OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Ssebutemba 2014

Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa mu kibiina wakati wa Okitobba 27 ne Noovemba 30, 2014.

‘Oluubirira’ Enkizo mu Kibiina?

Oyinza otya okuluubirira enkizo mu kibiina?

Biki Ebikukakasa nti Wazuula Amazima?

Ekitundu kino kiraga ezimu ku nsonga lwaki abantu bangi bakirabye nti Abajulirwa ba Yakuwa be balina amazima. Era kiraga ensonga lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bakakafu nti be balina amazima.

Weereza Katonda n’Obwesigwa Wadde ng’Oyita mu “Kubonaabona Kungi”

Buli muntu ayolekagana n’ebizibu mu nsi ya Sitaani eno. Sitaani atulumba atya? Tuyinza tutya okwetegekera obulumbaganyi obwo?

Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe mu by’Omwoyo

Abazadde balina obuvunaanyizibwa okukuza abaana baabwe ‘mu kukangavvula kwa Yakuwa n’okubateekamu endowooza ye.’ (Abeefeso 6:4) Ekitundu kino kiraga engeri abazadde gye basobola okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa.

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 37:25 n’ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:33 biraga nti Yakuwa tasobola kuleka Mukristaayo kulumwa njala?

Omulabe Alisembayo Okuggibwawo Kwe Kufa

Okufa n’ebyo byonna ebikuleeta bireetedde abantu ennaku ey’amaanyi. Lwaki abantu bafa? Okufa, omulabe ‘alisembayo okuggibwawo,’ kuliggibwawo kutya? (1 Abakkolinso 15:26) Laba engeri eby’okuddamu gye byoleka nti Yakuwa mwenkanya, wa magezi, era nti alina okwagala kungi.

Jjukira Abo Abali mu Buweereza obw’Ekiseera Kyonna

Waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima ‘omulimu gwe bakola n’okufuba kwabwe’?—1 Abassessaloniika 1:3.