Okuweereza Yakuwa Kindeetedde Essanyu Lingi
Okuweereza Yakuwa Kindeetedde Essanyu Lingi
Byayogerwa Fred Rusk
Bwe nnali nkyali muto, nnalaba obutuufu bw’ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 27:10: “Kubanga kitange ne mmange bandese, naye Mukama ananjijanjabanga.” Ka mbabuulire engeri gye nnalabamu obutuufu bw’ebigambo ebyo.
NNAKULIRA ku faamu ya jjajjange eya ppamba mu Georgia, Amerika mu kiseera eby’enfuna we byagootaanira mu nsi yonna mu myaka gya 1930. Kitange, eyali omwennyamivu ennyo olw’okufa kwa maama wange ne muto wange eyali yaakazaalibwa, yandeka ewa kitaawe eyali ssemwandu n’agenda okukolera mu kitundu eky’ewala. Oluvannyuma yayagala okuntwala mbeere naye, naye ne kitasoboka.
Bawala ba jjajja abakulu be baddukanyanga amaka ge. Wadde nga jjajja yali teyettanira bya ddiini, bawala be baali bannaddiini nnyo era nga baagala nange mbeere nga bo. Baŋŋambanga nti baali ba kunkuba bwe sandigenze mu kkanisa buli Ssande. Bwe kityo okuviira ddala mu buto, eby’eddiini nnali sibyagala nnyo. Kyokka nnali njagala nnyo okusoma n’okuzannya emizannyo.
Olukyala Olwakyusa Obulamu Bwange
Lumu mu 1941, nga ndi wa myaka 15, omusajja omukadde awamu ne mukyala we baakyalako ewaffe. Bwe baali bamunyanjulira, baŋŋamba nti, “ono ye taata wo omuto Talmadge Rusk.” Nnali simulabangako naye nnakimanya nti ye ne mukyala we baali Bajulirwa ba Yakuwa. Ebyo bye yayogera ebikwata ku kigendererwa kya Katonda eky’abantu okubeera ku nsi emirembe gyonna byali bya njawulo nnyo ku ebyo bye baali batuyigiriza mu kkanisa. Abasinga obungi awaka tebakkiriziganya n’ebyo bye baayogera. Baabagaana okuddamu okujja awaka. Naye ssenga wange Mary, eyali ansingako emyaka essatu gyokka, yakkiriza Bayibuli awamu n’ebitabo ebiginnyonnyola bye baamuwa.
Mary yakirabirawo nti yali azudde amazima era yabatizibwa mu 1942 n’afuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Era yalaba obutuufu bw’ebigambo bya Yesu bino: “Abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.” (Mat. 10:34-36) Baamuyigganya nnyo awaka. Muganda wa Mary omukulu, eyali omututumufu ennyo mu gavumenti, yeekobaana ne meeya w’ekibuga ne bakwata taata wange omuto Talmadge ne bamusiba. Baamuvunaana ogw’okutunda ebitabo nga tasoose kufuna lukusa. Bamusingisa omusango ogwo.
Olupapula lw’amawulire lwagamba nti meeya, era eyakola ng’omulamuzi, yagamba abo abaali mu kkooti nti: “Ebitabo omusajja ono by’agabira abantu . . . biringa obutwa.” Wadde nga taata wange omuto yajulira mu kkooti era omusango ogwo n’aguwangula, baamuleka mu kkomera okumala ennaku kkumi nga tebannamuta.
Engeri Ssenga Wange Mary Gye Yannyambamu
Ng’oggyeko okumbuulirako ku bintu bye yali ayiga, Mary yabibuulirangako ne baliraanwa baffe. Lumu, nnamuwerekerako ng’agenda okuyigiriza omusajja gwe yali yawa akatabo akayitibwa The New World. * Mukyala w’omusajja oyo yagamba nti omwami we ekiro kyonna yakimala asoma katabo ako. Wadde nga nnali saagala kweyingiza nnyo mu bintu bya ddiini, ebintu ssenga bye yali anjigiriza okuva mu Bayibuli byankwatako nnyo. Naye ekyo si kye kyokka ekyannyamba okukiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa be bantu ba Katonda. Okusingira ddala engeri gye baali bayisibwamu ye yannyamba okukiraba nti be bantu ba Katonda.
Ng’ekyokulabirako, lumu bwe twali tukomawo nga tuva okukoola ennyaanya, twalengera omukka nga gunyooka. Baganda ba Mary baali bookezza ebitabo bye, gramufoomu ye, awamu n’obutambi bwe okwali obubaka bwa Bayibuli. Ekyo kyannyiiza nnyo naye omu ku bassenga, muganda wa Mary omukulu, n’aŋŋamba nti, “Oluvannyuma lw’ekiseera, ojja kusiima ekyo kye tukoze.”
Mu 1943, Mary yagobebwa awaka olw’okugaana okulekera awo okukolagana n’Abajulirwa ba Yakuwa n’okubuulira baliraanwa. Mu kiseera ekyo nnali njize nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa era nti ye Katonda ow’okwagala atasobola kwokya bantu mu muliro ogutazikira. Era nnali mmaze okukimanya nti Yakuwa alina ekibiina kye, wadde nga nnali sigendangako mu nkuŋŋaana.
Lumu, bwe nnali nsaawa omuddo, nnagenda okulaba ng’emmotoka esiba era omu ku basajja ababiri abaalimu n’ambuuza obanga nze Fred. Bwe nnakitegeera nti baali Bajulirwa ba Yakuwa, nnabagamba nti, “Ka nninye ŋŋende nammwe tunyumize eyo.” Mary ye yali akoze enteekateeka bajje bansisinkane. Omu ku basajja abo yali ayitibwa Shield Toutjian, eyali omulabirizi atambula, eyanzizaamu ennyo amaanyi era n’ampa obulagirizi obw’eby’omwoyo bwe nnali nneetaaga mu kiseera ekyo. Kati ab’awaka bonna baatandika okunjigganya olw’okuba nnali ntandise okuwagira enjigiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa.
Mary, kati eyali abeera mu Virginia, yampandiikira ebbaluwa n’aŋŋamba nti bwe mba nga mmaliridde okuweereza Yakuwa, nsobola okugenda ne mbeera naye. Nnasalawo okugenda. Ku Lwokutaano akawungeezi mu Okitobba 1943, nnapakira ebintu byange mu kibbookisi ne nkitwala ne nkiwanika ku muti ogwali okumpi n’awaka. Ku Lwomukaaga, nnawanulayo ekibbookisi kyange, ne mpita emmanju w’ennyumba ya muliraanwa, ne ŋŋenda mu kibuga. Bwe nnatuuka mu kibuga Roanoke, nnasanga Mary mu maka ga Edna Fowlkes.
Nkulaakulana mu by’Omwoyo, Mbatizibwa, Mpeereza ku Beseri
Edna yali mwannyinaffe eyafukibwako amafuta era yali wa kisa nnyo okufaananako Lidiya ayogerwako mu Bayibuli. Edna yali apangisizza ennyumba ennene era ng’akkirizza ssenga Mary, mulamu we awamu ne bawala be ababiri okubeera naye. Abawala abo ababiri—Gladys Gregory ne Grace Gregory—oluvannyuma baafuuka abaminsani. Gladys, kati ali mu myaka 90, akyaweereza Yakuwa n’obwesigwa ku ofiisi y’ettabi mu Japan.
Bwe nnali mbeera mu maka ga mwannyinaffe Edna, nnasobolanga okugenda mu nkuŋŋaana obutayosa n’okutendekebwa mu mulimu gw’okubuulira. Olw’okuba kati nnalina eddembe okusoma Bayibuli n’okubaawo mu nkuŋŋaana kyannyamba okukulaakulana mu by’omwoyo. Nnabatizibwa nga Jjuuni 14, 1944. Mary, Gladys, ne Grace baatandika okuweereza nga bapayoniya era ne basindikibwa mu bukiikakkono bwa Virginia. Baakola kinene nnyo mu kutandikawo ekibiina mu Leesburg. Ng’omwaka gwa 1946 gwakatandika, nange nnatandika okuweereza nga payoniya mu kitundu ekyali kiriraanye Leesburg. Mu mwaka ogwo gwennyini nnagenda nabo mu lukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna olwali mu Cleveland, Ohio, mu Agusito okuva nga 4-11.
Ku lukuŋŋaana olwo, Ow’oluganda Nathan Knorr, mu kiseera ekyo eyali atwala obukulembeze mu kibiina, yayogera ku nteekateeka ez’okugaziya Beseri y’e Brooklyn. Ekizimbe ekirala eky’okusulwamu Ababeseri kyali kigenda kuzimbibwa era n’ekizimbe omukubirwa ebitabo kigaziyizibwe. Abavubuka bangi baali beetaagibwa. Nnawulira nga nange njagala kuweereza ku Beseri. Nnajjuza foomu, era oluvannyuma lw’emyezi mitono, nga Ddesemba 1, 1946, nnatandika okuweereza ku Beseri.
Nga wayise omwaka nga gumu, Ow’oluganda Max Larson, eyali alabirira omulimu gw’okukuba ebitabo, yajja we nnali nkolera mu kitongole ekikola ku mabaluwa n’aŋŋamba nti nnali ŋŋenda kutandika okuweereza mu Kitongole ky’Obuweereza. Bwe nnali mu kitongole ekyo, nneeyongera okuyiga okukozesa emisingi gya Bayibuli n’okumanya emirimu egikolebwa mu kibiina kya Yakuwa, naddala bwe nnali nga nkolera wamu ne T. J. (Bud) Sullivan, eyali omulabirizi w’ekitongole ekyo.
Kitange yankyalira emirundi egiwerako ku Beseri. Yali atandise okwagala eby’eddiini. Ku mulundi gwe yasembayo okunkyalira, mu 1965, yaŋŋamba nti, “Osobola okujja n’onkyalira, naye nze sijja kuddamu kujja wano.” Nnamukyalirako emirundi egiwerako bwe yali tannafa. Yali alowooza nti agenda mu ggulu. Nsuubira nti Yakuwa amujjukira, era bwe kiba nga bwe kityo bwe kiri, bw’anaazuukira, tajja kuba mu ggulu nga bwe yali alowooza, naye ajja kuba wano ku nsi mu Lusuku lwa Katonda ng’alina essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna.
Enkuŋŋaana Endala Ennene n’Omulimu gw’Okuzimba
Enkuŋŋaana ennene nazo zannyamba nnyo okukulaakulana mu by’omwoyo, naddala ezo ezaali mu kisaawe ky’e Yankee, New York mu myaka gya 1950. Ku lukuŋŋaana olwaliwo mu 1958, abantu 253,922 okuva mu nsi 123 be baakuŋŋaanira mu kisaawe ky’e Yankee n’eky’e Polo. Waliwo ekintu ekyaliwo ku lukuŋŋaana olwo kye sigenda kwerabira. Bwe nnali nnyambako mu kitongole ekitegeka olukuŋŋaana, Ow’oluganda Knorr yajja gye ndi ng’ayanguwa. Yaŋŋamba nti: “Fred, nneerabira okulonda ow’oluganda okuwa bapayoniya emboozi. Osobola okwanguwa n’ogenda mu kizimbe gye bakuŋŋaanidde n’obawa emboozi ennungi ku nsonga gy’onooba olowoozezzaako ng’ogenda?” Bwe nnali ŋŋenda, nnasaba nnyo Yakuwa annyambe nsobole okuwa obulungi emboozi eyo.
Ebibiina bwe byagenda byeyongera mu kibuga New York mu myaka gya 1950 ne 1960, ebifo bye twali tupangisa okufuniramu enkuŋŋaana byali tebikyatumala. Bwe kityo, wakati wa 1970 ne 1990, waaliwo ebizimbe bisatu ebyagulibwa mu Manhattan era ne biddaabirizibwa okusobola okuba nga bisaanira okufunirwamu enkuŋŋaana. Nze nnali ssentebe w’obukiiko obwaddaabiriza ebizimbe ebyo era nnalaba engeri Yakuwa gye yawaamu ebibiina omukisa ne bisobola okufuna ssente okugula ebizimbe ebyo n’okubiddaabiriza era n’okutuusa kati ebizimbe ebyo bikyakozesebwa mu kusinza okw’amazima.
Enkyukakyuka mu Bulamu Bwange
Lumu mu 1957, bwe nnali ntambula nga nva gye tusula nga ŋŋenda ku kizimbe omukubirwa ebitabo, enkuba yatandika okutonnya. Nnalaba omuwala omulungi eyali Omubeseri omupya ng’enkuba emukuba. Yali talina manvuuli, ne nsalawo okumubikka mu yange. Bwe ntyo bwe nnasisinkana Marjorie, eyafuuka mukyala wange. Okuva bwe twafumbiriganwa mu 1960, tubadde tutambulira wamu mu bulungi ne mu bubi nga tuweereza Yakuwa. Mu Ssebutemba 2010 twaweza emyaka 50 mu bufumbo.
Bwe twali twakadda okuva mu kuwummulamu oluvannyuma lw’embaga yaffe, Ow’oluganda Knorr yaŋŋamba nti nnali nnondeddwa okusomesa mu Ssomero lya Gireyaadi. Ng’eyo yali nkizo ya maanyi! Okuva mu 1961 okutuuka mu 1965, waaliwo amasomero ga mirundi etaano agaamalanga emyezi kkumi ng’okusingira ddala gaali gatendeka abo abaali ku bukiiko bw’amatabi ku ngeri y’okuddukanyaamu amatabi. Ng’omwaka gwa 1965 gunaatera okuggwako, essomero lya Gireyaadi lyaddamu okumalanga emyezi etaano, era essira ne liddamu okuteekebwa ku kutendeka abaminsani.
Mu 1972, nnakyusibwa okuva mu Ssomero lya Gireyaadi ne nzira mu kitongole ekikola ku
kuddamu ebibuuzo, nga nze mulabirizi waakyo. Okunoonyereza ku bibuuzo ebitali bimu ne ku nsonga ezitali zimu kinnyambye okwongera okutegeera obulungi Ekigambo kya Katonda n’okumanya engeri y’okukozesaamu emisingi egikirimu okuyamba abalala.Mu 1987, nnalondebwa okuweereza mu kitongole ekyali kyakateekebwawo ekikola ku by’obujjanjabi. Emisomo egitali gimu gyategekebwa okutendeka abakadde abaali ku Bukiiko Obukwataganya eby’Eddwaliro ku ngeri y’okwogeramu n’abasawo, abalamuzi, n’abalala abakola ku by’obujjanjabi ku bikwata ku nnyimirira yaffe ku musaayi. Ekizibu ekyaliwo mu kiseera ekyo kyali nti abasawo baateekangako abaana baffe omusaayi nga tebasoose kukkirizibwa bazadde baabwe, ng’emirundi egisinga kkooti ye yabanga ebalagidde.
Abasawo bwe baagambibwanga okukozesa ebintu ebirala okujjanjaba omulwadde mu kifo ky’okukozesa omusaayi, baateranga okugamba nti ebintu ebyo tebiriiwo oba nti biri ku buseere. Omusawo yenna alongoosa abalwadde bwe yampanga ensonga eyo nnateranga okumugamba nti, “Yanjuluza engalo zo.” Ekyo bwe yakikolanga, nnamugambanga nti, “Okimanyi nti ekintu ky’okwata mu ngalo ezo kisobola okukuyamba okujjanjaba omuntu nga tokozesezza musaayi.” Ekyo kyayambanga omusawo okukiraba nti singa akozesa bulungi akambe k’akozesa okulongoosa, asobola okukendeeza ku musaayi oguva mu muntu gw’aba alongoosa.
Mu myaka 20 egiyise, Yakuwa awadde omukisa omulimu gw’okusomesa abasawo n’abalamuzi. Endowooza yaabwe ekyuse nnyo bwe beeyongedde okutegeera obulungi ennyimirira yaffe ku musaayi. Bakitegedde nti waliwo ebintu ebirala ebisobola okukozesebwa okujjanjaba omulwadde nga tebakozesezza musaayi era nti waliwo n’abasawo bangi abasobola okujjanjaba omuntu nga tebakozesezza musaayi awamu n’amalwaliro mangi omulwadde gy’asobola okujjanjabibwa nga tateekeddwako musaayi.
Okuva mu 1996, nze ne Marjorie tubadde tuweereza ku Watchtower Educational Center e Patterson, mu New York, ekyesudde mayiro nga 70 mu bukiikakono bwa Brooklyn. Nga ndi e Patterson, nnaweerezaako mu Kitongole ky’Obuweereza era okumala akaseera nnasomesaako abo abali ku bukiiko bw’amatabi n’abalabirizi abatambula. Mu myaka 12 egiyise, mbadde mpeereza mu kitongole ekikola ku kuddamu ebibuuzo, ekyaggibwa e Brooklyn ne kitwalibwa e Patterson.
Obuzibu mu Myaka egy’Obukadde
Okuva bwe kiri nti kati nnina emyaka 85, obuweereza bwange ku Beseri tebukyannyanguyira. Obulwadde bwa kkansa kati bwakannumira emyaka egisukka mu kkumi. Mpulira nga Keezeekiya, Yakuwa gwe yayongerako emyaka ku bulamu bwe. (Is. 38:5) Ne mukyala wange naye obulamu bwe bugenda bweyongera okunafuwa, era nfuba okumuyamba okwolekagana n’obulwadde bwe obw’obwongo. Marjorie aweerezza Yakuwa n’obunyiikivu, abuuliridde ab’oluganda bangi abato, annyambye nnyo era abadde mwesigwa nnyo gye ndi. Bwe yali tannalwala, Marjorie yali musomi wa Bayibuli munyiikivu nnyo era nga mubuulizi mulungi, era tuzadde abaana ab’eby’omwoyo bangi ddala.
Ssenga wange Mary yafa mu Maaki 2010 ng’alina emyaka 87. Yali muyigiriza mulungi nnyo era yayamba abantu bangi okuyiga amazima. Yamala emyaka mingi mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Ndi musanyufu nnyo okuba nti ssenga wange oyo yannyamba okuyiga amazima agali mu Kigambo kya Katonda nange ne nsobola okuweereza Yakuwa, Katonda waffe ow’okwagala. Mary yaziikibwa kumpi ne bbaawe we yaziikibwa. Bba wa Mary yali yaweerezaako ng’omuminsani mu Isiraeri. Ndi mukakafu nti Yakuwa abajjukira era ajja kubazuukiza.
Nneebaza nnyo Yakuwa olw’emikisa emingi gy’ampadde mu myaka 67 gye mmaze nga muweereza. Okukola Katonda by’ayagala kindeetedde essanyu lingi! Bwe ndowooza ku kisa kya Katonda eky’ensusso ky’andaze, ekyo kindeetera okukkiririza mu kisuubizo ky’Omwana we kino: “Buli muntu eyaleka ennyumba, baganda be, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba abaana, oba ebibanja olw’erinnya lyange, ajja kufuna ebisingawo emirundi mingi era ajja kufuna n’obulamu obutaggwaawo.”—Mat. 19:29.
[Obugambo obuli wansi]
^ Kaakubibwa mu 1942 naye kati tekakyafulumizibwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Nga ndi ku faamu ya jjajja eya ppamba mu Georgia, Amerika, mu 1928
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Ssenga Mary ne taata wange omuto Talmadge
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Mary, Gladys, ne Grace
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Nga mbatizibwa, nga Jjuuni 14, 1944
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Nga mpeereza mu Kitongole ky’Obuweereza ku Beseri
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Nga ndi ne Mary ku lukuŋŋaana olw’ensi yonna olwaliwo mu 1958 mu kisaawe ky’e Yankee
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Nga ndi ne Marjorie ku lunaku lw’embaga yaffe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Nga ndi ne Marjorie mu 2008