Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Sinza Yakuwa, Kabaka ow’Emirembe n’Emirembe

Sinza Yakuwa, Kabaka ow’Emirembe n’Emirembe

“Kabaka ow’emirembe n’emirembe . . . aweebwe ettendo n’ekitiibwa emirembe n’emirembe.”1 TIM. 1:17.

1, 2. (a) “Kabaka ow’emirembe n’emirembe” y’ani, era lwaki ekitiibwa ekyo kimusaanira? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Lwaki twagala Yakuwa okuba Kabaka waffe?

KABAKA SOBHUZA II owa Swaziland yafuga okumala emyaka kumpi 61. Egyo gyali myaka mingi nnyo bw’ogigeraageranya ku egyo bakabaka bangi ab’omu kiseera kyaffe gye bamala nga bafuga. Wadde nga kyewuunyisa okuba nti Kabaka Sobhuza yamala emyaka mingi bwe gityo ng’afuga, waliwo kabaka nga ye obufuzi bwe tebuliiko kkomo. Mu butuufu, Bayibuli emuyita “Kabaka ow’emirembe n’emirembe.” (1 Tim. 1:17) Omuwandiisi wa Zabbuli omu yayogera erinnya lya Kabaka oyo, ng’agamba nti: “Yakuwa ye Kabaka emirembe n’emirembe.”Zab. 10:16, NW.

2 Ekiseera Katonda ky’amaze ng’afuga nga Kabaka kiraga nti obufuzi bwe bwa njawulo nnyo ku bufuzi bw’abantu. Wadde kiri kityo, engeri Yakuwa gy’afugamu y’etuleetera okwongera okumwagala. Kabaka omu eyafuga Isiraeri okumala emyaka 40 yatendereza Katonda ng’agamba nti: “Mukama ajjudde okusaasira n’ekisa, alwawo okusunguwala, alina okusonyiwa okungi. Mukama yanyweza entebe ye mu ggulu; n’obwakabaka bwe bufuga byonna.” (Zab. 103:8, 19) Ng’oggyeko okuba nti Yakuwa ye Kabaka waffe, era ye Kitaffe ow’omu ggulu. Ekyo kireetawo ebibuuzo bibiri: Lwaki tugamba nti Yakuwa ye Kitaffe? Yakuwa akiraze atya nti bulijjo abadde Kabaka okuva lwe waabalukawo obujeemu mu Adeni? Okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo kijja kutuleetera okwongera okwagala Yakuwa n’okumusinza n’omutima gwaffe gwonna.

KABAKA OW’EMIREMBE N’EMIREMBE ATANDIKAWO AMAKA

3. Ani yasooka okubeera mu maka ga Yakuwa, era baani abalala abayitibwa “abaana” ba Katonda?

3 Yakuwa yasanyuka nnyo oluvannyuma lw’okutonda Omwana we eyazaalibwa omu yekka! Omwana oyo amutwala nga wa muwendo nnyo mu maaso ge. Amwagala nnyo era yamukozesa mu kutonda ebitonde ebirala byonna. (Bak. 1:15-17) Mu bitonde ebyo mwe muli ne bamalayika aboogerwako ‘ng’abaweereza ba Katonda abakola by’ayagala.’ Bamalayika baweereza Yakuwa n’essanyu era abawa ekitiibwa ng’abayita “abaana” be. Bamalayika be bamu ku abo abali mu maka ga Yakuwa.Zab. 103:20-22; Yob. 38:7.

4. Abantu baatandika ddi okuba ab’omu maka ga Yakuwa?

4 Bwe yamala okutonda eggulu n’ensi, Yakuwa yagaziya amaka ge. Oluvannyuma lw’okufuula ensi ekifo ekirabika obulungi, Yakuwa yatonda Adamu, omuntu eyasooka, era yamutonda mu kifaananyi kye. (Lub. 1:26-28) Ng’Omutonzi, Yakuwa yali asuubira Adamu okumugondera. Nga Kitaffe, Yakuwa yayoleka okwagala n’ekisa ng’amuwa ebiragiro bye. Ebiragiro ebyo tebyandimazeeko muntu ddembe lye ery’okwesalirawo.Soma Olubereberye 2:15-17.

5. Ensi yandisobodde etya okujjula abantu?

5 Obutafaananako bakabaka bangi, Yakuwa yeesiga abaweereza be era mwetegefu okubakwasa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, yawa Adamu obuyinza okufuga ebiramu byonna, era yamuwa n’obuvunaanyizibwa okutuuma ensolo amannya. (Lub. 1:26; 2:19, 20) Katonda yali asobola okutonda abantu bangi abatuukiridde ne bajjuza ensi. Naye mu kifo ky’okukola ekyo, yasalawo okutonda omukazi atuukiridde, Kaawa, n’amuwa Adamu okuba mukyala we. (Lub. 2:21, 22) Oluvannyuma Katonda yawa Adamu ne Kaawa obuvunaanyizibwa okuzaala abaana bajjuze ensi. Ekiseera bwe kyandigenze kiyitawo, abantu bandigenze bagaziya Olusuku lwa Katonda okutuusa ensi yonna lwe yandifuuse olusuku olulabika obulungi. Abantu bonna ku nsi awamu ne bamalayika mu ggulu bandisinzizza Yakuwa emirembe n’emirembe nga bali bumu. Ng’ebiseera bya Adamu ne Kaawa eby’omu maaso byali bigenda kuba birungi nnyo! Ekyo kiraga nti Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, ayagala nnyo abantu.

ABAANA ABAJEEMU BAGAANA KATONDA OKUBA KABAKA WAABWE

6. (a) Obujeemu bwatandikawo butya mu maka ga Katonda? (b) Lwaki obujeemu obwo tebutegeeza nti Yakuwa yali takyalina buyinza?

6 Eky’ennaku kiri nti Adamu ne Kaawa baagaana okukkiriza Yakuwa okuba Omufuzi waabwe. Baasalawo okugoberera Sitaani, malayika eyajeemera Katonda. (Lub. 3:1-6) Okujeemera obufuzi bwa Katonda kyaleeta obulumi, okubonaabona, n’okufa eri Adamu ne Kaawa awamu n’ezzadde lyabwe. (Lub. 3:16-19; Bar. 5:12) Ku nsi kwali tekukyaliko baweereza ba Katonda beesigwa. Ekyo kitegeeza nti Katonda yali takyalina buyinza ku bantu n’ensi? Nedda. Yakuwa yayoleka obuyinza bwe ng’agoba Adamu ne Kaawa mu lusuku Adeni, era n’abalemesa okuddayo ng’ateekawo bakerubi okukuuma ekkubo erigenda mu lusuku olwo. (Lub. 3:23, 24) Mu kiseera kye kimu, Katonda yayoleka okwagala kwe ng’alaga nti ekigendererwa kye eky’okuba n’abaweereza be abeesigwa mu ggulu ne ku nsi nga bali bumu kyandituukiridde. Yasuubiza nti wandibaddewo “ezzadde” eryandizikirizza Sitaani era ne limalawo ebizibu byonna ebyajjawo olw’obujeemu bwa Adamu.Soma Olubereberye 3:15.

7, 8. (a) Ekiseera kya Nuuwa we kyatuukira, ensi yali mu mbeera ki? (b) Kiki Yakuwa kye yakola okusobola okutereeza ensi n’okuwonyawo abantu?

7 Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, waliwo abantu abaasalawo okuwagira obufuzi bwa Yakuwa. Mu bantu abo mwe mwali Abbeeri ne Enoka. Kyokka abantu abasinga obungi, baagaana okukkiriza Yakuwa okuba Kitaabwe era Kabaka waabwe. Ekiseera kya Nuuwa we kyatuukira, ensi yali ejjudde ebikolwa eby’obukambwe. (Lub. 6:11) Ekyo kitegeeza nti Yakuwa yali takyalina buyinza ku nsi? Bayibuli eyogera ki ku nsonga eyo?

8 Bayibuli egamba nti Yakuwa yalagira Nuuwa okuzimba eryato eddene eryandimuyambye ye n’ab’omu maka ge okuwonawo mu Mataba. Katonda era yakiraga nti ayagala nnyo abantu bwe yalagira Nuuwa okubuulira abalala. (2 Peet. 2:5) Nuuwa ateekwa okuba nga yagamba abantu okwenenya era n’abalabula ne ku kabi akaali kaboolekedde, naye abantu tebaamuwuliriza. Okumala emyaka mingi Nuuwa n’ab’omu maka ge baali babeera mu bantu abakambwe era abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Yakuwa yakuuma Nuuwa n’ab’omu maka ge olw’okuba baali beesigwa. Yakuwa bwe yaleeta Amataba, yakiraga nti yalina obuyinza ku bantu abajeemu ne ku bamalayika ababi. Ekyo kiraga nti Yakuwa yali akyalina obuyinza ku nsi.Lub. 7:17-24.

Bulijjo Yakuwa abadde ayoleka obuyinza bwe nga Kabaka (Laba akatundu 6, 8, 10, 12, 17)

OBUFUZI BWA YAKUWA OLUVANNYUMA LW’AMATABA

9. Kakisa ki Yakuwa ke yawa abantu oluvannyuma lw’Amataba?

9 Nuuwa n’ab’omu maka ge bwe baava mu lyato oluvannyuma lw’Amataba, bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo okulaba nti Yakuwa yali abakuumye ne basobola okuwonawo. Amangu ddala, Nuuwa yazimba ekyoto era n’awaayo ssaddaaka eri Yakuwa. Katonda yawa Nuuwa n’ab’omu maka ge omukisa n’abagamba nti: “Mwalenga mweyongerenga, mujjule ensi.” (Lub. 8:20–9:1) Yakuwa yaddamu okuwa abantu akakisa okumusinza nga bali bumu n’okuzaala abaana bajjuze ensi.

10. (a) Oluvannyuma lw’Amataba abantu baddamu batya okujeemera obufuzi bwa Yakuwa era ekyo kyali wa? (b) Kiki Yakuwa kye yakola okulaba nti ekigendererwa kye kituukirira?

10 Kyokka Amataba agaaliwo mu kiseera kya Nuuwa tegaggyawo butali butuukirivu era Sitaani ne bamalayika abajeemu baali bakyaliwo. Waayita ekiseera kitono abantu ne baddamu okujeemera obufuzi bwa Yakuwa. Omu ku bantu abaajeemera obufuzi bwa Yakuwa yali Nimuloodi, muzzukulu wa Nuuwa. Yazimba ebibuga eby’amaanyi, gamba ng’eky’e Babeeri, era ne yeefuula kabaka ‘mu nsi ya Sinali.’ (Lub. 10:8-12) Kiki Kabaka ow’emirembe n’emirembe kye yakolawo nga kabaka oyo omujeemu agezaako okulemesa ekigendererwa kye eky’abantu ‘okujjula ensi’ okutuukirira? Katonda yatabulatabula olulimi lw’abantu, n’aleetera abagoberezi ba Nimuloodi okusaasaana ‘mu nsi yonna.’ Ekyo kyaviirako okusinza okw’obulimba n’obufuzi bw’abantu okusaasaana yonna gye baagenda.Lub. 11:1-9.

11. Yakuwa yakiraga atya nti yali mwesigwa eri mukwano gwe Ibulayimu?

11 Wadde nga waliwo abantu bangi abaali basinza bakatonda ab’obulimba oluvannyuma lw’Amataba, waliwo abantu abamu abaali basinza Yakuwa. Omu ku bantu abo yali Ibulayimu. Yagondera Yakuwa n’ava mu kibuga Uli n’abeeranga mu weema okumala emyaka mingi. (Lub. 11:31; Beb. 11:8, 9) Ibulayimu bwe yabanga atambula okuva mu kifo ekimu okudda mu kifo ekirala obwesige bwe teyabuteekanga mu bakabaka b’amawanga oba mu bbugwe w’ebibuga byabwe. Mu kifo ky’ekyo obwesige bwe yabuteeka mu Yakuwa, era Yakuwa yamukuuma awamu n’ab’omu maka ge. Ng’ayogera ku ngeri Yakuwa gye yabakuumamu, omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “[Katonda] teyaganya muntu kuboonoona; weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe.” (Zab. 105:13, 14) Olw’okuba Yakuwa yali mwesigwa eri mukwano gwe Ibulayimu, yamusuubiza nti: “Bakabaka baliva mu ggwe.”Lub. 17:6; Yak. 2:23.

12. Yakuwa yayoleka atya obuyinza bwe mu Misiri, era ekyo kyayamba kitya abantu be?

12 Katonda yasuubiza mutabani wa Ibulayimu, Isaaka, ne muzzukulu wa Ibulayimu, Yakobo, nti yandibawadde omukisa era nti mu lunyiriri lwabwe mwe mwandivudde bakabaka. (Lub. 26:3-5; 35:11) Kyokka ekisuubizo ekyo bwe kyali tekinnatuukirira, bazzukulu ba Yakobo baafuuka baddu mu nsi y’e Misiri. Ekyo kyali kitegeeza nti Yakuwa yali tagenda kutuukiriza kisuubizo kye ekyo era nti yali takyalina buyinza ku nsi? Nedda. Mu kiseera kye ekigereke, Yakuwa yayoleka amaanyi ge eri Falaawo era n’akiraga nti ye Mufuzi ow’oku ntikko. Abaisiraeri abaali mu buddu beesiga Yakuwa era yabanunula ng’abayisa mu Nnyanja Emmyufu. Ne mu kiseera ekyo Yakuwa yakiraga nti ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna, era yakozesa amaanyi ge ag’ekitalo okukuuma abantu be.Soma Okuva 14:13, 14.

YAKUWA AFUUKA KABAKA WA ISIRAERI

13, 14. (a) Bwe baali bayimba, kiki Abaisiraeri kye baayogera ku Yakuwa? (b) Kiki Yakuwa kye yasuubiza Dawudi?

13 Amangu ddala ng’Abaisiraeri baakanunulibwa okuva mu buddu e Misiri, baayimba oluyimba olw’obuwanguzi nga batendereza Yakuwa. Oluyimba olwo lusangibwa mu Okuva essuula 15. Mu lunyiriri 18 mulimu ebigambo bino: ‘Yakuwa alifuga emirembe n’emirembe.’ Mu butuufu, Yakuwa yafuuka Kabaka w’eggwanga lya Isiraeri. (Ma. 33:5) Kyokka, Abaisiraeri tebaali bamativu kufugibwa Yakuwa nga Kabaka waabwe okuva bwe kiri nti baali tebamulaba. Nga wayiseewo emyaka nga 400 okuva lwe baava e Misiri, Abaisiraeri baasaba Katonda abateerewo omuntu okuba kabaka waabwe basobole okufaanana amawanga agaali gabeetoolodde agaali gatasinza Yakuwa. (1 Sam. 8:5) Wadde kyali kityo, Yakuwa yali akyali Kabaka, era ekyo kyeyoleka bulungi mu bufuzi bwa Dawudi, kabaka wa Isiraeri ow’okubiri.

14 Dawudi yatwala ssanduuko y’endagaano e Yerusaalemi. Ekyo bwe kyaliwo, Abaleevi baayimba oluyimba ne batendereza Yakuwa era oluyimba olwo lwalimu ebigambo ebiri mu 1 Ebyomumirembe 16:31 (NW), awagamba nti: “Abantu mu mawanga ka boogere nti, ‘Yakuwa afuuse kabaka!’” Kati oyinza okwebuuza, ‘Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye Kabaka ow’emirembe n’emirembe, ate kijja kitya okuba nti yafuuka Kabaka mu kiseera ekyo?’ Yakuwa afuuka Kabaka bw’ayoleka obuyinza bwe oba bw’abaako gw’aba alonze okumukiikirira. Kikulu okutegeera engeri Yakuwa gy’afuukamu Kabaka. Dawudi bwe yali tannafa, Yakuwa yamusuubiza nti obwakabaka bwe bwandibaddewo emirembe n’emirembe. Yamugamba nti: “Ndissaawo ezzadde lyo eririddawo eririva munda yo, era ndinyweza obwakabaka bwe.” (2 Sam. 7:12, 13) Ekisuubizo ekyo kyatuukirira “ezzadde” lya Dawudi bwe lyalabika nga wayiseewo emyaka egisukka mu 1,000. Ezzadde eryo y’ani, era yandifuuse ddi Kabaka?

YAKUWA ALONDA KABAKA OMUGGYA

15, 16. Yesu yafukibwako ddi omwoyo omutukuvu okuba Kabaka, era bwe yali akyali ku nsi, kiki Yesu kye yakola okweteekerateekera obufuzi bwe?

15 Mu mwaka gwa 29 E.E., Yokaana Omubatiza yatandika okubuulira nti “obwakabaka obw’omu ggulu [bwali] busembedde.” (Mat. 3:2) Yokaana bwe yabatiza Yesu, Yakuwa yafuka omwoyo omutukuvu ku Yesu okuba Masiya era okuba Kabaka eyandifuze mu Bwakabaka bwa Katonda. Yakuwa yakiraga nti ayagala nnyo Yesu ng’agamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira.”Mat. 3:17.

16 Mu buweereza bwe bwonna, Yesu yagulumiza Kitaawe. (Yok. 17:4) Ekyo yakikola ng’abuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. (Luk. 4:43) Era yagamba abagoberezi be okusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje. (Mat. 6:10) Okuva bwe kiri nti Yesu ye yali ajja okufuuka Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, yagamba abo abaali bamuyigganya nti: “Obwakabaka bwa Katonda buli wakati mu mmwe.” (Luk. 17:21) Ate mu kiro ekyasembayo Yesu amale attibwe, yakola “endagaano ey’obwakabaka” n’abagoberezi be. Ekyo kyalaga nti abamu ku bayigirizwa be abeesigwa bandifugidde wamu naye mu Bwakabaka bwa Katonda.Soma Lukka 22:28-30.

17. Mu ngeri ki Yesu gye yatandika okufuga mu mwaka gwa 33 E.E., naye kiki kye yalina okulindirira?

17 Yesu yanditandise ddi okufuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda? Ekiseera kyalina okuyitawo. Yesu yattibwa era abagoberezi be baasaasaana. (Yok. 16:32) Naye okuva bwe kiri nti Yakuwa ye Kabaka ow’emirembe n’emirembe, ku lunaku olw’okusatu, yazuukiza Omwana we, era ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E., Yesu yatandika okufuga ekibiina Ekikristaayo eky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. (Bak. 1:13) Wadde kyali kityo, Yesu yalina okulindirira okumala ekiseera nga tannafuuka Kabaka w’ensi mu bujjuvu. Yakuwa yagamba Omwana we nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.”Zab. 110:1.

SINZA KABAKA OW’EMIREMBE N’EMIREMBE

18, 19. Kiki kye tusaanidde okukola, era bibuuzo ki ebijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?

18 Okumala emyaka nkumi na nkumi, wabaddewo bamalayika n’abantu bangi abagaanye okukkiriza Yakuwa okuba Kabaka waabwe. Wadde kiri kityo Yakuwa asigadde ng’afuga nga Kabaka era bulijjo abadde ayoleka obuyinza bwe. Nga Katonda ow’okwagala, Yakuwa yakuuma era n’alabirira abaweereza be abeesigwa, nga Nuuwa, Ibulayimu, ne Dawudi. Ekyo tekyanditukubirizza okukkiriza Yakuwa okuba Kabaka waffe n’okwongera okumwagala?

19 Naye tuyinza okuba nga twebuuza: Yakuwa afuuse atya Kabaka mu kiseera kyaffe? Tuyinza tutya okukiraga nti tukkirizza okufugibwa Obwakabaka bwa Yakuwa era nti twagala okufuuka abaana be abatuukiridde? Bwe tusaba Obwakabaka bwa Katonda okujja tuba tutegeeza ki? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.