ETTEREKERO LYAFFE
Ekitangaala Kitandika Okwaka mu Japan
NGA Ssebutemba 6, 1926, omutalaazi (omulabirizi akyalira ebibiina) enzaalwa ya Japan yava mu Amerika n’agenda okuweereza ng’omuminsani mu Japan. Eyali amulinze okumwaniriza ye muntu omu yekka mu Japan eyali alagiriza magazini ya Watch Tower, era nga yali yatandikawo ekibinja mu Kobe. Olukuŋŋaana olunene Abayizi ba Bayibuli lwe baasooka okuba nalwo mu Kobe, lwaliwo nga Jjanwali 2, 1927. Abantu 36 be baaliwo ku lukuŋŋaana olwo era abantu 8 be baabatizibwa. Eyo yali ntandikwa nnungi. Naye ekyebuuzibwa kyali nti abantu abo abaali abatono bandisobodde batya okutuusa amazima ga Bayibuli ku bantu obukadde 60 abaali mu Japan?
Mu Maayi 1927, Abayizi ba Bayibuli baatandikawo kaweefube ow’okuyita abantu okujja okuwulira emboozi ezeesigamiziddwa ku Bayibuli. Okusobola okuyita abantu okuwuliriza emboozi eyasooka eyaweebwa mu Osaka, ab’oluganda baasimba ebipande ebinene n’ebitono ebiyita abantu era ne bagabira n’abantu abatutumufu nga 3,000 obupapula obubayita. Baagaba obupapula nga 150,000, ne balanga mu mpapula z’amawulire ezaali zisinga okusomebwa mu Osaka, era ne bateeka n’obulango ku ttikiti 400,000 ez’eggaali y’omukka. Ku lunaku lw’emboozi, baapangisa ennyonyi bbiri ne zeetooloola ekibuga nga zisuula obupapula obuyita abantu. Zaasuula obupapula 100,000. Abantu nga 2,300 baasobola okugya mu kizimbe we twafunira emboozi mu Osaka era abo be baawuliriza emboozi eyalina omutwe “Obwakabaka bwa Katonda Busembedde.” Abantu nga 1,000 abajja oluvannyuma baasabibwa okuddayo, kubanga ekizimbe kyali kijjudde. Emboozi bwe yaggwa, abantu abasukka mu 600 baasigalawo ne beenyigira mu kitundu eky’okukubaganya ebirowoozo. Mu myezi egyaddirira, emboozi ezitali zimu zaaweebwa mu kibuga Kyoto ne mu bibuga ebirala mu bugwanjuba bwa Japan.
Mu Okitobba 1927, Abayizi ba Bayibuli baakola enteekateeka okuwa emboozi mu kibuga Tokyo. Ne ku olwo baayita abantu abatutumufu omwali kattikiro, ababaka ba ppaaliyamenti, abakulembeze b’amaddiini, n’abakulu b’amagye. Baakozesa ebipande, empapula z’amawulire, n’obupapula 710,000, okuyita abantu okujja okuwulira emboozi. Abantu 4,800 be baawuliriza emboozi essatu ezaaweebwa mu kibuga kya Japan ekikulu.
BAKOLOPOOTA ABANYIIKIVU
Bakolopoota (bapayoniya) baakola kinene mu kutuusa amawulire amalungi ku bantu mu maka gaabwe. Matsue Ishii, omu ku bakolopoota abaasooka mu Japan, awamu n’omwami we, Jizo, baatuusa amawulire amalungi mu bifo bingi ebya Japan, omwali Sapporo, Sendai, Tokyo, Yokohama, Nagoya, Osaka, Kyoto, Okayama, ne Tokushima. Mwannyinaffe Ishii ne mwannyinaffe omulala omukulu ayitibwa Sakiko Tanaka, baayambala ne banekaanekana mu nnyambala y’Ekijapaani ne bagenda okulaba abakungu ba gavumenti. Omu ku bakungu abo yasaba ebitabo The Harp of God ne Deliverance 300 ng’ayagala biteekebwe mu tterekero ly’ebitabo ery’abasibe.
Katsuo ne Hagino Miura baasoma ebitabo Mwannyinaffe Ishii bye yabawa ne bakiraba nti baali bazudde amazima. Baabatizibwa mu 1931 era ne batandika
okuweereza nga bakolopoota. Haruichi ne Tane Yamada, awamu n’ab’eŋŋanda zaabwe abawerako baayiga amazima ng’omwaka gwa 1930 tegunnatuuka. Yamada ne mukyala we baafuuka bakolopoota, era muwala waabwe, Yukiko, yayitibwa okuweereza ku Beseri mu Tokyo.“YEEKU”—ENNENE N’ENTONO
Mu kiseera ekyo, emmotoka zaali za buseere ate nga n’amakubo mabi. Bwe kityo, Kazumi Minoura ne bakolopoota abalala baasalawo okukola ebiyumba ne bateekako emipiira. Ebiyumba ebyo baabiyitanga Yeeku. Yeeku, yaliko kabaka wa Isiraeri, era yalina eggaali kwe yatambuliranga. (2 Bassek. 10:15, 16) Bakolopoota abo baalina Yeeku ennene ssatu nga buli emu erina obuwanvu bwa ffuuti 7.2, obugazi bwa ffuuti 6.2, n’obugulumivu bwa ffuuti 6.2, era buli emu yali esobola okusulwamu bapayoniya mukaaga. Ate era baalina Yeeku entono 11 ezaakolebwa ku ofiisi y’ettabi ey’e Japan, nga buli emu esobola okutuulwamu abantu babiri. Kiichi Iwasaki, omu ku abo abaayambako mu kukola Yeeku, yagamba nti, “Buli Yeeku yaliko ettundubaali era ng’erina ne bbaatule eyakozesebwanga okwakisa amataala.” Bakolopoota baabunyisa ekitangaala eky’amazima mu Japan, okuviira ddala e Hokkaido, mu bukiikakono, okutuukira ddala e Kyushuin, mu bukiikaddyo. Baasikanga era ne basindika Yeeku nga bayita mu nsozi ne mu biwonvu.
Kolopoota Ikumatsu Ota yagamba nti: “Bwe twatuukanga mu kibuga ekimu, twasimbanga Yeeku zaffe okumpi n’omugga oba mu kyererezi. Twasookanga kwogerako n’ab’obuyinza, gamba nga meeya, oluvannyuma ne tutandika okugenda mu maka g’abantu okubagabira ebitabo. Bwe twamalangako ekibuga ekimu, twagendanga mu kirala.”
Mu butuufu, olunaku Abayizi ba Bayibuli 36 lwe baasooka okuba n’olukuŋŋaana olunene mu Kobe yali ntandikwa ntono. (Zek. 4:10) Naye, oluvannyuma lw’emyaka etaano gyokka, mu 1932, mu Japan mwalimu bakolopoota n’ababuulizi 103, era mu mwaka ogwo baagaba ebitabo ebisukka mu 14,000. Leero, enkola ey’okubuulira mu lujjudde egenda mu maaso mu ngeri entegeke obulungi mu bibuga bya Japan ebitali bimu, era ababuulizi nga 220,000 baleka ekitangaala kyabwe okwaka mu nsi ya Japan yonna.—Okuva mu tterekero lyaffe mu Japan.