Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Komawo ‘Onyweze Baganda Bo’

Komawo ‘Onyweze Baganda Bo’

PEETERO yakaaba nnyo oluvannyuma lw’okwegaana Yesu. Wadde ng’omutume ono kyandimwetaagisizza okufuba ennyo okusobola okuddamu okuba omunywevu mu by’omwoyo, Yesu yali ayagala okumukozesa okuyamba abalala. Yesu yamugamba nti: “Bw’olimala okwenenya, onywezanga baganda bo.” (Luk. 22:32, 54-62) Peetero yafuuka emu ku mpagi mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka. (Bag. 2:9) Mu ngeri y’emu, ow’oluganda eyali aweerezzaako ng’omukadde asobola okuddamu okufuna enkizo eyo n’afuna essanyu eriva mu kunyweza bakkirizza banne mu by’omwoyo.

Abamu ku abo abaaweerezaako ng’abakadde, baggibwako enkizo eyo era ekyo kiyinza okuba nga kyabamalamu amaanyi. Julio, * eyali amaze emyaka egisukka mu 20 ng’aweereza ng’omukadde mu Amerika, yagamba nti: ‘Ebiseera byange ebisinga obungi nnabimalanga ntegeka mboozi za kibiina oba nga nkyalira ab’oluganda okubazzaamu amaanyi! Naye ebyo byonna byakoma omulundi gumu. Nnawulira bubi nnyo, era kiseera ekyo kyali kizibu nnyo gye ndi.’ Kati Julio yaddamu okuweereza ng’omukadde.

“MUSANYUKENGA”

Omuyigirizwa Yakobo yawandiika nti: “Musanyukenga baganda bange bwe mwolekagana n’okugezesebwa okutali kumu.” (Yak. 1:2) Yakobo yali ayogera ku kugezesebwa okuva ku kuyigganyizibwa oba ku butali butuukirivu bwaffe. Yayogera ku bintu gamba ng’okwegomba okubi n’okusosola abalala. (Yak. 1:14; 2:1; 4:1, 2, 11) Yakuwa bw’atukangavvula, tuyinza okuwulira obubi. (Beb. 12:11) Naye okugezesebwa tekusaanidde kutumalako ssanyu lyaffe.

Ne bwe kiba nti twaggibwako enkizo ze twalina mu kibiina, tukyasobola okunyweza okukkiriza kwaffe n’okukiraga nti ddala twagala Yakuwa. Era kikulu okulowooza ku nsonga lwaki twaluubirira enkizo ezo. Kyandiba nti twalina bye twenoonyeza, oba twali twagala Yakuwa era nga tuli bakakafu nti ekibiina kikye era nti kyetaaga okulabirirwa obulungi? (Bik. 20:28-30) Abo abaali babaddeko abakadde naye ne beeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa, bakiraga eri bonna nga mw’otwalidde ne Sitaani nti okwagala kwabwe eri Yakuwa kwa nnamaddala.

Kabaka Dawudi bwe yakangavvulwa olw’ekibi eky’amaanyi kye yakola, yakkiriza ensobi ye, ne yeenenya, era Yakuwa yamusonyiwa. Dawudi yagamba nti: “Aweereddwa omukisa asonyiyiddwa ekyonoono kye n’ekibi kye kikwekeddwa. Aweereddwa omukisa Mukama gw’atabalira butali butuukirivu, ne mu mwoyo gwe temuli bukuusa.” (Zab. 32:1, 2) Kya lwatu nti okukangavvulwa Dawudi kwe yafuna kwamuyamba okufuuka omusumba omulungi ow’abantu ba Katonda.

Emirundi egisinga obungi, ab’oluganda abaddamu okuweereza ng’abakadde bafuuka abasumba abalungi n’okusinga bwe baali mu kusooka. Ow’oluganda omu eyaddamu okuweereza ng’omukadde yagamba nti: “Kati mmanyi bulungi engeri y’okukwatamu abo ababa bakoze ensobi.” Omukadde omulala yagamba nti: “Kati enkizo ey’okuweereza ab’oluganda ngitwala nga ya muwendo nnyo.”

OSOBOLA OKUDDAMU OKUWEEREZA?

Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “[Yakuwa] taanenyenga ennaku zonna.” (Zab. 103:9) N’olwekyo, tetusaanidde kulowooza nti Katonda tasobola kuddamu kwesiga muntu eyakola ensobi ey’amaanyi. Ricardo eyali amaze emyaka mingi ng’aweereza ng’omukadde naye n’afiirwa enkizo eyo, yagamba nti: “Nnawulira bubi nnyo olw’ensobi gye nnakola. Nnamala ekiseera kiwanvu nga mpulira nti sisobola kuddamu kuweereza ng’omukadde. Nnali mpulira nga sirina kye nnyinza kukola ekiyinza okuleetera abalala okuddamu okunneesiga. Kyokka olw’okuba njagala nnyo okuyamba abalala, nneeyongera okuyigiriza abantu Bayibuli, okuzzaamu ab’oluganda amaanyi ku Kizimbe ky’Obwakabaka, n’okukolerako awamu nabo mu mulimu gw’okubuulira. Ebintu ebyo byanzizaamu nnyo amaanyi, era kati nnaddamu okuweereza ng’omukadde.”

Yakuwa ayambye abasajja bangi okwagala okuddamu okutwala obukulembeze mu kibiina

Okusiba ekiruyi kiyinza okulemesa ow’oluganda okuweereza ng’omukadde. Kirungi okukoppa ekyokulabirako ky’omuweereza wa Yakuwa Dawudi, eyadduka Kabaka Sawulo eyalina obuggya. Ne bwe yafuna akakisa okwesasuza Sawulo, Dawudi teyakikola. (1 Sam. 24:4-7; 26:8-12) Sawulo bwe yafiira mu lutalo, Dawudi yamukungubagira. Ng’ayogera ku Sawulo ne mutabani we Yonasaani, Dawudi yagamba nti baali ‘balungi era nga basanyusa.’ (2 Sam. 1:21-23) Dawudi teyasiba kiruyi.

Bw’oba owulira nga wayisibwa mu ngeri eteri ya bwenkanya, tosiba kiruyi. Lowooza ku William eyali amaze emyaka egisukka mu 30 ng’aweereza ng’omukadde mu Bungereza. Enkizo eyo bwe yamuggibwako, yasibira abamu ku bakadde ekiruyi. Kiki ekyayamba William okutereeza endowooza ye? Yagamba nti: “Okusoma ekitabo kya Yobu kyanzizaamu nnyo amaanyi. Nnakiraba nti nga Yakuwa bwe yayamba Yobu okutabagana ne mikwano gye abasatu, nange yandinnyambye okutabagana n’abakadde mu kibiina.”Yob. 42:7-9.

KATONDA AWA OMUKISA ABO ABADDAMU OKUWEEREZA NG’ABASUMBA

Bw’oba nga wasalawo okulekerawo okuweereza ng’omukadde, kirungi okuddamu okulowooza ku nsonga lwaki wasalawo okukola bw’otyo. Kyandiba nti wafuna ekizibu eky’amaanyi ennyo? Kyandiba nti waliwo ebintu ebitali bikulu nnyo bye wakulembeza mu bulamu bwo? Waliwo abaakumalamu amaanyi? Ka kibe ki ekyakuleetera okulekera awo okuweereza ng’omukadde, kijjukire nti bwe wali okyaweereza ng’omukadde, walina bingi bye wali okola okuyamba abalala. Emboozi ze wawanga zazangamu abalala amaanyi, wateerangawo abalala ekyokulabirako ekirungi, era wakyaliranga ab’oluganda n’obazzaamu amaanyi ne basobola okugumira ebizibu. Emirimu gye wakolanga ng’oweereza ng’omukadde gyasanyusanga omutima gwa Yakuwa era naawe giteekwa okuba nga gyakusanyusanga.Nge. 27:11.

Yoleka okwagala kwo eri Yakuwa ng’omuweereza n’obunyiikivu

Yakuwa ayambye abasajja bangi okuddamu okufuna essanyu n’okwagala okuddamu okutwala obukulembeze mu kibiina. Bw’oba nga wasalawo okulekera awo okuweereza ng’omukadde oba nga waggibwako enkizo eyo, osobola okuddamu ‘okuluubirira omulimu gw’obulabirizi.’ (1 Tim. 3:1) Pawulo ‘teyalekangayo kusabira’ Bakristaayo b’omu Kkolosaayi basobole okujjuzibwa okumanya okutuufu okw’ebyo Katonda by’ayagala kibayambe ‘okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa basobole okumusanyusiza ddala.’ (Bak. 1:9, 10) Bw’oddamu okufuna enkizo ey’okuweereza ng’omukadde, ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa amaanyi, ajja kukuyamba okuba omugumiikiriza, era ajja kukuyamba okufuna essanyu. Mu nnaku zino ez’enkomerero, abantu ba Katonda beetaaga abasumba okubazzaamu amaanyi mu by’omwoyo. Owulira ng’osobola era ng’oli mwetegefu okunyweza bakkiriza banno mu by’omwoyo?

^ lup. 3 Amannya agamu gakyusiddwa.