Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Mweyongere Okwagalana ng’Ab’Oluganda”!

“Mweyongere Okwagalana ng’Ab’Oluganda”!

“Mweyongere okwagalana ng’ab’oluganda.”​—BEB. 13:1.

ENNYIMBA: 72, 119

1, 2. Lwaki Pawulo yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya ebbaluwa?

OMWAKA gwali gwa 61 E.E. Ekibiina Ekikristaayo mu Isiraeri kyali mu mirembe. Wadde ng’omutume Pawulo yali musibe mu Rooma, yali asuubira okuteebwa ekiseera kyonna. Mukozi munne Timoseewo yali yaakateebwa, era baali bateekateeka okukyalira bakkiriza bannaabwe mu Buyudaaya. (Beb. 13:23) Naye mu myaka etaano gyokka, ekibuga Yerusaalemi ‘kyandyetooloddwa amagye,’ nga Yesu bwe yagamba. Abakristaayo mu Buyudaaya, naddala abo abaali babeera mu Yerusaalemi, baalina okubaako kye bakolawo mu bwangu. Yesu yali yabagamba okudduka okuva mu kibuga ekyo amangu ddala nga balabye ebyo bye yayogera nga bitandise okubaawo.​—Luk. 21:20-24.

2 Mu myaka 28 egyali gyakayitawo bukya Yesu ayogera obunnabbi obwo, Abakristaayo Abayudaaya abaali babeera mu Isiraeri baali boolekaganye n’okuyigganyizibwa okutali kumu naye ne basigala nga beesigwa. (Beb. 10:32-34) Kyokka Pawulo yali akimanyi nti Abakristaayo abo baali banaatera okwolekagana n’okugezesebwa okw’amaanyi ennyo kwe baali batafunangako. (Mat. 24:20, 21; Beb. 12:4) Yali ayagala okubayamba okwetegekera embeera yonna gye bandyolekaganye nayo. Baali beetaaga okuba abagumiikiriza ennyo era nga beetaaga n’okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, okukkiriza okusobola okuwonyaawo obulamu. (Soma Abebbulaniya 10:36-39.) N’olwekyo, Yakuwa yaluŋŋamya Pawulo okuwandiikira Abakristaayo abo ebbaluwa okusobola okubayamba. Ebbaluwa eyo emanyiddwa ng’ekitabo ky’Abebbulaniya.

3. Lwaki tusaanidde okussaayo omwoyo ku ebyo ebiri mu kitabo ky’Abebbulaniya?

3 Ffenna leero tusaanidde okussaayo omwoyo ku ebyo Pawulo bye yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya. Lwaki? Kubanga naffe tuli mu mbeera efaananako n’eyo Abakristaayo abo gye baalimu. Mu ‘biseera bino ebizibu,’ abantu ba Yakuwa boolekaganye n’okuyigganyizibwa n’okugezesebwa okutali kumu. (2 Tim. 3:1, 12) Bakiraze nti balina okukkiriza okw’amaanyi era nti beemalidde ku Yakuwa. Kyokka, bangi ku ffe tuli mu mirembe, era tetwolekagana na kuyigganyizibwa kwa maanyi nnyo. Wadde kiri kityo, okufaananako Abakristaayo abaaliwo mu kiseera kya Pawulo, tetusaanidde kukyerabira nti tunaatera okwolekagana n’okugezesebwa okukyasinzeeyo okuba okw’amaanyi!​—Soma Lukka 21:34-36.

4. Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2016 kye kiruwa, era lwaki kituukirawo?

4 Biki ebinaatuyamba okwetegekera okugezesebwa okw’amaanyi okunaatera okubaawo? Mu kitabo ky’Abebbulaniya, Pawulo ayogera ku bintu ebitali bimu ebisobola okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe. Ekimu ku bintu ebyo kyogerwako mu lunyiriri olusooka olw’essuula eya 13. Olunyiriri olwo lwe lulondeddwa okuba ekyawandiikibwa ky’omwaka 2016. Lugamba nti: “Mweyongere okwagalana ng’ab’oluganda.”​—Beb. 13:1.

Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2016: “Mweyongere okwagalana ng’ab’oluganda.”​—Abebbulaniya 13:1

KITEGEEZA KI OKWAGALANA NG’AB’OLUGANDA?

5. Kitegeeza ki okwagalana ng’ab’oluganda?

5 Kitegeeza ki okwagalana ng’ab’oluganda? Ekigambo ky’Oluyonaani phi·la·del·phiʹa Pawulo kye yakozesa kitegeeza ‘okwagala omuntu kw’aba nakwo eri muganda we.’ Okwagala okw’ekika kino kuba kwa maanyi ng’okwo okubaawo wakati w’abantu abalina enkolagana ey’oku lusegere ennyo, gamba ng’ab’eŋŋanda oba ab’emikwano abaagalana ennyo. (Yok. 11:36) Tetweyita bweyisi ba luganda, naye tuli ba luganda ddala. (Mat. 23:8) Bayibuli egamba nti: “Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka. Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka.” (Bar. 12:10) Bwe twoleka okwagala ng’okwo awamu n’okwagala okwesigamiziddwa ku misingi okuyitibwa a·gaʹpe, kituyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne bakkiriza bannaffe.

6. Baani Abakristaayo be batwala nga baganda baabwe?

6 Omwekenneenya omu yagamba nti ebigambo “‘okwagalana ng’ab’oluganda,’ tebitera kusangibwa mu bitabo birala okuggyako eby’Abakristaayo.” Abayudaaya oluusi baakozesanga ekigambo “ow’oluganda” ne ku bantu be bataalinako luganda, naye baakikozesanga ku Bayudaaya bannaabwe bokka, so si ku ba mawanga. Kyokka Abakristaayo bava mu mawanga ga njawulo. N’olwekyo Bakristaayo bannaffe bonna tubatwala nga baganda baffe, ka babe nga bava mu ggwanga ki. (Bar. 10:12) Yakuwa atuyigirizza okwagalana ennyo ng’ab’oluganda. (1 Bas. 4:9) Lwaki kikulu okweyongera okwagalana ng’ab’oluganda?

LWAKI TUSAANIDDE OKWEYONGERA OKWAGALANA NG’AB’OLUGANDA?

7. (a) Ensonga esinga obukulu lwaki tusaanidde okwagala bakkiriza bannaffe y’eruwa? (b) Ensonga endala lwaki tusaanidde okweyongera okwagala bakkiriza bannaffe y’eruwa?

7 Esonga esinga obukulu eri nti Yakuwa ayagala tulage bakkiriza bannaffe okwagala. Tetusobola kugamba nti twagala Katonda ate ne tuba nga tetwagala bakkiriza bannaffe. (1 Yok. 4:7, 20, 21) Ate era, buli omu ku ffe yeetaaga munne. Ekyo kikulu nnyo, naddala bwe tuba nga twolekaganye n’embeera enzibu. Pawulo yali akimanyi nti mu kiseera kitono, abamu ku Bakristaayo abo Abebbulaniya baali ba kulekawo amaka gaabwe n’ebintu byabwe. Yesu yali yakiraga nti ekiseera ekyo kyandibadde kizibu nnyo. (Mak. 13:14-18; Luk. 21:21-23) N’olwekyo, okusinga bwe kyali kibadde, Abakristaayo abo baali beetaaga okwagala ennyo baganda baabwe.​—Bar. 12:9.

8. Kiki kye tulina okukola ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika?

8 Mu kiseera ekitali kya wala, ekibonyoobonyo ekinene kijja kutandika. (Mak. 13:19; Kub. 7:1-3) Mu kiseera ekyo, kijja kutwetaagisa okukolera ku bigambo bino: “Jjangu, eggwanga lyange, oyingire mu bisenge byo, weggalire enzigi zo: weekweke akaseera katono, okutuusa okunyiiga lwe kuliggwaawo.” (Is. 26:20) “Ebisenge” ebyo biyinza okuba nga bikiikirira ebibiina byaffe. Mu bibiina ebyo mwe tukuŋŋaanira okusinza Yakuwa. Naye tekimala kukuŋŋaana bukuŋŋaanyi wamu obutayosa. Pawulo yakubiriza Abakristaayo Abebbulaniya nti bwe bakuŋŋaana awamu buli omu alina okukubiriza munne “okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi.” (Beb. 10:24, 25) Tulina okweyongera okwagalana ennyo ng’ab’oluganda, kubanga ekyo kijja kutuyamba nnyo nga twolekana n’ebiseera ebizibu ebijja.

9. (a) Kakisa ki ke tufuna okulaga bakkiriza bannaffe okwagala? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri abantu ba Yakuwa gye balazeemu bakkiriza bannaabwe okwagala.

9 Ne mu kiseera kino ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika, kitwetaagisa okwagala ennyo baganda baffe. Bangi ku bakkiriza bannaffe bakoseddwa nnyo musisi, amataba, omuyaga, sunami, n’obutyabaga obulala. Bakkiriza bannaffe abamu bayigganyizibwa. (Mat. 24:6-9) Ate abamu boolekagana n’obuzibu bw’eby’enfuna olw’okuba abantu bangi mu nteekateeka eno ey’ebintu si benkanya. (Kub. 6:5, 6) Ebizibu ebyo gye bikoma okweyongera, gye tukoma okufuna akakisa okulaga bakkiriza bannaffe okwagala. Wadde ‘ng’okwagala kw’abasinga obungi kuwoze,’ ffe tulina okweyongera okwagala bakkiriza bannaffe.​—Mat. 24:12. [1]

TUYINZA TUTYA OKWEYONGERA OKWAGALANA NG’AB’OLUGANDA?

10. Biki bye tugenda okulaba?

10 Wadde nga twolekagana n’ebizibu ebitali bimu, tuyinza tutya okweyongera okwagalana ng’ab’oluganda? Biki bye tuyinza okukola okulaga nti twagalana ng’ab’oluganda? Oluvannyuma lw’okugamba nti, “mweyongere okwagalana ng’ab’oluganda,” omutume Pawulo yayogera ku bintu ebitali bimu Abakristaayo bye basobola okukola okulaga bakkiriza bannaabwe okwagala. Ka tulabeyo mukaaga ku byo.

11, 12. Kitegeeza ki okusembeza abagenyi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 7.)

11 “Temwerabiranga kusembeza bagenyi.” (Soma Abebbulaniya 13:2.) Ebigambo ‘okusembeza abagenyi’ Pawulo bye yakozesa, obutereevu bitegeeza “okulaga ekisa abantu b’otomanyi.” Ebigambo ebyo bitujjukiza ekyo Ibulayimu ne Lutti kye baakola. Abasajja abo bombi baalaga ekisa abantu be baali batamanyi. Oluvannyuma baakitegeera nti abantu abo baali bamalayika. (Lub. 18:2-5; 19:1-3) Pawulo yakozesa ekyokulabirako kya Ibulayimu ne Lutti okukubiriza Abakristaayo Abebbulaniya okulaga bakkiriza bannaabwe okwagala nga booleka omwoyo ogw’okusembeza abagenyi.

12 Twoleka omwoyo ogw’okusembeza abagenyi nga tukyaza abalala mu maka gaffe okuliirako awamu nabo, okunyumyako nabo, oba okuzziŋŋanamu amaanyi? Ekyo okusobola okukikola, tekitwetaagisa kufumba bijjulo binene; era tetusaanidde kukyaza abo bokka be tulowooza nti nabo basobola okutukyaza oba okubaako kye batukolera. (Luk. 10:42; 14:12-14) Ekiruubirirwa kyaffe kyandibadde kya kuzziŋŋanamu maanyi, so si kuwuniikiriza balala! Wadde nga tuyinza okuba nga tetumanyi bulungi mulabirizi waffe ow’ekitundu oba mukyala we, tufuba okubasembeza? (3 Yok. 5-8) Wadde nga tulina eby’okukola bingi era nga twolekagana n’ebizibu ebitali bimu, ‘tetusaanidde kwerabira kusembeza bagenyi’!

13, 14. Tuyinza tutya ‘okujjukira abo abasibiddwa mu makomera’?

13 “Mujjukirenga abaasibibwa mu kkomera.” (Soma Abebbulaniya 13:3.) Pawulo yali tayogera ku bantu bonna abali mu makomera. Yali ayogera ku baweereza ba Yakuwa abaasibibwa olw’okukkiriza kwabwe. Pawulo w’awandiikira Abakristaayo Abebbulaniya ebigambo ebyo, yali amaze emyaka ng’ena ng’ali mu kkomera. (Baf. 1:12-14) Yeebaza nnyo bakkiriza banne ‘olw’okulumirirwa abo abali mu kkomera.’ (Beb. 10:34) Wadde nga waaliwo abo abaayamba Pawulo butereevu ng’ali mu kkomera, Abakristaayo Abebbulaniya baali wala nnyo okuva Pawulo we yali. Kati olwo baali basobola batya okumujjukira? Ekyo baali basobola okukikola nga bafuba okumusabira.​—Beb. 13:18, 19.

14 Leero, bakkiriza bannaffe abali mu makomera bayinza okuba nga bali wala okuva we tubeera. Tuyinza obutasobola kubawa butereevu buyambi ng’obwo ababali okumpi bwe basobola okubawa. Naye tusobola okulaga nti twagala bakkiriza bannaffe abo nga bulijjo tubajjukira mu ssaala zaffe, nga tusaba Yakuwa okubayamba. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba tusaba, tujjukira baganda baffe ne bannyinaffe, oluusi n’abaana abali mu makomera mu Eritrea, nga mu bano mwe muli Paulos Eyassu, Isaac Mogos, ne Negede Teklemariam, kati abamaze emyaka egisukka mu 20 nga basibiddwa?

15. Tuyinza tutya okussa ekitiibwa mu bufumbo bwaffe?

15 “Obufumbo bubeerenga bwa kitiibwa eri bonna.” (Soma Abebbulaniya 13:4.) Era tusobola okulaga bakkiriza bannaffe okwagala nga tufuba okuba abalongoofu. (1 Tim. 5:1, 2) Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda oba mwannyinaffe bwe yeegatta ne mukkiriza munne atali munne mu bufumbo, ekyo kikosa mukkiriza munne oyo awamu n’ab’omu maka ge. Ate era ekyo kireetera abalala mu kibiina okulekera awo okwesiga abo ababa beenyigidde mu kikolwa ekyo. (1 Bas. 4:3-8) Ate lowooza ku ngeri mwannyinaffe gy’ayinza okuwuliramu singa akizuula nti omwami we alaba ebifaananyi eby’obuseegu. Ddala omwami we bw’akola bw’atyo, aba alaga nti ayagala mukyala we era nti assa ekitiibwa mu nteekateeka y’obufumbo?​—Mat. 5:28.

16. Okuba abamativu kitusobozesa kitya okulaga bakkiriza bannaffe okwagala?

16 “Mubeerenga bamativu ne bye mulina.” (Soma Abebbulaniya 13:5.) Bwe twesiga Yakuwa kituyamba okuba abamativu. Bwe tuba abamativu kitusobozesa okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bintu. (1 Tim. 6:6-8) Kituyamba okukiraba nti enkolagana yaffe ne Yakuwa awamu ne bakkiriza bannaffe ya muwendo nnyo okusinga ssente oba eby’obugagga. Omuntu omumativu teyeemulugunya, tatolotooma, taba awo nga buli kaseera anoonyereza ensobi mu balala, era taba na buggya wadde omululu, ebintu ebisobola okutulemesa okulaga bakkiriza bannaffe okwagala. Bwe tuba abamativu, kituyamba okwoleka omwoyo omugabi.​—1 Tim. 6:17-19.

17. Bwe ‘tuba abagumu’ kituyamba kitya okulaga bakkiriza bannaffe okwagala?

17 “Tubeere bagumu.” (Soma Abebbulaniya 13:6.) Okwesiga Yakuwa kituyamba okugumira ekizibu kyonna kye tuyinza okwolekagana nakyo. Bwe tuba abagumu kituyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Bwe tuba n’endowooza ennuŋŋamu, tuba tusobola okulaga bakkiriza bannaffe okwagala nga tubabudaabuda era nga tubazzaamu amaanyi. (1 Bas. 5:14, 15) Ne mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene ekijja okuba ekizibu ennyo, tujja kusobola ‘okuyimirira busimba, era tujja kusobola okuyimusa emitwe gyaffe,’ nga tukimanyi nti okununulibwa kwaffe kunaatera okutuuka.​—Luk. 21:25-28.

Osiima abakadde olw’emirimu gye bakola? (Laba akatundu 18)

18. Tuyinza tutya okulaga okwagala eri abakadde mu kibiina?

18 “Mujjukirenga abo ababakulembera.” (Soma Abebbulaniya 13:7, 17.) Bwe tulowooza ku mirimu egitali gimu abakadde gye bakola ate nga tebasasulwa, kituleetera okweyongera okubaagala n’okubasiima olw’ebyo bye bakola. Tetwagala kukola kintu kyonna kiyinza kubamalako ssanyu oba okubaleetera okusinda. Bwe tuba abawulize gye bali era ne tubagondera, tuba tukiraga nti ‘tubaagala era nti tubassaamu nnyo ekitiibwa olw’omulimu gwe bakola.’​—1 Bas. 5:13.

MWEYONGERE OKUKIKOLA KU KIGERO EKISINGAWO

19, 20. Tuyinza tutya okweyongera okulaga bakkiriza bannaffe okwagala?

19 Tewali kubuusabuusa nti Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa ng’abantu abaagalana ennyo. Bwe kityo bwe kyali ne mu kiseera kya Pawulo. Wadde kyali kityo, Pawulo yakubiriza bakkiriza banne bonna okweyongera okwoleka okwagala ku kigero ekisingawo. (1 Bas. 4:9, 10) Ekyo kiraga nti ffenna tusobola okwongera ku kwagala kwe tulaga bakkiriza bannaffe!

20 Buli lwe tunaatunuuliranga ekyawandiikibwa ky’omwaka, tusaanidde okufumiitiriza ku bibuuzo bino: Nnyinza ntya okweyongera okwoleka omwoyo ogw’okusembeza abagenyi? Nnyinza ntya okujjukira bakkiriza bannange abali mu kkomera? Nkiraga nti nzisa ekitiibwa mu nteekateeka y’obufumbo? Kiki ekiyinza okunnyamba okuba omumativu? Nnyinza ntya okweyongera okukiraga nti nneesiga Yakuwa? Nnyinza ntya okwongera okugondera abo abatwala obukulembeze mu kibiina? Bwe tufuba okulongoosa mu bintu ebyo omukaaga, olwo nno ekyawandiikibwa ky’omwaka tekijja kuba kipande bupande ekitimbiddwa ku kisenge mu kizimbe mwe tukuŋŋaanira. Kijja kutujjukizanga okukolera ku bigambo bino: “Mweyongere okwagalana ng’ab’oluganda.”​—Beb. 13:1.

^ [1] (akatundu 9) Okusobola okulaba engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye booleseemu okwagala nga waguddewo obutyabaga, laba Watchtower eya Jjulaayi 15, 2002, lup. 8-9, n’ekitabo Jehovah’s Witnesses​Proclaimers of God’s Kingdom, sul. 19.