Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Okusinziira ku biragiro bya Baibuli ebikwata ku nkozesa entuufu ey’omusaayi, Abajulirwa ba Yakuwa balina ndowooza ki ku nkola z’ekisawo ez’okukozesa omusaayi gw’omuntu gwennyini?
Mu kifo ky’okusalawo okusinziira ku muntu ky’ayagala oba ekyo ekisembebwa abasawo, buli Mukristaayo asaanidde okulowooza ennyo ku ekyo Baibuli ky’egamba. Eno nsonga ekwata ku ye ne Yakuwa.
Yakuwa, nnannyini bulamu bwaffe, yalagira nti omusaayi tegusaanidde kuliibwa. (Olubereberye 9:3, 4) Mu Mateeka ga Isiraeri ey’edda, Katonda yateeka ekkomo ku nkozesa y’omusaayi kubanga gukiikirira obulamu. Yalagira nti: “Obulamu bw’ennyama buba mu musaayi: era ngubawadde ku kyoto okutangiriranga obulamu bwammwe: kubanga omusaayi gwe gutangirira olw’obulamu.” Kiba kitya singa omuntu atta ensolo afune eky’okulya? Katonda yagamba: “Anaayiwanga omusaayi gwayo, n’agubikkako n’enfuufu.” * (Eby’Abaleevi 17:11, 13) Yakuwa yaddamu ekiragiro kino enfunda n’enfunda. (Ekyamateeka 12:16, 24; 15:23) Ekitabo ky’Ekiyudaaya ekiyitibwa Soncino Chumash kigamba: “Omusaayi teguteekwa kuterekebwa wabula okuyiibwa ku ttaka ne guba nga tegusobola kuliibwa.” Tewali Muisiraeri n’omu eyalina okutereka n’okukozesa omusaayi gw’ekitonde ekirala, Katonda kye yawa obulamu.
Obuvunaanyizibwa obw’okukwata Amateeka ga Musa bwakoma Masiya bwe yafa. Kyokka, endowooza Katonda gy’alina ku butukuvu bw’omusaayi ekyaliwo. Nga bakubirizibwa omwoyo gwa Katonda omutukuvu, abatume baalagira Abakristaayo ‘okwewala omusaayi.’ Ekiragiro ekyo kyali kya kutwalibwa ng’ekikulu. Kyali kikulu nnyo ng’okwewala obwenzi oba okusinza ebifaananyi. (Ebikolwa 15:28, 29; 21:25) Okugaba n’okuyingiza omusaayi mu balala bwe kwacaaka mu kyasa 20, Abajulirwa ba Yakuwa baakitegeera nti ekikolwa kino kyali kikontana n’Ekigambo kya Katonda. *
Emirundi egimu, omusawo ayinza okukubiriza omulwadde okutereka omusaayi gwe ng’ekyabulayo wiiki eziwera alongoosebwe ne kiba nti singa wajjawo obwetaavu, ayinza okuyingiza mu mulwadde omusaayi gwe gwennyini gwe yatereka. Kyokka, okutereka, n’okuyingiza mu mulala omusaayi mu ngeri eyo kikontana butereevu n’ekyo ekiri mu Eby’Abaleevi ne Ekyamateeka Olw’okubiri. Omusaayi tegulina kuterekebwa; gulina kuyiibwa—okuzzibwayo ewa Katonda. Kyo kituufu nti, Amateeka ga Musa tegakyakola kati. Kyokka, Abajulirwa ba Yakuwa bassa ekitiibwa mu misingi gya Katonda egirimu, era bamalirivu ‘okwewala omusaayi.’ N’olwekyo, tetugaba, wadde okutereka omusaayi gwaffe gwe tusaanidde ‘okuyiwa’ nga tulina ekigendererwa eky’okuguyingiza mu mubiri gwaffe. Ekikolwa ekyo kikontana n’amateeka ga Katonda.
Enkola endala oba okukeberebwa ebikwata ku musaayi gw’omuntu, tekimanyiddwa bulungi obanga bikontana n’emisingi gya Katonda. Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo bangi bakkirizza okubagyako omusaayi okugukebera, oluvannyuma ne guyiibwa. Enkola endala enzibu ezikwata ku musaayi gw’omuntu ziyinza okusembebwa abasawo.
Ng’ekyokulabirako, mu nkola ezimu ez’okulongoosa, omusaayi ogumu okuva mu mubiri
guyinza okuyisibwa awalala mu kyuma mu nkola eyitibwa hemodilution. Omusaayi ogusigala mu mulwadde gusaabululwa. Oluvannyuma, omusaayi oguyisiddwa awalala mu byuma gukomezebwawo mu mubiri gwe. Okufaananako ekyo, omusaayi oguva mu kiwundu bayinza okugusengejja, obutofaali obumyufu obugulimu ne buzzibwa mu mubiri gw’omulwadde; kino kiyitibwa okuwonyawo obutofaali obumyufu. Mu nkola ey’enjawulo, okumala akaseera katono, omusaayi guyinza okuyisibwa mu kyuma ekikola ng’ekitundu ekimu eky’omubiri (gamba nga omutima, amawuggwe, oba ensigo). Oluvannyuma omusaayi okuva mu kyuma guzzibwayo mu mulwadde. Mu nkola endala, omusaayi guyisibwa mu kyuma ekigwawulamu, ebitundu ebyonoonese ne bisobola okuggibwamu. Oba ekiruubirirwa kiyinza okubeera okuggya mu musaayi ebitundu ebimu ne bikozesebwa mu kifo ekirala mu mubiri. Era mu nkola ezimu, omusaayi guggibwa mu muntu ne gulambibwa oba ne guteekebwamu eddagala, oluvannyuma ne guzzibwa mu mulwadde.Kalonda akwata ku nkola ezo wa njawulo, era enkola empya, enzijjanjaba empya, n’engeri empya ez’okukebera mazima ddala bijja kuvumbulwa. Si buvunaanyizibwa bwaffe okwekenneenya buli kimu ne tusalawo. Omukristaayo asaanidde okusalawo ku lulwe engeri omusaayi gwe gye gunaakolebwako mu nkola ey’okulongoosa, mu kukebera okw’ekisawo, oba ku nzijjanjaba eriwo. Ng’obudde bukyali, asaanidde okubuuza omusawo engeri omusaayi ggwe gye gunaakozesebwamu mu nkola emu. Oluvannyuma ateekwa okusalawo okusinziira ku muntu we ow’omunda. (Laba akasanduuko.)
Abakristaayo balina okujjukira okwewaayo kwabwe eri Katonda n’obuvunaanyizibwa bwe balina ‘okumwagala n’omutima gwabwe gwonna, emmeeme yaabwe yonna, n’amaanyi gaabwe gonna n’ebirowoozo byabwe byonna.’ (Lukka 10:27) Obutafaanana bangi mu nsi, Abajulirwa ba Yakuwa batwala enkolagana yaabwe ennungi ne Katonda okuba ey’omuwendo ennyo. Agaba Obulamu akubiriza bonna okwesiga omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa. Tusoma tuti: “[Yesu Kristo] eyatuweesa okununulibwa kwaffe olw’omusaayi gwe, okusonyiyibwa ebyonoono byaffe, ng’obugagga obw’ekisa kye bwe buli.”—Abaefeso 1:7.
[Obugambo obuli wansi]
^ Profesa Frank H. Gorman awandiika bw’ati: “Okuyiwa omusaayi kikolwa eky’okuwa ekitiibwa ekiraga okussa ekitiibwa mu bulamu bw’ebisolo, era bwe kityo, okussa ekitiibwa mu Katonda, eyatonda obulamu era eyeeyongera okubulabirira.”
^ The Watchtower aka Jjulaayi 1, 1951 kaddamu ebibuuzo ebikulu ebikwata ku nsonga eno, nga kalaga lwaki okuyingiza omusaayi mu balala kyali tekisaanira.
[Akasanduuko akali ku lupapuala 30
EBIBUUZO EBY’OKWEBUUZA
Singa omusaayi gwange guyisibwa awalala ebweru w’omubiri gwange mu kyuma, omuntu wange ow’omunda anaanzikiriza okutunuulira omusaayi guno ng’ogukyali ekitundu kyange, bwe kityo ne kiba nga tekyetaagisa ‘kuguyiwa ku ttaka’?
Omuntu wange atendekeddwa Baibuli anaanumiriza singa mu nkola emu ey’okujjanjaba omusaayi gwange guggibwa mu mubiri gwange ne gukyusibwamu ate oluvannyuma ne guzzibwa mu mubiri gwange?