Osalawo Otya?
“Mutegeerenga Yakuwa ky’ayagala.”—BEF. 5:17.
ENNYIMBA: 69, 57
1. Ebimu ku biragiro ebiri mu Bayibuli bye biruwa, era okugondera ebiragiro ebyo kituganyula kitya?
MU KIGAMBO kye, Bayibuli, Yakuwa atuwadde ebiragiro ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, atulagira okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu, okusinza ebifaananyi, okubba, n’okutamiira. (1 Kol. 6:9, 10) Ate era n’Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, yalagira abagoberezi be nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, n’ery’Omwana, n’ery’omwoyo omutukuvu, nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira. Era laba! Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” (Mat. 28:19, 20) Awatali kubuusabuusa, ebiragiro bya Katonda bya bukuumi nnyo gye tuli! Okubigondera kituleetedde okussibwamu ekitiibwa, era kituyambye okwewala endwadde n’okufuna essanyu mu maka. N’ekisinga obukulu, okukolera ku biragiro bya Katonda, nga mw’otwalidde n’ekyo ekikwata ku kubuulira, kituviiriddeko okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.
2, 3. (a) Lwaki ebintu ebimu Bayibuli tebiwaako mateeka butereevu? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino? (Laba ekifaananyi waggulu.)
2 Kyokka waliwo ebintu bingi Bayibuli by’etewaako mateeka butereevu. Ng’ekyokulabirako, Ebyawandiikibwa tebitubuulira
kalonda yenna akwata ku ngoye Abakristaayo ze basaanidde okwambala. Ekyo kyoleka kitya amagezi ga Yakuwa? Emisono gy’engoye n’obuwangwa bw’abantu byawukana mu bitundu by’ensi ebitali bimu era bikyuka buli luvannyuma lwa kiseera. Singa Bayibuli yalimu olukalala lw’emisono gy’engoye abantu ze balina okwambala oba amateeka agakwata ku kwekolako, yandibadde yava dda ku mulembe. Ekyo kituyamba n’okulaba ensonga lwaki Ekigambo kya Katonda tekiriimu lukalala lw’amateeka gakwata ku mirimu Abakristaayo gye balina okukola, ku bujjanjabi bwe balina okufuna, n’engeri gye balina okwesanyusaamu. Abantu kinnoomu n’emitwe gy’amaka basaanidde okwesalirawo ku nsonga ezo.3 Ekyo kitegeeza nti Yakuwa tafaayo ku ekyo kye tusalawo, ne bwe kiba nti kirina kinene kye kijja okukola ku bulamu bwaffe? Kitaffe ow’omu ggulu asanyukira buli kye tusalawo kasita kiba nga tekirina tteeka lya mu Bayibuli lye kimenye? Bwe twesanga nga tulina okusalawo ku bintu Bayibuli by’etewaako mateeka butereevu, tuyinza tutya okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa?
LWAKI TULINA OKWEGENDEREZA BYE TUSALAWO?
4, 5. Biki ebiyinza okuva mu bye tusalawo, era bye tusalawo biyinza bitya okukwata ku balala?
4 Abantu abamu tebeefiirayo ku ebyo bye basalawo. Naye bwe tuba ab’okusalawo mu ngeri esanyusa Katonda, tulina okusooka okulowooza ku mateeka n’emisingi egiri mu Bayibuli era ne tugikolerako. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba ab’okusiimibwa mu maaso ga Katonda tulina okugondera etteeka lye yawa erikwata ku kwewala omusaayi. (Lub. 9:4; Bik. 15:28, 29) Okusaba kusobola okutuyamba okusalawo mu ngeri etuukana n’amateeka era n’emisingi egiri mu Bayibuli.
5 Ebintu ebikulu bye tusalawo birina kinene kye bikola ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Bwe tusalawo obulungi kinyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, ate bwe tusalawo obubi kyonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ate era bwe tusalawo obubi kiyinza okukosa abalala mu by’omwoyo, okubeesittaza, oba okumalawo obumu mu kibiina. N’olwekyo, tulina okwegendereza bye tusalawo.—Soma Abaruumi 14:19; Abaggalatiya 6:7.
6. Tuyinza tutya okusalawo mu ngeri ey’amagezi?
6 Ate watya singa twetaaga okusalawo ku bintu Bayibuli by’eteyogerako butereevu? Mu mbeera ng’eyo, tulina okwewala okusalawo nga tusinziira ku ebyo ffe bye twagala. Mu kifo ky’ekyo, tulina okusooka kulowooza ku ebyo ebizingirwamu era ne tusalawo nga tusinziira ku ebyo Yakuwa by’ayagala.—Soma Zabbuli 37:5.
TEGEERA YAKUWA KY’AYAGALA
7. Bwe kiba nti ekintu tekyogerwako butereevu mu Bayibuli, tuyinza tutya okutegeera ekyo Yakuwa ky’ayagala?
7 Mu Abeefeso 5:17, Bayibuli egamba nti: “Mutegeerenga Yakuwa ky’ayagala.” Oyinza okwebuuza, ‘Bwe kiba nti ekintu tekyogerwako butereevu mu Bayibuli, nnyinza ntya okutegeera ekyo Yakuwa ky’ayagala?’ Tusobola okutegeera ekyo Yakuwa ky’ayagala nga tumusaba era nga tukkiriza obulagirizi bw’atuwa ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu.
8. Kiki ekyayamba Yesu okutegeera ekyo Katonda ky’ayagala? Waayo ekyokulabirako.
8 Yesu yafubanga okutegeera ekyo Kitaawe ky’ayagala. Enfunda bbiri, Bayibuli eraga nti Yesu yasooka n’asaba oluvannyuma n’aliisa abantu emmere mu ngeri ey’ekyamagero. (Mat. 14:17-20; 15:34-37) Naye ate Yesu bwe yali mu ddungu ng’enjala emuluma, Omulyolyomi n’amukema, yagaana okufuula amayinja emmere. (Soma Matayo 4:2-4.) Olw’okuba yali amanyi endowooza ya Yakuwa, Yesu yakiraba nti tekyali kituufu okufuula amayinja emmere. Yesu yakiraba nti okugezaako okwefunira ebibye ng’akozesa amaanyi Katonda ge yamuwa, kyali tekituukagana na Katonda by’ayagala. Bwe yagaana okufuula amayinja emmere, Yesu yakiraga nti yali yeesiga Yakuwa okumuwa obulagirizi n’okukola ku byetaago bye eby’omubiri.
9, 10. Kiki ekinaatuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi? Waayo ekyokulabirako.
9 Bwe tuba ab’okusalawo mu ngeri ey’amagezi nga Yesu bwe yakola, tulina okwesiga Yakuwa okutuwa obulagirizi. Tusaanidde okukolera ku bigambo bino: “Weesigenga Yakuwa n’omutima gwo gwonna, era teweesigamanga ku kutegeera kwo. Mulowoozengako mu byonna by’okola, anaatereezanga amakubo go. Teweetwalanga kuba wa magezi. Tya Yakuwa oleke ebibi.” (Nge. 3:5-7) Bwe tusoma Bayibuli, tumanya endowooza ya Yakuwa era ekyo kituyamba okumanya kye tusaanidde okukola nga twolekaganye n’embeera ezitali zimu. Gye tukoma okumanya endowooza ya Yakuwa, gye kikoma okutwanguyira okukolera ku bulagirizi bw’atuwa.—Ezk. 11:19, obugambo obuli wansi.
10 Ng’ekyokulabirako: Kuba akafaananyi ng’omukyala agenze mu katale. Ng’ali eyo, alaba engatto ezimusanyusa, naye nga baziseera nnyo. Yeebuuza, ‘Omwami wange anaawulira atya singa nsasaanya ssente zino zonna ku ngatto zino?’ Eky’okuddamu aba akimanyi, wadde nga tali na mwami we. Lwaki amanyi eky’okuddamu? Kubanga emyaka bwe gizze giyitawo, agenze ategeera endowooza omwami we gy’alina ku kusaasaanya ssente ennyingi ekiteetaagisa. Bwe kityo, asobola okumanya endowooza omwami we gy’alina ku kugula engatto ezo ku ssente ezo. Mu ngeri y’emu, bwe tugenda tutegeera endowooza ya Yakuwa n’amakubo ge, tweyongera okumanya ekyo Kitaffe ow’omu ggulu ky’ayagala tukole mu mbeera ezitali zimu.
OYINZA OTYA OKUMANYA ENDOWOOZA YA YAKUWA?
11. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza nga tusoma Bayibuli oba nga twesomesa? (Laba akasanduuko “ Ng’Osoma Ekigambo kya Katonda, Weebuuze.”)
11 Okusobola okumanya endowooza ya Yakuwa, tulina okufuba okwesomesa. Bwe tuba tusoma Bayibuli oba nga twesomesa, tusaanidde okwebuuza, ‘Bino bye nsoma binjigiriza ki ku Yakuwa, ku makubo ge, ne ku ndowooza ye?’ Tusaanidde okuba n’endowooza ng’ey’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Mmanyisa amakubo go, Ai Yakuwa; njigiriza empenda zo. Nsobozesa okutambulira mu mazima go era njigiriza, kubanga ggwe Katonda ow’obulokozi bwange. Essuubi lyange liba mu ggwe okuzibya obudde.” (Zab. 25:4, 5) Nga tufumiitiriza ku ebyo bye tuba tusomye mu Bayibuli, tuyinza okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Nnyinza ntya okukolera ku bintu bino mu maka gange? Mbeera ki mwe kiyinza okunneetaagisa okubikolerako? Nga ndi waka, nga ndi ku mulimu, nga ndi ku ssomero, oba nga mbuulira?’ Oluvannyuma lw’okumanya embeera mwe kiyinza okukwetaagisa okukolera ku bintu by’oba osomye, kiba kyangu okulaba engeri gy’oyinza okubikolerako.
12. Ebitabo byaffe awamu n’enkuŋŋaana zaffe, biyinza bitya okutuyamba okweyongera okutegeera endowooza ya Yakuwa ku bintu ebitali bimu?
12 Ekintu ekirala ekisobola okutuyamba okumanya endowooza ya Yakuwa kwe kussaayo omwoyo ku bulagirizi bw’atuwa okuyitira mu kibiina kye. Ng’ekyokulabirako, Watch Tower Publications Index awamu n’Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza byategekebwa okutuyamba okumanya endowooza ya Yakuwa ku bintu ebitali bimu bye tulina okusalawo kinnoomu. Ate
era kituganyula nnyo bwe tussaayo omwoyo nga tuli mu nkuŋŋaana era ne tuzeenyigiramu. Okufumiitiriza ku ebyo bye tuyiga kisobola okutuyamba okwongera okumanya endowooza ya Yakuwa n’okutuukanya endowooza yaffe n’eyiye. Bwe tukozesa mu bujjuvu ebintu Yakuwa by’atuteereddewo okutuliisa mu by’omwoyo, kijja kutuyamba okweyongera okutegeera amakubo ge. N’ekinaavaamu, tujja kusobola okusalawo mu ngeri esanyusa Katonda.SALAWO MU NGERI ETUUKANA N’ENDOWOOZA YA YAKUWA
13. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri okumanya endowooza ya Yakuwa gye kiyinza okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.
13 Lowooza ku kyokulabirako kino ekiraga engeri okumanya endowooza ya Yakuwa gye kisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Watya singa obadde oyagala okutandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo? Okiraba nti okusobola okuweereza nga payoniya, olina okubaako ebintu bye weggyako. Mu kiseera kye kimu, oyinza okutandika okwebuuza obanga onoosobola okusigala ng’oli musanyufu nga weggyeeko ebintu ebimu. Kyo kituufu nti tewali tteeka lyonna mu Bayibuli litulagira kuweereza nga bapayoniya. Naye Yesu yatukakasa nti abo abeefiiriza ku lw’Obwakabaka bajja kufuna emikisa mingi. (Soma Lukka 18:29, 30.) Ate era Ebyawandiikibwa biraga nti Yakuwa asanyuka nnyo bwe tuwaayo kyeyagalire ebiweebwayo gy’ali, era bw’akiraba nti ebyo bye tukola okuwagira okusinza okw’amazima tubikola n’essanyu. (Zab. 119:108; 2 Kol. 9:7) Bw’ofumiitiriza ku byawandiikibwa ebyo era n’osaba Yakuwa, olowooza tekisobola kukuyamba okumanya endowooza ya Yakuwa? Okufumiitiriza ku byawandiikibwa ebyo kisobola okukuyamba okusalawo mu ngeri ennungi era ejja okukuviiramu okufuna emikisa gya Yakuwa.
14. Oyinza otya okumanya obanga olugoye lw’oyagala okwambala lunaasanyusa Yakuwa?
14 Lowooza ku kyokulabirako ekirala: Watya singa waliwo olugoye lw’owulira ng’oyagala naye ate nga luyinza okubaako be lwesittaza mu kibiina. Okugatta ku ekyo, oyinza okuba nga tolina tteeka lyonna ly’omanyi mu Bayibuli erigaana omuntu okwambala olugoye ng’olwo. Yakuwa alina ndowooza ki ku ekyo? Omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Obulungi bw’abakazi bulemenga kubeera mu misono gya nviiri oba okwambala zzaabu oba luulu oba engoye ez’ebbeeyi, wabula bubeerenga mu kwambala ebyambalo ebisaana, ebiweesa ekitiibwa, era ebiraga nti beegendereza. Beekolengako mu ngeri esaanira abakazi abagamba nti bawa Katonda ekitiibwa. Bakolenga 1 Tim. 2:9, 10) Kya lwatu nti okubuulirira okwo kukwata ne ku basajja Abakristaayo. Abaweereza ba Yakuwa tebafaayo ku ebyo byokka bo bye baagala, naye balowooza ne ku ngeri ennyambala yaabwe n’engeri gye beekolako gy’ekwata ku balala. Okubeera abeegendereza n’okwagala kwe tulina eri abalala kituyamba okulowooza ku ngeri ebyo bye tukola gye biyinza okukwata ku bakkiriza bannaffe, bwe tutyo ne twewala okubeesittaza. (1 Kol. 10:23, 24; Baf. 3:17) Ate era okufumiitiriza ku Byawandiikibwa ebitali bimu, kisobola okutuyamba okumanya endowooza ya Yakuwa ku nsonga eno, ne tusobola okusalawo mu ngeri emusanyusa.
ebikolwa ebirungi, era ng’obwo bwe bulungi bwabwe.” (15, 16. (a) Yakuwa awulira atya bwe tudda awo ne tulowooza ku bintu eby’obugwenyufu? (b) Tuyinza tutya okumanya ekyo Yakuwa ky’ayagala nga tulondawo eby’okwesanyusaamu? (c) Tuyinza tutya okusalawo obulungi ku bintu ebikulu ennyo?
15 Bayibuli eraga nti Yakuwa anakuwala bw’alaba abantu nga bakola ebintu ebibi, era ‘ng’ebirowoozo byonna eby’omu mutima gwabwe bibi ekiseera kyonna.’ (Soma Olubereberye 6:5, 6.) Okusinziira ku bigambo ebyo, tukiraba nti kikyamu okudda awo okulowooza ku bintu eby’obugwenyufu kubanga ekyo kiyinza okutuleetera okukola ebibi eby’amaanyi. Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, ga mirembe, si makakanyavu, mawulize, gajjudde obusaasizi n’ebibala ebirungi, tegasosola, era tegaliimu bunnanfuusi.” (Yak. 3:17) Okumanya ekyo kyanditukubirizza okwewala eby’okwesanyusaamu ebiyinza okutuleetera okufuna ebirowoozo ebibi n’okwegomba okubi. Abakristaayo abalina endowooza ya Yakuwa tebeetaaga kubuuza obanga basaanidde okusoma ekitabo kino oba kiri, okulaba firimu eno oba eri, n’ebintu ebirala ebirimu ebintu Yakuwa by’akyawa. Bayibuli eraga bulungi endowooza Yakuwa gy’alina ku bintu ebyo.
16 Waliwo ebintu bingi bye tusobola okusalawo mu ngeri ez’enjawulo kyokka ng’engeri ezo zonna ntuufu. Naye bwe kituuka ku kusalawo ebintu ebikulu ennyo, oluusi kiba kirungi okwebuuza ku bakadde oba ku Bakristaayo abakulu mu by’omwoyo. (Tit. 2:3-5; Yak. 5:13-15) Kya lwatu nti kiba kikyamu okugamba abalala batusalirewo. Abakristaayo basaanidde okutendeka obusobozi bwabwe obw’okutegeera era ne babukozesa. (Beb. 5:14) Ffenna tusaanidde okukolera ku bigambo bino ebyaluŋŋamizibwa: “Buli omu ajja kwetikka omugugu gwe.”—Bag. 6:5, obugambo obuli wansi.
17. Bwe tusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa, kituganyula kitya?
17 Bwe tusalawo mu ngeri etuukana n’endowooza ya Yakuwa, enkolagana yaffe naye yeeyongera okunywera. (Yak. 4:8) Atusiima era atuwa emikisa. Era ekyo kituleetera okwongera okwesiga Kitaffe oyo ow’omu ggulu. N’olwekyo, ka bulijjo tufube okukolera ku mateeka n’emisingi egiri mu Bayibuli kubanga bituyamba okutegeera endowooza ya Yakuwa. Kya lwatu nti bulijjo wajja kubangawo ebipya bye tuyiga ku Yakuwa. (Yob. 26:14) Wadde kiri kityo, ne leero bwe tufuba, tusobola okufuna amagezi, okumanya, n’okutegeera bye twetaaga okusobola okusalawo mu ngeri ennungi. (Nge. 2:1-5) Endowooza z’abantu n’enteekateeka zaabwe zijja ne zigenda, naye ng’omuwandiisi wa Zabbuli bwe yagamba: “Ebyo Yakuwa by’ateekateeka bijja kubeerawo emirembe gyonna; ebirowoozo by’omu mutima gwe bibeerawo emirembe n’emirembe.” (Zab. 33:11) Tewali kubuusabuusa nti singa tutuukanya endowooza yaffe n’endowooza ya Yakuwa, tusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi.