Olina Endowooza ng’Eya Yakuwa ku Bwenkanya?
“Nja kulangirira erinnya lya Yakuwa . . . , Katonda omwesigwa ataliimu butali bwenkanya.”
ENNYIMBA: 110, 2
1, 2. (a) Nabbosi ne batabani be baayisibwa batya mu ngeri etali ya bwenkanya? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino ebinaatuyamba okuba n’endowooza ya Yakuwa ku bwenkanya?
LOWOOZA ku mbeera eno. Omusajja omu bamusibako omusango ogwa nnaggomola. Omusajja oyo asingisibwa omusango ogwo oluvannyuma lw’abasajja abatalina mugaso okumuwaako obujulizi obw’obulimba, era ekyo kyewuunyisa nnyo ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye. Lowooza ku ngeri abo abaagala obwenkanya gye bawuliramu nga balaba omusajja oyo atalina musango awamu ne batabani be nga battibwa. Ekyo kyennyini kye kyatuuka ku Nabbosi, omuweereza wa Yakuwa omwesigwa eyaliwo mu kiseera kya kabaka wa Isirayiri ayitibwa Akabu.
2 Mu kitundu kino, tugenda kulaba ekyokulabirako kya Nabbosi n’eky’omukadde omu mu kibiina Ekikristaayo eyaliwo mu kyasa ekyasooka eyasalawo mu ngeri etaali nnungi. Okwetegereza ebyokulabirako ebyo kijja kutuyamba okulaba nti okusobola okuba n’endowooza ya Yakuwa ku bwenkanya, tulina okuba abeetoowaze. Era tujja kulaba nti bwe tuba ab’okwoleka
endowooza ng’eya Yakuwa ku bwenkanya, tulina okuba abeetegefu okusonyiwa abalala.EKIKOLWA EKITAALI KYA BWENKANYA
3, 4. Nabbosi yali muntu wa ngeri ki, era lwaki yagaana okuguza Kabaka Akabu ennimiro ye ey’emizabbibu?
3 Nabbosi yali muweereza wa Yakuwa omwesigwa eyaliwo mu kiseera ng’Abayisirayiri abasinga obungi bagoberera ekyokulabirako ekibi ekya Kabaka Akabu ne mukyala we Yezebeeri eyali omubi. Akabu ne Yezebeeri baali basinza Bbaali era nga tebassa kitiibwa mu Yakuwa n’emitindo gye egy’obutuukirivu. Naye ye Nabbosi yali atwala enkolagana ye ne Yakuwa nga ya muwendo nnyo, era yali mwetegefu n’okufiirwa obulamu bwe okusobola okugikuuma.
4 Soma 1 Bassekabaka 21:1-3. Akabu bwe yagamba Nabbosi okumuguza ennimiro ye ey’emizabbibu oba okumuwaamu endala egisinga obulungi, Nabbosi yagaana okukikola. Lwaki? Nabbosi yagamba nti: “Kikafuuwe nze okukuwa obusika bwa bajjajjange, kubanga ekyo Yakuwa yakigaana.” Nabbosi yagaana okuguza Akabu ennimiro eyo kubanga mu mateeka Yakuwa ge yawa Abayisirayiri yali yabalagira obutatundanga busika bwabwe lubeerera. (Leev. 25:23; Kubal. 36:7) Mu butuufu, Nabbosi yali agondera Yakuwa.
5. Kiki Yezebeeri kye yakola okusobola okutta Nabbosi?
5 Nabbosi bwe yagaana okuguza Akabu ennimiro ye, Akabu ne mukyala we Yezebeeri baakola olukwe okuggyeddiza. Yezebeeri yafunayo abajulizi ab’obulimba ne balumiriza Nabbosi omusango gw’atazza, era ekyo ne kiviirako Nabbosi ne batabani be okuttibwa. Kiki Yakuwa kye yakolawo?
KATONDA ALAMULA MU BWENKANYA
6, 7. Yakuwa yakiraga atya nti ayagala obwenkanya, era ekyo kyakwata kitya ku b’eŋŋanda za Nabbosi ne mikwano gye?
6 Amangu ddala Yakuwa yatuma Eriya eri Akabu. Eriya yagamba Akabu nti yali mutemu era nti yali mubbi. Yakuwa yasala atya omusango ogwo? Yagamba nti Akabu, mukyala we, awamu ne batabani be baali bagenda kutuukibwako ekintu kye kimu ekyatuuka ku Nabbosi ne batabani be.
7 Wadde ng’ab’eŋŋanda za Nabbosi ne mikwano gye baalumwa nnyo nga Akabu asse Nabbosi, bateekwa okuba nga baabudaabudibwa nnyo okukimanya nti Yakuwa yali alabye ekikolwa ekyo ekitaali kya bwenkanya era ng’alina ky’akozeewo. Naye ebyaddirira biyinza okuba nga byagezesa nnyo okukkiriza kwabwe n’obwetoowaze bwabwe.
8. Kiki Akabu kye yakola ng’awulidde omusango Yakuwa gwe yali amusalidde, era biki ebyavaamu?
8 Akabu bwe yategeezebwa omusango Yakuwa gwe yali asaze, ‘yayuza ebyambalo bye, n’ayambala ebibukutu, n’asiiba, n’agalamira ng’ayambadde ebibukutu, era n’atambula nga munyiikaavu.’ Akabu yeetoowaza! Biki ebyavaamu? Yakuwa yaddamu n’atuma Eriya eri Akabu okubaako obubaka obulala bw’amutegeeza. Eriya yagamba Akabu nti olw’okuba yali yeetoowazza, akabi Yakuwa ke yali agambye okumuleetako yali tagenda kukaleeta mu kiseera kye. (1 Bassek. 21:27-29) Yakuwa, oyo “akebera emitima,” yalaga Akabu ekisa.
OBWETOOWAZE BUTUYAMBA
9. Lwaki kyali kikulu nnyo eri ab’eŋŋanda za Nabbosi ne mikwano gye okuba abeetoowaze?
9 Ab’eŋŋanda za Nabbosi ne mikwano gye bwe baawulira nti Yakuwa yali tagenda kuleeta kabi ku nnyumba ya Akabu Ekyamateeka 32:3, 4.) Yakuwa ajja kulaga Nabbosi ne batabani be obwenkanya obwa nnamaddala bw’anaabazuukiza mu kiseera eky’omu maaso. (Yob. 14:14, 15; Yok. 5:28, 29) Omuntu omwetoowaze aba akijjukira nti “Katonda ow’amazima alisalira abantu omusango okusinziira ku ebyo bye bakola, nga mw’otwalidde na buli ekikolebwa mu nkiso, ka kibe kirungi oba kibi.” (Mub. 12:14) Yakuwa bw’aba alamula, alowooza ku bintu bingi ffe bye tutamanyi. N’olwekyo, bwe tuba abeetoowaze kituyamba okwesiga Yakuwa.
okutuusa nga Akabu amaze okufa, kiteekwa okuba nga kyagezesa nnyo okukkiriza kwabwe. Naye obwetoowaze bwandibayambye okusigala nga beesigwa eri Yakuwa nga bakimanyi nti Yakuwa tasobola kukola bintu bitali bya bwenkanya. (Soma10, 11. (a) Mbeera ki eziyinza okugezesa okukkiriza kwaffe? (b) Obwetoowaze butuyamba butya?
10 Wandikoze ki singa abakadde basalawo mu ngeri gy’ototegeera oba gy’otokkiriziganya nayo? Ng’ekyokulabirako, wandikoze ki singa ggwe oba omuntu gw’oyagala aggibwako enkizo mu kibiina? Oba wandikoze ki singa munno mu bufumbo, omwana wo, oba mukwano gwo agobebwa mu kibiina, naye ng’ate ekyo ggwe tokkiriziganya nakyo? Oba wandikoze ki singa wabaawo omwonoonyi atakangavvuddwa mu ngeri gy’obadde osuubira? Embeera ng’ezo zisobola okugezesa ennyo obwesige bwe tulina mu Yakuwa n’ekibiina kye. Obwetoowaze
buyinza butya okukuyamba mu mbeera ng’ezo? Ka tulabe engeri bbiri gye buyinza okukuyambamu.11 Esooka, obwetoowaze butuyamba okukijjukira nti tetumanyi byonna bizingirwamu. Ate era ka tube nga tulina bingi bye tumanyi ku mbeera eba eriwo, tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa yekka y’asobola okumanya ebiri mu mutima gw’omuntu. (1 Sam. 16:7) Ekyo kijja kutuleetera okuba abeetoowaze, okumanya obusobozi bwaffe we bukoma, n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku mbeera eba eriwo. Ey’okubiri, obwetoowaze bujja kutuyamba okusigala nga tuli bawulize era bujja kutuyamba okulindirira Yakuwa okutuusa lw’anaatereza ensonga. Bayibuli egamba nti: “Abo abatya Katonda ow’amazima binaabagenderanga bulungi . . . , naye omubi tebijja kumugendera bulungi era tajja kwongera ku nnaku ze.” (Mub. 8:12, 13) Bwe tuba abeetoowaze, kituganyula era kiganyula n’abalala.
YAYOLEKA OBUNNANFUUSI
12. Kiki kye tugenda okwetegereza, era lwaki?
12 Abakristaayo ab’omu Antiyokiya ekya Busuuli baayolekagana n’embeera eyali esobola okukifuula ekizibu gye bali okwoleka obwetoowaze n’okusonyiwa. Ka twetegereze embeera eyo, kituyambe okulaba obanga tulina endowooza ennuŋŋamu ku kusonyiwa abalala era kituyambe n’okulaba akakwate akaliwo wakati w’okusonyiwa abalala n’endowooza Yakuwa gy’alina ku bwenkanya.
13, 14. Nkizo ki omutume Peetero ze yafuna, era yayoleka atya obuvumu?
13 Omutume Peetero yali aweereza ng’omukadde mu kibiina Ekikristaayo era ng’amanyiddwa nnyo. Yabeerako nnyo ne Yesu era yakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. (Mat. 16:19) Ng’ekyokulabirako, mu mwaka gwa 36 E.E., Peetero yafuna enkizo ey’okubuulira Koluneeriyo n’ab’omu nnyumba ye amawulire amalungi. Ekintu ekyo kyali kya njawulo kubanga Koluneeriyo yali Munnaggwanga atali mukomole. Koluneeriyo n’ab’omu nju ye bwe baafuna omwoyo omutukuvu, Peetero yagamba nti: “Waliwo ayinza okugaana abantu bano okubatizibwa n’amazzi nga bamaze okufuna omwoyo omutukuvu nga ffe?”
14 Mu mwaka gwa 49 E.E., abatume n’abakadde mu Yerusaalemi baakuŋŋaana wamu okusalawo obanga Ab’amawanga abaali bafuuse Abakristaayo baalina okukomolebwa. Ku lukuŋŋaana olwo, Peetero yayogera n’obuvumu n’ategeeza ab’oluganda abo nti yali yeerabiddeko n’agage nga Yakuwa awa Ab’amawanga omwoyo omutukuvu. Ebyo Peetero bye yayogera byayamba akakiiko akafuzi akaaliwo mu kyasa ekyasooka okusalawo obulungi ku nsonga eyo. (Bik. 15:6-11, 13, 14, 28, 29) Abakristaayo Abayudaaya n’Ab’amawanga bateekwa okuba nga baasiima nnyo Peetero olw’okuwa obukakafu obwo. Mu butuufu, bateekwa okuba nga baali beesiga nnyo Peetero, omusajja eyali omukulu mu by’omwoyo!
15. Nsobi ki Peetero gye yakola ng’ali mu Antiyokiya ekya Busuuli? (Laba ekifaananyi ku lupapula 23.)
15 Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwaliwo mu 49 E.E., Peetero yagenda okukyalako mu Antiyokiya ekya Busuuli. Ng’ali eyo, yabeera wamu n’ab’oluganda Ab’amawanga era ng’akolagana bulungi nabo. Ab’oluganda abo bateekwa okuba nga baaganyulwa nnyo ku bumanyirivu Peetero bwe yalina. Nga kiteekwa okuba nga kyabeewuunyisa nnyo Peetero bwe yasalawo okulekera awo okuliira awamu nabo. Abakristaayo abalala Abayudaaya, nga mw’otwalidde ne Balunabba,
baatwalirizibwa enneeyisa ya Peetero eyo. Kiki ekyaleetera Peetero, eyali amaze ebbanga ng’aweereza ng’omukadde mu kibiina, okusalawo mu ngeri eyo eyali enkyamu, era eyali eyinza okuleetawo enjawukana mu kibiina? Kiki kye tuyinza okuyigira ku nsobi Peetero gye yakola ekinaatuyamba nga waliwo omukadde ayogedde oba akoze ekintu ekitunyiiza?16. Peetero yatereezebwa atya, era bibuuzo ki ebijjawo?
16 Soma Abaggalatiya 2:11-14. Peetero yagwa mu katego ak’okutya abantu. (Nge. 29:25) Wadde nga yali amanyi engeri Yakuwa gy’atwalamu Ab’amawanga, Peetero yatya ekyo Abayudaaya abakomole abaava mu Yerusaalemi kye bandimulowoozezzaako. Omutume Pawulo, naye eyali mu lukuŋŋaana olwaliwo mu 49 E.E., yanenya Peetero nga bali mu Antiyokiya n’ayanika obunnanfuusi bwe. (Bik. 15:12; Bag. 2:13) Kiki Abakristaayo Ab’amawanga Peetero be yali yeeyisirizzaako obubi kye bandikoze? Bandyesitadde? Peetero yandiggiddwako enkizo ze olw’ensobi eyo gye yakola?
SONYIWANGA
17. Okuba nti Yakuwa asonyiwa kyaganyula kitya Peetero?
17 Kya lwatu nti Peetero yakkiriza okuwabulwa okwamuweebwa. Ebyawandiikibwa tebirina we biragira nti yaggibwako enkizo ze. Mu butuufu, oluvannyuma Yakuwa yamukozesa okuwandiika amabaluwa abiri agali mu Bayibuli. Mu bbaluwa ey’okubiri Peetero gye yawandiika, yayogera ku Pawulo n’amuyita ‘muganda waffe omwagalwa.’ (2 Peet. 3:15) Wadde ng’ekyo Peetero kye yakola kyaluma Abakristaayo Ab’amawanga, Yesu, omutwe gw’ekibiina, yeeyongera okumukozesa. (Bef. 1:22) Abakristaayo abo baali bafunye akakisa okukoppa Yakuwa ne Yesu basonyiwe Peetero. Bwe kiba nti Abakristaayo abo baasonyiwa Peetero ne batakkiriza nsobi ye kubeesittaza, baaganyulwa nnyo.
18. Mbeera ki mw’oyinza okulagira nti olina endowooza ng’eya Yakuwa ku bwenkanya?
18 Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ne leero abakadde mu kibiina tebatuukiridde kubanga “emirundi mingi ffenna tusobya.” (Yak. 3:2) Kyangu okukkiriza ebigambo ebyo; naye watya singa ensobi ow’oluganda aba agikoze ffe? Tunaayoleka endowooza Yakuwa gy’alina ku bwenkanya? Ng’ekyokulabirako, oneeyisa otya singa omukadde ayogera ebigambo ebiraga nti alimu obusosoze? Singa omukadde ayogera ebigambo ebikulumya, ekyo onookikkiriza okukwesittaza? Mu kifo ky’okutandika okulowooza nti ow’oluganda oyo takyasaana kubeera mukadde, onoolindirira Yesu omutwe gw’ekibiina? Mu kifo ky’okussa essira ku nsobi y’ow’oluganda oyo, onoofuba okutunuulira ebirungi by’akoze mu myaka gy’amaze ng’aweereza Yakuwa? Watya singa ow’oluganda eyakunyiiza yeeyongera okuweereza ng’omukadde, oboolyawo ne bamwongera n’enkizo endala, onoosanyukira wamu naye? Bw’oba omwetegefu okusonyiwa ow’oluganda oyo, kijja kulaga nti olina endowooza ya Yakuwa ku bwenkanya.
19. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?
19 Abo bonna abaagala obwenkanya beesunga ekiseera Yakuwa lw’anaamalawo obutali bwenkanya bwonna obuleeteddwa Sitaani n’ensi ye. (Is. 65:17) Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka ffenna tweyongere okwoleka endowooza Yakuwa gy’alina ku bwenkanya, nga bulijjo tukijjukira nti oluusi tuba tetumanyi byonna bizingirwamu, era nga tuba beetegefu okusonyiwa abalala.