Bamalayika—“Myoyo Egiweereza”
Bamalayika—“Myoyo Egiweereza”
“Bonna si myoyo egiweereza, egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi?”—BEB. 1:14.
1. Ebigambo ebiri mu Matayo 18:10 ne mu Abebbulaniya 1:14 bituzzaamu bitya amaanyi?
YESU KRISTO yalabula bw’ati omuntu yenna eyandireetedde abagoberezi be okwesittala: “Mukakase nti temunyooma omu ku bato bano; kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe mu ggulu bulijjo balaba amaaso ga Kitange ali mu ggulu.” (Mat. 18:10) Ng’ayogera ku bamalayika abeesigwa, omutume Pawulo yagamba nti: “Bonna si myoyo egiweereza, egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi?” (Beb. 1:14) Ebigambo ebyo bituzzaamu amaanyi kubanga biraga nti Katonda akozesa ebitonde ebyo eby’omu ggulu okuyamba abantu. Baibuli etubuulira ki ku bamalayika? Batuyamba batya? Kiki kye tubayigirako?
2, 3. Egimu ku mirimu bamalayika gye bakola gye giruwa?
2 Mu ggulu eriyo obukadde n’obukadde bwa bamalayika abeesigwa. Bonna ‘bazira ba maanyi, era batuukiriza ekigambo kya Katonda.’ (Zab. 103:20; soma Okubikkulirwa 5:11.) Buli omu ku baana ba Katonda bano ab’omwoyo alina engeri ezaawuka ku z’omulala, ayoleka engeri ng’eza Katonda, era alina eddembe ly’okwesalirawo. Bategekeddwa bulungi era balina ebifo ebya waggulu mu nteekateeka ya Katonda, nga malayika omukulu ye Mikayiri (erinnya Yesu ly’ayitibwa mu ggulu). (Dan. 10:13; Yuda 9) “Omubereberye w’ebitonde byonna” ono ye “Kigambo,” oba Omwogezi wa Katonda, era Yakuwa gwe yakozesa okutonda ebintu ebirala byonna.—Bak. 1:15-17; Yok. 1:1-3.
3 Malayika omukulu y’atwala basseraafi, abalangirira obutukuvu bwa Yakuwa, era abavunaanyizibwa ku kukuuma abantu be nga bayonjo mu by’omwoyo. Era y’atwala ne bakerubi, abalwanirira ekitiibwa kya Katonda. (Lub. 3:24; Is. 6:1-3, 6, 7) Bamalayika abalala, oba ababaka, balina obuvunaanyizibwa obutali bumu ku kukola Katonda by’ayagala.—Beb. 12:22, 23.
4. (a) Bamalayika baakola ki omusingi gw’ensi bwe gwassibwawo? (b) Obulamu bwandibadde butya singa abantu baali bakozesezza bulungi eddembe ly’okwesalirawo?
4 Bamalayika bonna baasanyuka ‘omusingi gw’ensi bwe gwassibwawo’ era baakola n’essanyu emirimu egyabaweebwa ng’ensi etegekebwa esobole okubeeramu abantu. (Yobu 38:4, 7) Wadde nga Yakuwa yatonda omuntu ‘ng’abulako katono okuba nga bamalayika,’ yamutonda mu ‘kifaananyi kye’ ng’asobola bulungi okwoleka engeri ng’ezize. (Beb. 2:7; Lub. 1:26) Singa ekirabo ky’okwesalirawo baali bakikozesezza bulungi, Adamu ne Kaawa awamu ne bazzukulu baabwe bandinyumiddwa obulamu obulungi ennyo ku nsi, era nabo bandibadde ba mu nnyumba ya Yakuwa ey’ebitonde ebitegeera.
5, 6. Bujeemu ki obwabalukawo mu ggulu, era Katonda yakolawo ki?
5 Bamalayika abeesigwa bateekwa okuba nga baakubwa enkyukwe bwe waabalukawo obujeemu mu nnyumba ya Katonda. Omu ku bamalayika yatandika okuwulira nga takyali mumativu kutendereza Yakuwa kubanga yali ayagala ye y’aba asinzibwa. Bw’atyo yafuuka Sitaani (ekitegeeza “Omuziyiza”) bwe yagezaako okuteekawo obufuzi obubwe, alage nti engeri Yakuwa gy’afugamu si nnungi. Ng’ayogera ebigambo eby’obulimba ebyasookera ddala, Sitaani yalimbalimba abantu ababiri abaasooka ne bamwegattako mu kujeemera Omutonzi waabwe.—Lub. 3:4, 5; Yok. 8:44.
6 Amangu ago Yakuwa yasalira Sitaani omusango ng’ayogera ebigambo ebiri mu bunnabbi obwasookera ddala mu Baibuli: “Obulabe n[n]abuteekanga wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi: (ezzadde ly’omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” (Lub. 3:15) Empalana eyo wakati wa Sitaani “n’omukazi” wa Katonda yali ya kugenda mu maaso. Yee, ekibiina kye eky’omu ggulu ekya bamalayika abeesigwa Yakuwa yali akitwala ng’omukyala omwagalwa, nga ye ye Mwami. Obunnabbi obwo bwalaga nti waaliwo essuubi, wadde ng’ebyali bizingirwamu mu kusooka byasigala nga ‘kyama ekitukuvu,’ ne bigenda nga bibikkulwa mpolampola. Katonda yalaga nti yandibaddeko gw’alonda okuva mu kibiina kye eky’omu ggulu n’azikiriza abajeemu bonna, era nti okuyitira mu oyo “ebintu eby’omu ggulu n’eby’oku nsi” byandikuŋŋaanyiziddwa wamu.—Bef. 1:8-10.
7. Bamalayika abamu baakola ki mu kiseera kya Nuuwa, era ekyo kyabaviiramu ki?
7 Mu kiseera kya Nuuwa, bamalayika abamu baaleka “ebifo byabwe ebituufu” ne beekolera emibiri egy’oku nsi basobole okukola bye baagala ku nsi. (Yuda 6; Lub. 6:1-4) Abajeemu abo Yakuwa yabateeka mu kizikiza eky’eby’omwoyo eky’amaanyi, era bwe batyo beeyunga ku Sitaani ne bafuuka “emyoyo ebibi” era egy’akabi ennyo eri abaweereza ba Katonda.—Bef. 6:11-13; 2 Pe. 2:4.
Bamalayika Batuyamba Batya?
8, 9. Yakuwa akozesezza atya bamalayika okuyamba abantu?
8 Ibulayimu, Yakobo, Musa, Yoswa, Isaaya, Danyeri, Yesu, Peetero, Yokaana, ne Pawulo be bamu ku bantu bamalayika be baayamba. Bamalayika abeesigwa baatumibwanga okubonereza abo Katonda be yabanga asalidde omusango, n’okutuusa obunnabbi oba obulagirizi ku bantu, nga muno mwe mwali n’Amateeka ga Musa. (2 Bassek. 19:35; Dan. 10:5, 11, 14; Bik. 7:53; Kub. 1:1) Olw’okuba kati tulina Baibuli yonna, tekikyetaagisa bamalayika kutuleetera bubaka. (2 Ti. 3:16, 17) Naye wadde nga tetubalaba, bamalayika balina emirimu gya Katonda mingi gye bakola, era bayamba abaweereza be.
9 Baibuli etukakasa nti: “Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, n’abalokola.” (Zab. 34:7; 91:11) Olw’okuba Sitaani yagamba nti abantu tebasobola kunywerera ku Katonda nga bagezesebwa, Yakuwa amuleka n’atuleetera ebizibu. (Luk. 21:16-19) Kyokka Katonda amanyi ekigero buli omu w’atuuka ng’agezesebwa n’aba nti alaze obwesigwa gy’ali. (Soma 1 Abakkolinso 10:13.) Bamalayika beetegefu okuyamba nga Katonda bw’aba ayagala. Baanunula Saddulaaki, Mesaki, Abeduneego, Danyeri, ne Peetero, naye tebaaziyiza balabe kutta Suteefano ne Yakobo. (Dan. 3:17, 18, 28; 6:22; Bik. 7:59, 60; 12:1-3, 7, 11) Embeera n’ensonga ezaali zizingirwamu byali bya njawulo. Mu ngeri y’emu, baganda baffe abamu abaali mu nkambi z’Abanazi battibwa, kyokka Yakuwa yakakasa nti abasinga obungi bawonawo.
10. Buyambi ki obulala bwe tuyinza okufuna ng’oggyeko obwa bamalayika?
10 Baibuli teyigiriza nti buli muntu ku nsi alina malayika amukuuma. Kyokka tuli bakakafu nti “bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, [Katonda] atuwulira.” (1 Yok. 5:14) Kya lwatu nti Yakuwa asobola okusindika malayika okutuyamba, naye obuyambi buyinza okutuweebwa mu ngeri endala. Bakristaayo bannaffe basobola okutuyamba n’okutubudaabuda. Katonda asobola okutuwa amagezi n’amaanyi ne tuguma nga tulina “eriggwa mu mubiri” erituluma, nga tulinga abakubibwa “malayika wa Sitaani.”—2 Ko. 12:7-10; 1 Se. 5:14.
Koppa Yesu
11. Bamalayika baakozesebwa batya okuyamba Yesu, era okusigala nga mwesigwa eri Katonda kyalaga ki?
11 Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yakozesaamu bamalayika bwe kyatuuka ku Yesu. Baalangirira okuzaalibwa n’okuzuukizibwa kwe era baamuyamba ng’ali ku nsi. Bamalayika baali basobola okuziyiza Yesu okukwatibwa n’okuttibwa mu ngeri ey’obukambwe. Naye mu kifo ky’ekyo, malayika yasindikibwa okumuzzaamu amaanyi. (Luk. 2:8-11; 22:43; 24:4-7) Ng’enteekateeka ya Katonda bwe yali, Yesu yeewaayo nga ssaddaaka n’attibwa, ne kiraga nti omuntu atuukiridde asobola okukuuma obwesigwa bwe eri Katonda, ne bw’agezesebwa kwenkana wa. N’olwekyo, Yakuwa yazuukiza Yesu ng’omuntu ow’omwoyo n’amuwa obulamu obutayinza kuzikirizibwa, era n’amuwa “obuyinza bwonna,” nga ne bamalayika bonna bali wansi we. (Mat. 28:18; Bik. 2:32; 1 Pe. 3:22) Bwe kityo Yesu ye “zzadde” ekkulu “ery’omukazi” wa Katonda.—Lub. 3:15; Bag. 3:16.
12. Tuyinza tutya okwoleka “endowooza ennuŋŋamu” nga Yesu?
12 Yesu yali akimanyi nti kyandibadde kikyamu okugezesa Yakuwa ng’akola ebintu ebiteeka obulamu bwe mu kabi olw’okuba bamalayika bandimuyambye. (Soma Matayo 4:5-7.) Naffe ka tufube okukoppa ekyokulabirako kya Yesu ekyo nga twoleka “endowooza ennuŋŋamu,” tugumire okuyigganyizibwa naye nga tetukola bintu bissa bulamu bwaffe mu kabi.—Tito 2:12.
Kiki Kye Tuyigira ku Bamalayika Abeesigwa?
13. Kiki kye tuyigira ku bamalayika abeesigwa ekyogerwako mu 2 Peetero 2:9-11?
13 Peetero yajuliza ekyokulabirako kya bamalayika okulaga nti tetulina ‘kuvuma’ baweereza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta. Wadde nga ba maanyi nnyo, bamalayika tebasalira muntu musango oba okumuvunaana, “olw’okuba batya Yakuwa.” (Soma 2 Peetero 2:9-11.) Ka naffe twewale okusalira abalala omusango mu bukyamu, tusse ekitiibwa mu abo abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina, era ensonga tuzirekere Yakuwa, Omulamuzi ow’oku Ntikko.—Bar. 12:18, 19; Beb. 13:17.
14. Bamalayika booleka batya obwetoowaze mu buweereza bwabwe?
14 Bamalayika ba Yakuwa batuteerawo ekyokulabirako nga baweereza n’obwetoowaze. Bamalayika abamu baagaana okubuulira abantu amannya gaabwe. (Lub. 32:29; Balam. 13:17, 18) Wadde mu ggulu eriyo obukadde n’obukadde bwa bamalayika, bamalayika bokka Baibuli b’eyogera amannya ye Mikayiri ne Gabulyeri. Kino kituyamba okwewala okuwa bamalayika ekitiibwa ekisusse. (Luk. 1:26; Kub. 12:7) Omutume Yokaana bwe yavunnama okumusinza, malayika yamulabula nti: “Weegendereze! Tokola bw’otyo! Nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo.” (Kub. 22:8, 9) Katonda yekka gwe tulina okusinza n’okusaba.—Soma Matayo 4:8-10.
15. Bamalayika bassaawo batya ekyokulabirako mu kugumiikiriza?
15 Bamalayika era bateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kugumiikiriza. Wadde nga baagala nnyo okumanya ebyama bya Katonda ebitukuvu, waliwo bye batamanyi. Baibuli egamba nti: “Ebintu bino bamalayika nabo baagala nnyo okubitegeera.” (1 Pe. 1:12) Kati olwo bakola batya? Balindirira n’obugumiikiriza okutuusa “amagezi ga Katonda ageeyolekera mu ngeri ez’enjawulo” lwe ‘gategeezebwa okuyitira mu kibiina.’—Bef. 3:10, 11.
16. Engeri gye tweyisaamu ekwata etya ku bamalayika?
16 Bwe baba bagezesebwa, Abakristaayo bafuuka ‘ekyerolerwa eri bamalayika.’ (1 Ko. 4:9) Bamalayika baddamu nnyo amaanyi bwe balaba ebikolwa byaffe ebiraga okukkiriza, era basanyuka bwe wabaawo omwonoonyi eyeenenya. (Luk. 15:10) Bamalayika batunuulira nnyo enneeyisa y’abakazi Abakristaayo eraga okutya Katonda. Baibuli eraga nti “omukazi agwanidde okubangako akabonero ku mutwe gwe akalaga nti ali wansi wa musajja, era n’olwa bamalayika.” (1 Ko. 11:3, 10) Yee, bamalayika basanyuka nnyo bwe balaba abakyala Abakristaayo n’abaweereza ba Katonda abalala bonna ku nsi nga bagondera enteekateeka ya teyokulase awamu n’ey’obukulembeze. Obuwulize obw’engeri eyo bufuuka kya kulabirako eri abaana ba Katonda bano ab’omu ggulu.
Bamalayika Batuyamba mu Mulimu gw’Okubuulira
17, 18. Kiki ekiraga nti bamalayika batuyamba mu mulimu gw’okubuulira?
17 Bamalayika beenyigira mu bimu ku bintu ebikulu ebikolebwa mu “lunaku lwa Mukama waffe.” Mu bino mwe muli okuzaalibwa kw’Obwakabaka mu 1914, n’okusuulibwa kwa Sitaani ne badayimooni okuva mu ggulu, ekyakolebwa “Mikayiri ne bamalayika be.” (Kub. 1:10; 11:15; 12:5-9) Omutume Yokaana yalaba “malayika ng’abuuka waggulu mu bbanga, era yalina amawulire amalungi ag’essanyu, ag’emirembe n’emirembe ag’okulangirira eri abo ababeera ku nsi.” Malayika yalangirira nti: “Mutye Katonda era mumuwe ekitiibwa, kubanga ekiseera kituuse asale omusango, musinze Oyo eyakola eggulu, n’ensi, n’ennyanja n’ensulo z’amazzi.” (Kub. 14:6, 7) Bwe kityo, abaweereza ba Katonda bakakafu nti bamalayika babayamba mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, wadde ng’Omulyolyomi agezaako nnyo okubaziyiza.—Kub. 12:13, 17.
18 Leero, bamalayika teboogera naffe nga batulagirira eri abantu ab’emitima emirungi nga malayika bwe yakola bwe yagamba Firipo okutuukirira Omwesiyopiya omulaawe. (Bik. 8:26-29) Kyokka obukakafu bungi bulaga nti wadde nga tetubalaba, bamalayika batuyamba mu mulimu gw’okubuulira era batulagirira eri abo “abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwawo.” * (Bik. 13:48) Nga kikulu okwenyigira ennyo mu kubuulira tusobole okuzuula abo abaagala okusinza “Kitaffe mu mwoyo n’amazima”!—Yok. 4:23, 24.
19, 20. Bamalayika bakola ki mu “mafundikira g’enteekateeka y’ensi”?
19 Ng’ayogera ku kiseera kyaffe, Yesu yagamba nti mu “mafundikira g’enteekateeka y’ensi” eno bamalayika bandyawudde “abantu ababi okuva mu balungi.” (Mat. 13:37-43, 49) Bamalayika beenyigira mu kukuŋŋaanya n’okuteeka akabonero ku baafukibwako amafuta. (Soma Matayo 24:31; Kub. 7:1-3) Ate era, bamalayika bajja kuba wamu ne Yesu ng’azze ‘okwawula endiga okuva mu mbuzi.’—Mat. 25:31-33, 46.
20 “Mu kubikkulwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu ng’ali wamu ne bamalayika be ab’amaanyi,” abo bonna “abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera mawulire malungi agakwata ku Mukama waffe Yesu” bajja kuzikirizibwa. (2 Se. 1:6-10) Kino kyayolesebwa eri Yokaana n’alaba Yesu n’eggye lya bamalayika ery’omu ggulu nga beebagadde embalaasi enjeru basobole okulwana olutalo mu butuukirivu.—Kub. 19:11-14.
21. Kiki malayika “alina ekisumuluzo eky’obunnya n’olujegere mu mukono gwe” ky’ajja okukola Sitaani ne dayimooni ze?
21 Yokaana era yalaba “malayika ng’akka okuva mu ggulu ng’alina ekisumuluzo eky’obunnya n’olujegere olunene mu mukono gwe.” Ono si mulala wabula ye Mikayiri malayika omukulu, ajja okusiba Omulyolyomi era amusuule—ne dayimooni zonna—mu bunnya. Bajja kusumululwa okumala akaseera katono ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, abantu abatuukiridde bwe baliba boolekagane n’okugezesebwa okusembayo. Ekyo oluliggwa nga Sitaani n’abajeemu abalala bonna bazikirizibwa. (Kub. 20:1-3, 7-10; 1 Yo. 3:8) Okujeemera Katonda kwonna kuliba kumaliddwawo.
22. Bamalayika bagenda kukola ki mu bbanga eritali lya wala, era twanditunuulidde tutya omulimu gwabwe?
22 Okununulibwa okuva mu nteekateeka ya Sitaani eno embi kuli kumpi. Bamalayika bajja kwenyigira mu bintu ebyo byonna ebigenda okukolebwa okulaga nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna era bisobozese n’ekigendererwa kye eri ensi n’abantu okutuukirizibwa. Mazima ddala, bamalayika abeesigwa “myoyo egiweereza, egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.” N’olwekyo, ka tulage Yakuwa Katonda nti tusiima olw’engeri gy’akozesaamu bamalayika okutuyamba okukola by’ayagala n’okutuuka mu bulamu obutaggwawo.
[Obugambo obuli wansi]
^ Laba ekitabo Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom, olupapula 549-551.
Wandizzeemu Otya?
• Ebitonde eby’omwoyo eby’omu ggulu byategekebwa bitya?
• Bamalayika abamu baakola ki mu kiseera kya Nuuwa?
• Katonda akozesezza atya bamalayika okutuyamba?
• Bamalayika bakola mirimu ki mu kiseera kyaffe?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Bamalayika basanyufu okukola Katonda by’ayagala
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Nga bwe kyali ku Danyeri, bamalayika beetegefu okutuyamba nga Katonda bw’aba ayagala
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]
Beera muvumu kubanga bamalayika bayamba mu mulimu gw’okubuulira!
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Globe: NASA photo