OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Apuli 2014

Magazini eno eraga engeri gye tuyinza okwoleka okukkiriza ng’okwa Musa. Yakuwa ayagala tutuukirize tutya obuvunaanyizibwa bwaffe mu maka era atuyamba atya okubutuukiriza?

Yoleka Okukkiriza ng’Okwa Musa

Okukkiriza kwayamba kutya Musa okwewala okwegomba okubi n’okutwala enkizo ze yalina nga za muwendo? Lwaki Musa “yeekaliriza empeera eyali ey’okumuweebwa”?

Olaba “Oyo Atalabika”?

Okukkiriza kwayamba kutya Musa obutatya bantu n’okukkiririza mu bisuubizo bya Yakuwa Katonda? Okukkiriza kusobola okukuyamba okukiraba nti Yakuwa mwetegefu okukuyamba.

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Obuweereza obw’Ekiseera Kyonna—We Buntuusizza

Bw’alowooza ku myaka 65 gy’amaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna, lwaki Robert Wallen agamba nti obulamu bwe bubadde n’ekigendererwa?

Tewali n’Omu Asobola Kuba Muddu wa Baami Babiri

Abamu basazeewo okugenda okukolera mu nsi endala basobole okufuna ssente ennyingi. Okulekawo ab’omu maka go kiyinza kitya okukosa obufumbo bwo, abaana bo, n’enkolagana yo ne Katonda?

Beera Mugumu—Yakuwa Ye Muyambi Wo!

Taata omu yakiraga atya nti yeesiga Katonda n’asalawo okuddayo okubeera awamu n’ab’omu maka ge be yali aleseewo ng’agenze okukolera mu nsi endala? Yakuwa yamuyamba atya ng’azzeeyo mu nsi ye?

Eky’Okuba nti Yakuwa Atwetegereza Okitwala Otya?

Laba ebintu bitaano ebiraga nti Katonda atufaako era laba engeri gye tuganyulwa mu ky’okuba nti atwetegereza.

Obadde Okimanyi?

Mu biseera by’edda, omuntu okuyuza ebyambalo bye kyabanga na makulu ki?