Okuba n’Obufumbo Obunywevu era obw’Essanyu
“Mukama bw’atazimba nnyumba, abagizimba bakolera bwereere.”
1-3. Buzibu ki abafumbo bwe boolekagana nabwo? (Laba ekifaananyi waggulu.)
OMUSAJJA omu amaze emyaka 38 mu bufumbo agamba nti: “Bw’okola kyonna ekisoboka okunyweza obufumbo bwo, Yakuwa akuwa emikisa.” Mu butuufu, omwami n’omukyala basobola bulungi okuba n’obufumbo obw’essanyu era basobola okuyambagana mu biseera ebizibu.
2 Kyokka abafumbo batera okufuna ebizibu ebitali bimu era ekyo Bayibuli ekiyita ‘okubonaabona mu mubiri.’ (1 Kol. 7:28) Lwaki kiri bwe kityo? Ebizibu ebijjawo buli lunaku bisobola okumalawo essanyu mu bufumbo. Olw’okuba omwami n’omukyala tebatuukiridde, ebiseera ebimu bayinza okufuna obutategeeragana oba buli omu ayinza okwogera ebintu ebirumya munne. (Yak. 3:2, 5, 8) Abafumbo bangi emirimu gye bakola gibakooya nnyo ate nga bwe baddayo awaka baba n’emirimu mingi egy’okukola, nga mw’otwalidde n’okulabirira abaana baabwe. Abafumbo abakola ennyo era nga bakoowa nnyo kibabeerera kizibu okufuna ebiseera ebimala okunyweza obufumbo bwabwe. Ate oluusi obuzibu bw’eby’enfuna, obulwadde, oba ebizibu ebirala biyinza okuleetera omwami n’omukyala okulekera awo okuwaŋŋana ekitiibwa era kiyinza okuleetera okwagala kwabwe okukendeera. Okugatta ku ekyo, “ebikolwa eby’omubiri,” gamba ng’obwenzi, obugwenyufu, empalana, empaka, okuyomba, obusungu, n’obuggya, bisobola okwonoona obufumbo.
3 Ate era mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma’ abantu abasinga obungi beerowoozaako bokka era tebassa kitiibwa mu Katonda, ekintu ekireetedde obufumbo bungi okwonooneka. (2 Tim. 3:1-4) Okugatta ku ekyo, waliwo omulabe ow’amaanyi ayagala okwonoona obufumbo. Omutume Peetero yagamba nti: “Omulabe wammwe Sitaani atambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.”
4. Omwami n’omukyala bayinza batya okuba n’obufumbo obunywevu era obw’essanyu?
4 Omusajja omu mu Japan yagamba nti: “Eby’enfuna byange bwe byagootaana, kyambeerera kizibu okufuna ebiseera okunyumyako ne mukyala wange. N’ekyavaamu, mukyala wange yatandika okweraliikirira ennyo. Okugatta ku ekyo, mukyala wange yafuna obulwadde obw’amaanyi. Ebiseera ebimu, ebizibu ebyo byatuleeteranga okufuna obutategeeragana.” Omwami n’omukyala tebasobola kwewalira ddala bizibu mu bufumbo bwabwe, naye basobola okubivvuunuka. Bwe beesiga Yakuwa, asobola okubayamba okuba n’obufumbo obunywevu era obulimu essanyu. (Soma Zabbuli 127:1.) Kati ka twetegerezeeyo ebintu bitaano ebisobola okuyamba omwami n’omukyala okuba n’obufumbo obunywevu. Ate era tugenda kulaba ensonga lwaki okwagala kintu kikulu mu bufumbo.
MUKULEMBEZE YAKUWA MU BUFUMBO BWAMMWE
5, 6. Omwami n’omukyala bayinza batya okukulembeza Yakuwa mu bufumbo bwabwe?
5 Omwami n’omukyala bwe baba abeesigwa era ne bagondera Yakuwa, Oyo eyatandikawo enteekateeka y’obufumbo, kiyamba obufumbo bwabwe okunywera. (Soma Omubuulizi 4:12.) Omwami n’omukyala basobola okukulembeza Yakuwa mu bufumbo bwabwe nga bakolera ku bulagirizi bwe. Bayibuli egamba nti: “Amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti Lino lye kkubo, mulitambuliremu; bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo, era bwe munaakyamiranga ku gwa kkono.” (Is. 30:20, 21) Leero, omwami n’omukyala basobola ‘okuwulira’ ekigambo kya Yakuwa nga basomera wamu Bayibuli. (Zab. 1:1-3) Era basobola okunyweza obufumbo bwabwe nga baba n’okusinza kw’amaka obutayosa, ekintu ekiyinza okubayamba okunywera mu by’omwoyo n’okufuna essanyu. Ate era okusabirako awamu buli lunaku nakyo kisobola okunyweza obufumbo bwabwe n’okubayamba okuziyiza emitego gya Sitaani.
6 Ow’oluganda ayitibwa Gerhard ow’omu Bugirimaani agamba nti: “Buli lwe tufuna ebizibu mu maka gaffe, tukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda. Ekyo kituyambye okuba abagumiikiriza n’okusonyiwagana. Obugumiikiriza n’okusonyiwagana biyamba obufumbo okubaamu essanyu.” Omwami n’omukyala bwe bakulembeza Katonda mu bufumbo bwabwe nga bakolera wamu ebintu eby’omwoyo, banyweza enkolagana yaabwe ne Katonda era nabo beeyongera okwagalana.
ABAAMI MUFUBE OKUBA EMITWE GY’AMAKA ABALUNGI
7. Omwami asaanidde kuyisa atya mukyala we?
7 Engeri omwami gy’akulemberamu ab’omu maka ge erina kinene ky’ekola mu kuyamba obufumbo okuba obunywevu era obw’essanyu. Bayibuli egamba nti: “Omutwe gw’omusajja ye Kristo; ate omutwe gw’omukazi ye musajja.” (1 Kol. 11:3) Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti abasajja basaanidde okuyisa bakyala baabwe nga Kristo bwe yayisa abayigirizwa be. Yesu teyali mukambwe era teyali mukakanyavu. Mu kifo ky’ekyo, yayoleka okwagala, ekisa, n’obwetoowaze.
8. Kiki omwami ky’ayinza okukola okuleetera mukyala we okumwagala n’okumussaamu ekitiibwa?
8 Abaami Abakristaayo tekibeetaagisa kugamba bakyala baabwe kubassaamu kitiibwa. Mu kifo ky’ekyo, ‘beeyongera okubeera n’abakazi baabwe nga babategeera bulungi, nga babassaamu ekitiibwa ng’ebibya ebinafu.’ (1 Peet. 3:7) Abasajja ng’abo bakyoleka mu mbeera yonna nti bakyala baabwe ba muwendo nnyo gye bali. (Nge. 31:28) Ekyo kireetera bakyala baabwe okubaagala ennyo n’okubassaamu ekitiibwa, era ne Yakuwa awa obufumbo ng’obwo emikisa.
ABAKYALA MUGONDERENGA ABAAMI BAMMWE
9. Omukyala ayinza atya okukiraga nti akkiriza obufuzi bwa Yakuwa?
9 Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutukubiriza ‘okwewombeeka wansi w’omukono gwe ogw’amaanyi.’ (1 Peet. 5:6) Engeri emu omukyala gy’ayinza okukiraga nti akkiriza obufuzi bwa Yakuwa kwe kugondera omwami we. Bayibuli egamba nti: “Mmwe abakyala, mugonderenga abaami bammwe nga bwe kigwanira mu Mukama waffe.” (Bak. 3:18) Kya lwatu nti si buli kintu omwami ky’asalawo nti kijja kusanyusa mukyala we. Wadde kiri kityo, bwe kiba nti ekyo omwami ky’asazeewo tekikontana na mateeka ga Katonda, omukyala omuwulize ajja kuwagira omwami we.
10. Lwaki kikulu nnyo omukyala okugondera omwami we?
10 Omukyala alina ekifo kikulu nnyo mu maka. Bayibuli emwogerako nga ‘munne’ w’omwami. (Mal. 2:14) Omwami we bw’aba alina ebintu by’asalawo mu maka, omukyala asobola okumuyambako ng’awa endowooza ye mu ngeri eraga nti assaamu omwami we ekitiibwa. Omwami ow’amagezi naye afuba okuwuliriza obulungi ekyo mukyala we ky’agamba. (Nge. 31:10-31) Omukyala bw’agondera omwami we, kiyamba amaka okubaamu emirembe n’okuba obumu. Mu butuufu, omwami n’omukyala bwe bakimanya nti basanyusa Katonda, kibaleetera essanyu lingi.
MUSONYIWAGANENGA
11. Lwaki abafumbo basaanidde okusonyiwagana?
11 Omwami n’omukyala bwe baba ab’okuba n’obufumbo obunywevu, balina okuba nga basonyiwagana. Bayibuli egamba nti: “Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne.” (Bak. 3:13) Singa abafumbo tebasonyiwagana era ensonga ezaabatabula emabega ne bazikomyangawo buli kaseera, ekyo kisobola okunafuya obufumbo bwabwe. Ng’enjatika bwe zisobola okunafuya ekizimbe, okusiba ekiruyi kisobola okulemesa omwami n’omukyala okusonyiwagana. Ku luuyi olulala, singa omwami n’omukyala buli omu aba mwetegefu okusonyiwa munne, nga Yakuwa bw’abasonyiwa, ekyo kinyweza obufumbo bwabwe.
12. Mu ngeri ki okwagala gye ‘kubikka ku bibi ebingi’?
12 Okwagala okwa nnamaddala “tekusiba kiruyi.” Mu butuufu, “okwagala kubikka ku bibi bingi.” (1 Kol. 13:4, 5; soma 1 Peetero 4:8.) Mu ngeri endala, omuntu alina okwagala okwa nnamaddala tateeka kkomo ku bibi bimeka by’alina okusonyiwa. Omutume Peetero bwe yabuuza emirundi emeka gy’alina okusonyiwa omuntu aba amusobezza, Yesu yamugamba nti: “Emirundi nsanvu mu musanvu.” (Mat. 18:21, 22) Ebigambo bya Yesu ebyo biraga nti tewali kkomo ku mirundi emeka Omukristaayo gy’alina okusonyiwa abalala.
13. Kiki ekisobola okuyamba omwami n’omukyala okusonyiwagana?
13 Annette agamba nti: “Singa omwami n’omukyala baba tebasonyiwagana, kiyinza okubaleetera okusiba ekiruyi, ekintu eky’akabi ennyo eri obufumbo bwabwe. Omwami n’omukyala bwe basonyiwagana, kinyweza obufumbo bwabwe era kibaleetera okwongera okwagalana.” Singa omwami n’omukyala buli omu afuba okulaba ebirungi mu munne era n’amusiima, kisobola okubayamba okusonyiwagana. Bw’oba oli mufumbo, fubanga okusiima munno. (Bak. 3:15) Bw’onookola bw’otyo, ojja kufuna emirembe mu mutima, ojja kuba bumu ne munno mu bufumbo, era ojja kusanyusa Katonda.
MUNNO MU BUFUMBO MUYISE NGA BWE WANDYAGADDE AKUYISE
14, 15. Bigambo ki ebya Yesu ebiri mu Lukka 6:31, era okukolera ku bigambo ebyo kiyamba kitya obufumbo?
14 Kya lwatu nti ffenna twagala abalala batuyise bulungi era batuwe ekitiibwa. Kiteekwa okuba nga kikusanyusa nnyo abalala bwe bakuwuliriza era ne bakiraga nti bafaayo ku nneewulira yo. Naye wali owuliddeko ku muntu ng’ayogera ebigambo nga bino: “Nja kumukola ekyo kye yankola”? Wadde ng’omuntu ayinza okuba n’ensonga ey’amaanyi lwaki ayagala okukola bw’atyo, Bayibuli egamba nti: ‘Toyogeranga nti Ndimukola nga ye bw’ankoze.’ (Nge. 24:29) Mu butuufu, Yesu yatuwa amagezi amalungi agasobola okutuyamba okugonjoola ebizibu. Yagamba nti: “Nga bwe mwagala abalala okubakolanga, nammwe mubakolenga bwe mutyo.” (Luk. 6:31) Yesu yakiraga bulungi nti tusaanidde okuyisa abalala nga bwe twandyagadde batuyise, so si nga bo bwe baba batuyisizza. N’olwekyo, omwami n’omukyala buli omu asaanidde okuyisa munne nga ye bwe yandyagadde okuyisibwa.
15 Omwami n’omukyala buli omu bw’afaayo ku nneewulira ya munne, kinyweza obufumbo bwabwe. Ow’oluganda omu mu South Africa yagamba nti: ‘Nze ne mukyala wange buli omu afuba okuyisa munne nga bwe yandyagadde okuyisibwa. Kyo kituufu nti ebiseera ebimu buli omu anyiiza munne, naye tufuba okuwaŋŋana ekitiibwa.’
16. Kiki abafumbo kye basaanidde okwewala?
16 Weewale okwanika obunafu bwa munno mu bufumbo n’okuba nga buli kiseera oyogera ku nsobi ze, k’obe ng’ekyo okikola mu ngeri ya kusaaga. Kijjukirenga nti kya kabi nnyo abafumbo okuba ng’abavuganya okulaba ani asinga amaanyi, ani asinga okuyomba, oba ani asinga okwogera ebigambo ebirumya. Kyo kituufu nti ffenna tukola ensobi era oluusi tulumya abalala. Naye tewali nsonga yonna erimu ggumba omwami oba omukyala gy’ayinza kuwa eba emuleetedde okufeebya munne mu bufumbo oba okwogera ebigambo ebimulumya.
17. Abaami basobola batya okuyisa bakyala baabwe nga bo bwe bandyagadde okuyisibwa?
17 Wadde nga mu mawanga agamu abasajja abavuma bakyala baabwe oba ababakuba batwalibwa okuba ab’amaanyi, Bayibuli egamba nti: ‘Omuntu alwawo okusunguwala asinga ab’amaanyi; n’oyo afuga obusungu bwe akira amenya ekibuga.’ (Nge. 16:32) Kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okukoppa Yesu Kristo n’okwefuga. Omusajja avuma mukazi we oba amukuba aba munafu nnyo era tasobola kuba na nkolagana nnungi ne Yakuwa. Omuwandiisi wa Zabbuli, Dawudi, eyali omusajja ow’amaanyi era omuvumu, yagamba nti: “Bwe musunguwala temwonoona. Mwogerere mu mitima gyammwe ku bitanda byammwe, era musirike.”
“MWAMBALE OKWAGALA”
18. Lwaki okwagala kintu kikulu nnyo mu bufumbo?
18 Soma 1 Abakkolinso 13:4-7. Okwagala kintu kikulu nnyo mu bufumbo. Bayibuli egamba nti: “Mwambale obusaasizi, ekisa, okwewombeeka, obuteefu n’okugumiikiriza. Naye, ku ebyo byonna, mwambale okwagala kubanga kwe kunywereza ddala obumu.” (Bak. 3:12, 14) Omwami n’omukyala bwe baba n’okwagala okwa nnamaddala, obufumbo bwabwe buba bunywevu nnyo. Obufumbo ng’obwo busigala nga bunywevu ne bwe kiba nti wazzeewo ebizibu, gamba ng’obulwadde obw’amaanyi, eby’enfuna okugootaana, oba obuzibu n’ab’eŋŋanda zaabwe.
19, 20. (a) Omwami n’omukyala bayinza batya okuba n’obufumbo obunywevu era obw’essanyu? (b) Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
19 Omwami n’omukyala bwe baba ab’okuba n’obufumbo obunywevu era obw’essanyu, balina okuba n’okwagala, balina okuba abeesigwa, era balina okukola kyonna ekisoboka okunyweza obufumbo bwabwe. Bwe bafuna ebizibu mu bufumbo, tebasaanidde kwabulira bufumbo bwabwe. Omwami n’omukyala bwe baba nga ddala baagala Yakuwa era nga nabo baagalana, baba bamalirivu okugonjoola ebizibu byonna bye bafuna, kubanga “okwagala tekulemererwa.”
20 Mu nnaku zino ez’enkomerero, si kyangu kuba na bufumbo bunywevu era obw’essanyu. (2 Tim. 3:1) Naye Yakuwa asobola okuyamba omwami n’omukyala okuba n’obufumbo ng’obwo. Wadde kiri kityo, abafumbo balina okufuba ennyo okwewala okutwalirizibwa ebikolwa eby’obugwenyufu ebiyitiridde ennyo ennaku zino. Mu kitundu ekiddako, tujja kwekenneenya ebyo abafumbo bye bayinza okukola okusobola okwewala okutwalirizibwa ebikolwa eby’obugwenyufu.