Biki Ebikukakasa nti Wazuula Amazima?
“Mukakase ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.”
1. Abakulembeze b’amadiini ga Kristendomu beeyisa batya mu biseera by’entalo?
KATONDA akkiriza Abakristaayo okwenyigira mu ntalo n’okutta abantu ab’amawanga amalala? Mu myaka 100 egiyise, waliwo abantu bangi abeeyita Abakristaayo abeenyigidde mu ntalo era ne batta abalala. Abakatuliki basse bakatuliki bannaabwe n’Abapolotesitante basse Bapolotesitante bannaabwe. Abakulembeze b’eddiini y’Abakatuliki n’ey’Abapolotesitante batuuse n’okuwa abajaasi omukisa awamu n’eby’okulwanyisa byabwe. Ekyo tukirabira ne ku ebyo ebyaliwo mu kiseera kya Ssematalo II.
2, 3. Abajulirwa ba Yakuwa beeyisa batya mu kiseera kya Ssematalo II n’oluvannyuma, era lwaki?
2 Abajulirwa ba Yakuwa beeyisa batya mu kiseera kya Ssematalo II? Ebyafaayo biraga nti tebeenyigira mu lutalo olwo. Lwaki? Okusookera ddala baakoppa Yesu era baali bamalirivu okukolera ku ebyo bye yayigiriza. Yesu yagamba nti: “Ku kino bonna kwe bajja okutegeerera nti muli bayigirizwa bange bwe munaayagalananga.” (Yok. 13:35) Ate era baakolera ku musingi oguli mu bigambo bya Pawulo ebiri mu bbaluwa gye yawandiikira Abakristaayo b’omu Kkolinso.
* Abajulirwa ba Yakuwa tebeenyigira mu kitta bantu ekyaliwo mu Rwanda mu 1994. Ate era tebeenyigira mu lutalo olwaviirako okusattulukuka kwa Yugoslavia.
3 N’olwekyo, Abakristaayo ab’amazima, abalina omuntu ow’omunda atendekeddwa Bayibuli, tebayiga kulwana era tebeenyigira mu ntalo. Olw’okuba bagaana okwenyigira mu ntalo, Abajulirwa ba Yakuwa nkumi na nkumi, abato n’abakulu, abasajja n’abakazi, bayigganyiziddwa nnyo. Bangi batwaliddwa mu nkambi z’abasibe oba basibiddwa mu makomera. Mu kiseera ky’Abanazi mu Bugirimaani, abamu ku bo baatuuka n’okuttibwa. Wadde ng’Abajulirwa ba Yakuwa baayigganyizibwa nnyo mu nsi za Bulaaya, beeyongera okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Yakuwa. Beeyongera okubuulira wadde nga baali mu makomera, mu nkambi z’abasibe, oba mu buwaŋŋanguse.4. Abajulirwa ba Yakuwa obutabaako ludda lwe bawagira mu ntalo kikutte kitya ku bantu abalala?
4 Abajulirwa ba Yakuwa obuteenyigira mu ntalo kireetedde abantu bangi mu nsi yonna okukiraba nti ddala baagala Katonda ne bantu bannaabwe. Kyeyolese bulungi nti Abajulirwa ba Yakuwa be Bakristaayo ab’amazima. Kyokka waliwo n’ebintu ebirala bingi ebireetedde abantu okukiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa be Bakristaayo ab’amazima.
OMULIMU GW’OKUBUULIRA GUKOLEBWA KU KIGERO EKITABANGAWO
5. Nkyukakyuka ki abayigirizwa ba Yesu abaasooka gye baalina okukola?
5 Yesu yakiraga nti omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda, gwe mulimu ogusingayo obukulu ogulina okukolebwa ku nsi. Amangu ddala nga yaakatandika obuweereza bwe, yalonda abayigirizwa 12 okwenyigira mu mulimu guno ogwandikoleddwa mu nsi yonna, era oluvannyuma yatendeka n’abayigirizwa 70. (Luk. 6:13; 10:1) Yesu yabatendeka okubuulira amawulire amalungi. Yasooka kubasindika eri Abayudaaya, naye oluvannyuma yabalagira n’okubuulira abantu abataali Bayudaaya. Ng’eyo yali nkyukakyuka ya maanyi eri abayigirizwa Abayudaaya!
6. Kiki ekyaleetera Peetero okukiraba nti Yakuwa tasosola?
6 Omutume Peetero yatumibwa okugenda mu maka ga Koluneeriyo, Munnaggwanga ataali mukomole. Ekyo kyaleetera Peetero okukiraba nti Katonda tasosola. Yakuwa yali ayagala abantu ab’amawanga gonna okubuulirwa amawulire amalungi era bafuuke Abakristaayo. Bwe kityo, Peetero yalagira nti Koluneeriyo n’ab’omu maka ge babatizibwe. (Bik. 10:9-48) Okuva olwo, Peetero n’abayigirizwa ba Yesu abalala baatandika okubuulira abantu ab’amawanga gonna.
7, 8. Kiki Abajulirwa ba Yakuwa kye bafubye okukola? (Laba ekifaananyi ekiri ku lupapula 7.)
7 Mu kiseera kyaffe, abo abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa bafubye okulaba nti amawulire amalungi gabuulirwa mu nsi yonna. Leero, Abajulirwa ba Yakuwa ng’obukadde munaana bafuba okutuusa amawulire amalungi ku bantu mu nnimi ezisukka mu 600! Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa olw’okubuulira nnyumba ku nnyumba, okubuulira ku nguudo, n’okubuulira mu bifo ebya lukale nga batadde ebitabo byabwe ku mmeeza oba ku bugaali.
8 Abajulirwa ba Yakuwa balina abavvuunuzi abasukka mu 2,900 abatendekeddwa okuvvuunula Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola. Abavvuunuzi abo bavvuunula ebitabo ne mu nnimi ezitamanyiddwa nnyo. Ng’ekyokulabirako, Abajulirwa ba Yakuwa mu Sipeyini bavvuunula ebitabo mu lulimi
Olukatalaani. Mu myaka emitono egiyise, abantu aboogera olulimi olwo beeyongedde obungi ku bizinga by’e Balearic, mu kibuga Valencia ne Alicante, ne mu nsi y’e Andorra. Olw’okuba Abajulirwa ba Yakuwa bavvuunula ebitabo mu lulimi olwo, kati abantu aboogera olulimi olwo bafuna ebitabo byaffe n’enkuŋŋaana mu lulimi lwe bategeera obulungi.9, 10. Kiki ekiraga nti ekibiina kya Yakuwa kifaayo nnyo ku byetaago by’abantu bonna eby’omwoyo?
9 Omulimu gw’okuvvuunula ebitabo byaffe n’okuyigiriza abantu Bayibuli mu nnimi zaabwe gukolebwa mu nsi yonna. Ng’ekyokulabirako, wadde ng’abantu abasinga obungi mu Mexico boogera Olusipeyini, bangi ku bo baakula boogera nnimi ndala, gamba ng’Olumaya. Ofiisi y’ettabi mu Mexico yasindika ab’oluganda abavvuunula Olumaya okugenda okubeera mu kitundu olulimi olwo gye lusinga okwogerwa. Olw’okuba ebiseera ebisinga ab’oluganda abo baba bawulira abantu aboogera Olumaya, kibayamba okuvvuunula ebitabo byaffe mu ngeri abo aboogera olulimi olwo gye bategeera obulungi. Ate lowooza ku Nepal, ensi erimu abantu abasukka mu bukadde 29 era aboogera ennimi nga 120. Mu nsi eyo abantu abasukka mu bukadde ekkumi, olulimi lwabwe oluzaaliranwa Lunapooli. Kyokka waliwo n’abantu abalala bangi aboogera olulimi olwo. Ebitabo byaffe bivvuunulwa ne mu lulimi olwo.
10 Okuba nti Abajulirwa ba Yakuwa bavvuunula ebitabo byabwe mu nnimi nnyingi, kiraga nti omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bagutwala nga mukulu nnyo. Abajulirwa ba Yakuwa bagabidde abantu tulakiti, brocuwa, ne magazini bukadde na bukadde ku bwereere. Ssente ezikozesebwa mu kukuba n’okutambuza ebitabo ebyo, ziweebwayo kyeyagalire Abajulirwa ba Yakuwa abakolera ku bigambo bya Yesu bino: “Mwaweebwa buwa nammwe muwenga buwa.”
11, 12. Omulimu ogw’okubuulira Abajulirwa ba Yakuwa gwe bakola mu nsi yonna gukutte gutya ku balala?
11 Olw’okuba Abajulirwa ba Yakuwa bakakafu nti be balina amazima, beefiiriza ebintu bingi okusobola okutuusa amawulire amalungi ku bantu ab’amawanga gonna. Bangi ku bo bayize ennimi endala, basazeewo okugenda mu bitundu ebirala, oba baliko ebintu bye beerekerezza basobole okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu ogwo
omukulu ennyo. Omulimu gw’okubuulira Abajulirwa ba Yakuwa gwe bakola mu nsi yonna guleetedde abantu bangi okukiraba nti ddala be bagoberezi ba Kristo Yesu ab’amazima.12 Abajulirwa ba Yakuwa bakola ebintu ebyo byonna olw’okuba bakakafu nti baazuula amazima. Naye kiki ekirala ekireetedde abantu bukadde na bukadde okukiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa be Bakristaayo ab’amazima?
EBIREETEDDE ABAMU OKUBA ABAKAKAFU NTI BAAZUULA AMAZIMA
13. Abajulirwa ba Yakuwa basobodde batya okukuuma ekibiina nga kiyonjo?
13 Bakkiriza bannaffe bangi bawa ensonga ezitali zimu lwaki bakakafu nti baazuula amazima. Ow’oluganda omu amaze emyaka emingi ng’aweereza Yakuwa yagamba nti: ‘Mu kibiina kya Yakuwa, buli ekisoboka kikolebwa okulaba nti ekibiina kikuumibwa nga kiyonjo mu mpisa; tewali n’omu gwe battira ku liiso ng’akoze ekibi.’ Naye ekyo basobodde batya okukikola? Buli Mujulirwa wa Yakuwa afuba okukolera ku mitindo egiri mu Kigambo kya Katonda era afuba okukoppa Yesu n’abayigirizwa be. Kyokka waliwo Abajulirwa ba Yakuwa abatonotono abagaanye okukolera ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu ne kiba nga kyetaagisa okubagoba mu kibiina. Naye Abajulirwa ba Yakuwa abasinga obungi bafuba okukola ebyo Katonda by’ayagala. Abamu ku bo bwe baali tebannayiga mazima baakolanga ebintu ebitasanyusa Katonda, naye kati batambuliza obulamu bwabwe ku mitindo gye egy’obutuukirivu.
14. Kiki bangi ku abo abagobebwa mu kibiina kye bakola, era biki ebivaamu?
14 Kati ate abo abagobebwa mu kibiina olw’okugaana okukolera ku misingi egiri mu Byawandiikibwa? Bangi ku bo beenenya era ne bakomezebwawo mu kibiina. (Soma 2 Abakkolinso 2:6-8.) Obutafaananako madiini malala agaleka abagoberezi baago okweyisa nga bwe baagala, Abajulirwa ba Yakuwa banywerera ku mitindo gya Katonda egiri mu Bayibuli, era ekyo kireetedde bangi okukiraba nti ddala be Bakristaayo ab’amazima.
15. Kiki ekyaleetera ow’oluganda omu okukakasa nti yazuula amazima?
15 Kiki ekireetedde Abajulirwa ba Yakuwa abalala okuba abakakafu nti baazuula amazima? Ow’oluganda omu ow’emyaka 54 yagamba nti: “Okuviira ddala nga nkyali mutiini okukkiriza kwange kubadde kwesigamye ku bintu ebikulu bisatu: (1) Katonda gy’ali; (2) Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda; ne (3) Katonda akozesa ekibiina Ekikristaayo eky’Abajulirwa ba Yakuwa leero era akiwa emikisa. Emyaka bwe gizze giyitawo, nfubye okwetegereza obukakafu obulaga nti ebintu ebyo ddala bituufu. Mu butuufu, buli lukya nneeyongera okufuna obukakafu bungi ku bintu ebyo, era ekyo kyongedde okunyweza okukkiriza kwange
n’okunkakasa nti ddala nnazuula amazima.”16. Lwaki mwannyinaffe omu mukakafu nti yazuula amazima?
16 Mwannyinaffe omu aweereza ku kitebe kyaffe ekikulu mu New York yagamba nti: ‘Ekibiina kya Yakuwa kye kibiina kyokka ekifuba okuyamba abantu okumanya erinnya lya Katonda erisangibwa mu Bayibuli emirundi nga 7,000. Ebigambo bino ebiri mu 2 Ebyomumirembe 16:9 binzizaamu nnyo amaanyi: “Amaaso ga Yakuwa gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.”’ Agattako nti: “Amazima ge njize gannyambye okuba n’omutima ogutuukiridde eri Yakuwa bw’atyo n’aba ng’asobola okweraga nga bw’ali ow’amaanyi gye ndi. Enkolagana yange ne Yakuwa kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwange. Era ndi musanyufu nnyo okuba nti Yesu atuyamba okwongera okutegeera Katonda.”
17. Kiki ow’oluganda omu mu kusooka eyali takkiriza nti Katonda gy’ali kye yakakasa, era lwaki?
17 Ow’oluganda omu mu kusooka eyali takkiriza nti Katonda gy’ali yagamba nti: “Obutonde bundeetedde okukakasa nti Katonda ayagala abantu banyumirwe obulamu ne kiba nti tasobola kukkiriza kubonaabona kubaawo mirembe gyonna. Ate era wadde ng’ensi yeeyongera kwonooneka, abantu ba Yakuwa beeyongera okwoleka okukkiriza, obunyiikivu, n’okwagala. Ekyo tekyandisobose awatali mwoyo gwa Yakuwa.”
18. Lwaki ab’oluganda abalala babiri bakakafu nti baazuula amazima, era ekyo kikukwatako kitya?
18 Ow’oluganda omu yalaga ensonga lwaki mukakafu nti yazuula amazima. Yagamba nti: “Ebintu bye njize mu myaka emingi gye mmaze mu mazima binnyambye okukiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa be bokka abafuba okukoppa Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Ntambudde mu nsi nnyingi era nkirabye nti Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi bali bumu. Amazima ge njize mu Bayibuli gandeetedde essanyu lingi.” Ow’oluganda omulala, alina emyaka egisukka 60, yagamba nti ekimu ku bintu ebimukakasa nti yazuula amazima kwe kuba nti Abajulirwa ba Yakuwa bakkiririza mu Yesu Kristo. Yagamba nti: “Twekkenneenyezza ebikwata ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe era ne tufuba okumukoppa. Tukoze enkyukakyuka mu bulamu bwaffe tusobole okweyongera okusemberera Katonda okuyitira mu Kristo Yesu. Era tuli bakakafu nti okuyitira mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo tusobola okulokolebwa. Ate era tuli bakakafu nti Yesu yazuukizibwa okuva mu bafu.”
YAMBA ABALALA OKUTEGEERA AMAZIMA
19, 20. (a) Buvunaanyizibwa ki Pawulo bwe yayogerako mu bbaluwa gye yawandiikira Abakristaayo ab’omu Rooma? (b) Nkizo ki ffenna Abakristaayo gye tulina?
19 Olw’okuba twagala bantu bannaffe, tetusobola kusirikira mazima ge tuyize. Pawulo yagamba bakkiriza banne ab’omu kibiina ky’e Rooma nti: “Singa olangirira mu lujjudde ‘ekigambo ekyo ekiri mu kamwa ko,’ nti Yesu ye Mukama waffe, n’okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, ojja kulokolebwa. Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe okufuna obutuukirivu, naye ayatula mu lujjudde n’akamwa ke okufuna obulokozi.”
20 Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tuli bakakafu nti ffe tulina amazima, era tukimanyi nti tulina enkizo okubuulira abalala amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. N’olwekyo, ka tufube okuyigiriza abalala Bayibuli era n’okukiraga mu ngeri gye tweyisaamu nti tuli bakakafu nti ffe tulina amazima.
^ lup. 3 Laba ekitabo Jehovah’s Witnesses