Ffenna Twagala Okusiimibwa
Ffenna Twagala Okusiimibwa
AKAWALA akato olunaku lwakagendera bulungi. Wadde nga mu nnaku endala baakagololanga, ku olwo keeyisa bulungi. Kyokka, ekiro ekyo, maama waako bwe yamala okukazazika mu buliri, yagenda okuwulira nga kakaaba. Bwe yakabuuza ekyali kikakaabya, kaamubuuza: “Ssibadde muwala mulungi leero?”
Ekibuuzo ekyo kyaluma nnyo maama waako. Bulijjo yayanguwanga nnyo okugolola kawala ke. Naye wadde nga yali akalabye nga keeyisizza bulungi, teyafaayo kukasiima.
Si buwala buto bwokka bwe bwagala okusiimibwa. Ffenna tukwagala, era nga bwe twetaaga okubuulirirwa n’okugololwa.
Tuwulira tutya ng’omuntu atusiimye mu bwesimbu? Tekituwa essanyu mu mutima era ne kitukyamula? Kituleetera okuwulira nti waliwo atufaako. Kitukakasa nti kye tuba tukoze kiba kigwana, era ne kitukubiriza okunyiikira okuddamu okukola kye kimu mu biseera eby’omu maaso. Tekyewuunyisa nti omuntu bw’aba atera okutusiima mu bwesimbu, kituleetera okumwewa.—Engero 15:23.
Yesu Kristo yali amanyi obukulu bw’okusiima abalala. Mu lugero lwa ttalanta, mukama w’abaddu (akiikirira Yesu kennyini) yasiima abaddu ababiri abeesigwa n’agamba buli omu nti: “Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa.” Nga kiteekwa okuba nga kyabasanyusa nnyo! Wadde nga obusobozi bwabwe bwali tebwenkanankana, era nga ne bye baakola byali bya njawulo, bombi baasiimibwa kyenkanyi.—Matayo 25:19-23.
N’olwekyo, ka tujjukire maama w’akawala ako. Tetulina kulindanga balala kusooka kutonnyesa maziga tulyoke tubasiime. Mu kifo ky’ekyo, tunoonyenga engeri ze tuyinza okubasiimamu buli lwe kiba kyetaagisa. Mu butuufu, tulina ensonga ennungi okukola bwe tutyo.