *
engeri ebintu ebyo gye bikwataganamu n’ebirala. Ng’ekyokulabirako, ebyo bye tusoma ku ngeri Nabosi gye yayigganyizibwamu era n’asigala nga mwesigwa okutuukira ddala okufa, bitujjukiza engeri Kristo gye yayolekamu obwesigwa n’engeri abaafukibwako amafuta gye booleseemu obwesigwa. Ate era bisobola okutujjukiza obwesigwa abagoberezi ba Kristo bangi ‘ab’endiga endala’ bwe boolese. Ekyo kiraga nti Yakuwa atuyigiriza mu ngeri ennyangu okutegeera.OKUNNYONNYOLA ENGERO ZA YESU MU NGERI ENNYANGU
13. Byakulabirako ki ebiraga nti kati tunnyonnyola engero za Yesu mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi?
13 Yesu ye Muyigiriza asinga bonna abaali babadde ku nsi. Bwe yabanga ayigiriza, Yesu yakozesanga nnyo engero. (Mat. 13:34) Okukozesa engero oba ebyokulabirako mu kuyigiriza kisobozesa omuntu okunnyonnyola ebintu ebizibu mu ngeri ennyangu, okuyamba abamuwuliriza okufumiitiriza, era kimusobozesa n’okubatuuka ku mitima. Emyaka bwe gizze giyitawo, ebitabo byaffe bizze binnyonnyola engero za Yesu mu ngeri ennyangu era etegerekeka obulungi. Ng’ekyokulabirako, Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 15, 2008 gwatuyamba okweyongera okutegeera olugero lwa Yesu olw’ekizimbulukusa, olw’akasigo ka kalidaali n’olw’akatimba. Kati tutegeera bulungi nti engero ezo zikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, n’ebyo bye bukoze mu kuyamba abantu okwesamba ensi ya Sitaani ne bafuuka abagoberezi ba Kristo ab’amazima.
14. (a) Mu biseera by’edda twannyonnyola tutya olugero lwa Yesu olw’Omusamaliya omulungi? (b) Leero tutegeera tutya olugero lwa Yesu olwo?
14 Tuyinza tutya okutegeera engero za Yesu ezoogera ku bintu ebiwerako? Kyo kituufu nti ezimu ku ngero ezo zirimu obunnabbi, ate endala zirimu ebintu bye tulina okukolerako mu bulamu bwaffe obwa bulijjo. Naye tuyinza tutya okumanya obanga olugero lwa bunnabbi oba si lwa bunnabbi? Emyaka bwe gigenze giyitawo, tweyongedde okutegeera engero ez’obunnabbi n’ezitali za bunnabbi. Lowooza ku ngeri gye twali tunnyonnyolamu olugero lwa Yesu olw’Omusamaliya omulungi. (Luk. 10:30-37) Mu Watch Tower eya 1924, kyagambibwa nti Omusamaliya akiikirira Yesu; oluguudo olukkirira okuva e Yerusaalemi okudda e Yeriko lukiikirira embeera y’abantu egenze yeeyongera okwonooneka okuva obujeemu lwe bwabalukawo mu Adeni; ababbi abali ku luguudo bakiikirira amakampuni amanene n’abasuubuzi ab’omululu; ate kabona n’Omuleevi bakiikirira Kristendomu. Leero, ebitabo byaffe bikozesa olugero olwo okujjukiza Abakristaayo bonna nti tulina okwewala okusosola bwe tuba tuyamba abo ababa mu bwetaavu, naddala obw’eby’omwoyo. Tekitusanyusa nnyo okukiraba nti kati Yakuwa atuyigiriza mu ngeri ennyangu okutegeera?
15. Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
15 Mu kitundu ekiddako, tujja kwekenneenya olugero lwa Yesu olulala olukwata ku bawala ekkumi embeerera. (Mat. 25:1-13) Olugero olwo Yesu yali ayagala abagoberezi be abandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero balutegeere batya? Kyandiba nti buli muntu, buli kintu, na buli mbeera ebyogerwako mu lugero olwo birina kye bikiikirira? Oba kyandiba nti Yesu yali ayagala abagoberezi be bafunemu eby’okuyiga bye bandikozesezza mu bulamu bwabwe obwa bulijjo mu nnaku ez’enkomerero? Ekyo tujja kukiraba.
^ lup. 4 Magazini ya Watchtower eri mu Lungereza olugonzeddwamu yatandika okufulumizibwa mu Jjulaayi 2011. Kati waliwo n’ennimi endala ezikola kye kimu.
^ lup. 5 Enteekateeka zikoleddwa enkyusa eyo okuvvuunulwa mu nnimi endala.
^ lup. 10 Ng’ekyokulabirako, ekitabo Koppa Okukkiriza Kwabwe kyogera ku bantu 14 aboogerwako mu Bayibuli. Mu kitabo ekyo, essira lissibwa ku bye tuyigira ku bantu abo, so si ku ebyo bye bakiikirira.
^ lup. 12 Kyo kituufu nti mu Kigambo kya Katonda mulimu n’ebintu ebiyinza okulabika ‘ng’ebizibu okutegeera,’ nga muno mwe muli n’ebimu ku ebyo Pawulo bye yawandiika. Naye tusaanidde okukijjukira nti abo bonna abaawandiika Bayibuli baaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu. Omwoyo ogwo era gwe guyamba Abakristaayo ab’amazima leero okutegeera obulungi ‘ebintu bya Katonda eby’ebuziba.’