Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Kiki ekiyinza okuyamba Abakristaayo okumanya obanga basaanidde okuwa abakozi ba gavumenti akasiimo?
Waliwo ebintu ebitali bimu ebisaanidde okulowoozebwako. Abakristaayo balina okuba abeesigwa. Era balina okugondera amateeka ag’omu kitundu mwe babeera bwe kiba nti tegakontana na mateeka ga Yakuwa. (Mat. 22:21; Bar. 13:1, 2; Beb. 13:18) Ate era bafuba okussa ekitiibwa mu mpisa z’omu kitundu era baagala bantu bannaabwe nga bwe beeyagala. (Mat. 22:39; Bar. 12:17, 18; 1 Bas. 4:11, 12) Okukolera ku misingi egyo kirina kinene kye kikola ku ngeri Abakristaayo mu bitundu by’ensi ebitali bimu gye batwalamu eky’okuwa abalala akasiimo.
Mu bitundu by’ensi bingi, omuntu tasuubirwa kuwa mukozi wa gavumenti kintu kyonna okusobola okufuna ekyo kalina okuweebwa. Abakozi ba gavumenti, gavumenti ebasasula ssente olw’emirimu gye bakola. Tebasaba bantu ssente era tebasuubira bantu kubaako kye babawa. Mu nsi nnyingi, kimenya mateeka omukozi wa gavumenti okusaba oba okukkiriza ekintu kyonna gamba nga ssente okuva eri abantu olw’emirimu gy’abakolera. Singa aweebwa ekintu kyonna, wadde ng’aba taguliriddwa, ekyo kitwalibwa ng’okulya enguzi. Mu nsi ng’ezo kyeyoleka lwatu nti Omukristaayo tasaanidde kuwa mukozi wa gavumenti kasiimo konna.
Kyokka mu nsi omutali mateeka ng’ago oba omuli amateeka ago naye nga tebagalondoola nnyo, abakozi ba gavumenti tebakitwala nti kikyamu kugamba bantu kubaako kye babawa. Mu nsi ezimu abakozi ba gavumenti bakozesa bubi ebifo byabwe ne baggya ssente oba ebintu ku bantu be balina okuweereza, era tebakkiriza kukolera bantu kintu kyonna okuggyako nga balina kye babawadde. Abakungu ba gavumenti abagatta abafumbo, abasolooza omusolo, abagaba pamiti z’okuzimba, n’abalala bangi bagamba abantu okubaako kye babawaayo okusobola okukola ku nsonga zaabwe. Bwe batabaako kye babawa, bayinza okusalawo okukalubya ebintu oba okusalawo obutakolera bantu ebyo bye balina kubakolera. Kigambibwa nti mu nsi emu abazikiza omuliro tebakkiriza kuguzikiza okuggyako ng’abantu basoose kubaako kye babawa.
Mu bitundu enkola eyo gy’esaasaanye ennyo, abamu bawulira nti omuntu tayinza kwewala kubaako ky’awaayo okusobola okumukolera ky’ayagala. Kuv. 23:8; Ma. 16:19; Nge. 17:23.
Mu mbeera ng’eyo, ekintu oba ssente eziweebwa omukungu wa gavumenti, Omukristaayo ayinza okuzitwala nga ssente endala z’alina okusasula okusobola okufuna kye yeetaaga. Kyokka mu bitundu omuli ennyo obulyi bw’enguzi Omukristaayo alina okwegendereza ennyo okusobola okumanya ekyo ekikkirizibwa n’ekitakkirizibwa mu maaso ga Yakuwa. Waliwo enjawulo wakati w’okubaako ky’owaayo okusobola okufuna ekyo ky’oteekeddwa okufuna n’okubaako ky’owaayo okusobola okufuna ekyo ky’otolina kufuna. Ng’ekyokulabirako, singa omuntu abaako ky’awa omukungu wa gavumenti amukolere ekintu ky’atateekeddwa kumukolera oba singa abaako ky’awa owa poliisi oba omukungu omulala yenna aleme okumuweesa engassi gy’ateekeddwa okuwa, eyo eba nguzi. Kya lwatu nti kiba kikyamu okubaako ky’owa omuntu ng’olina ekigendererwa eky’okumugulirira oba okukkiriza omuntu okukuwa ekintu ng’alina ekigendererwa eky’okukugulirira. Ekikolwa ng’ekyo kiremesa ebintu okukolebwa mu ngeri ey’obwenkanya.—Abakungu ba gavumenti bwe babasaba okubaako kye babawa, Abakristaayo abasinga obungi abakulu mu by’omwoyo bawulira ng’omuntu waabwe ow’omunda tabakkiriza kuwa bakungu abo kye baba basabye. Bakitwala nti okubaako kye bawa abakungu abo baba ng’abawagira ekikolwa eky’okulya enguzi. N’olwekyo, abakungu abo bwe babasaba babeeko kye babawa, Abakristaayo abo tebakibawa.
Wadde ng’Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bakimanyi nti okubaako kye bawa omuntu okubakolera ekintu ky’atalina kubakolera kuba kulya nguzi, mu bitundu ebimu, okusinziira ku mbeera eba eriwo, kiyinza obutaba kikyamu okubaako ky’owa omuntu osobole okufuna ky’oteekeddwa okufuna oba osobole okufuna mu budde ekyo kye weetaaga. Mu mbeera ezimu, oluvannyuma lw’okujjanjabibwa ku bwereere mu ddwaliro lya gavumenti, Abakristaayo abamu babaako akasiimo ke bawa abasawo olw’okubajjanjaba obulungi. Bakabawa bamaze kubajjanjaba so si nga tebannaba kubajjanjaba baleme kulowooza nti akasiimo ako bakabawadde basobole okubajjanjaba obulungi.
Tetusobola kumenya mbeera zonna ezibaawo mu buli nsi. Naye embeera k’ebe etya, Abakristaayo bwe baba basalawo eky’okukola, basaanidde okusalawo mu ngeri eneebasobozesa okuba n’omuntu ow’omunda omulungi. (Bar. 14:1-6) Balina okwewala okukola ebintu ebimenya amateeka. (Bar. 13:1-7) Basaanidde okwewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okuleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa oba okwesittaza abalala. (Mat. 6:9; 1 Kol. 10:32) Era bye bakola bisaanidde okulaga nti baagala bantu bannaabwe.—Mak. 12:31.
Ekibiina kiyinza kitya okwoleka essanyu nga waliwo omuntu gwe balanze nti akomezeddwawo mu kibiina?
Mu Lukka essuula 15, tusoma ku lugero Yesu lwe yagera olukwata ku musajja eyalina endiga 100. Emu ku ndiga ze bwe yabula, omusajja oyo yaleka endiga 99 n’agenda okunoonya eyo eyabula ‘okutuusa lwe yagizuula.’ Yesu yagattako nti: ‘Bwe yagizuula, yagiteeka ku bibegaabega bye n’asanyuka. Bwe yatuuka eka, yayita mikwano gye ne baliraanwa be n’abagamba nti, “Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange eyali ebuze.”’ Yesu yamaliriza olugero olwo ng’agamba nti: “Ne mu ggulu ebaayo essanyu lingi olw’omwonoonyi omu eyeenenya okusinga olw’abatuukirivu 99 abateetaaga kwenenya.”—Luk. 15:4-7.
Ennyiriri eziriraanyeewo ziraga nti Yesu yayogera ebigambo ebyo ng’atereeza endowooza enkyamu abawandiisi n’Abafalisaayo gye baalina, nga bamunenya nti yali asembeza abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi. (Luk. 15:1-3) Yesu yakiraga nti wabaawo essanyu mu ggulu omwonoonyi bwe yeenenya. N’olwekyo, bwe kiba nti mu ggulu wabaayo essanyu ng’omwonoonyi yeenenyezza, ne ku nsi tewandibaddewo essanyu ng’omwonoonyi atereezezza amakubo g’ebigere bye?—Beb. 12:13.
Omuntu bw’akomezebwawo mu kibiina, tusaanidde okusanyuka. Wadde ng’omuntu oyo kiba kimwetaagisa okusigala nga mwesigwa eri Katonda, bw’aba tannakomezebwawo mu kibiina asooka kukyoleka nti yeenenyezza. N’olwekyo, tekiba kikyamu kwoleka ssanyu mu ngeri esaanidde ng’abakadde balanze nti omuntu akomezeddwawo mu kibiina.
Kiki ekyaviirangako amazzi g’omu kidiba Besuzasa ekyali mu Yerusaalemi ‘okusiikuuka’?
Mu kiseera kya Yesu, abantu abamu ab’omu Yerusaalemi baalowoozanga nti omuntu omulwadde bwe yagwanga mu mazzi g’omu kidiba Besuzasa nga ‘gasiikuuse,’ yawonanga. (Yok. 5:1-7) N’olwekyo, abantu abalwadde bangi baakuŋŋaniranga ku kidiba ekyo.
Kigambibwa nti ekidiba Besuzasa Abayudaaya baakinaabirangamu okwetukuza. Amazzi g’omu kidiba ekyo gaavanga mu kidiba ekirala ekinene ekyali okumpi awo. Abanoonyereza baakizuula nti waaliwo omukutu ogwali guva ku kidiba ekyo ekinene ne guggukira ku ntobo y’ekidiba Besuzasa. Omukutu ogwo buli lwe baaguggulanga, ng’amazzi gayingira mu kidiba Besusaza ku sipiidi eya waggulu. Ekyo kyaleeteranga amazzi g’omu kidiba ekyo okusiikuuka.
N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Yokaana 5:4, olusangibwa mu Bayibuli ezimu nga lugamba nti, malayika yakkanga mu kidiba n’atabula amazzi, terusangibwa mu biwandiiko bya Bayibuli eby’edda eby’Oluyonaani ebyesigika, gamba ng’ekyo ekiyitibwa Codex Sinaiticus ekyawandiikibwa mu kyasa eky’okuna. Naye Bayibuli eraga nti, ku kidiba Besuzasa, Yesu yawonya omusajja eyali amaze emyaka 38 nga mulwadde. Omusajja oyo yawona mbagirawo nga tasoose kuyingira mu kidiba ekyo