OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Maaki 2017
Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Maayi 1-28, 2017.
EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA
Ŋŋanyuddwa Nnyo mu Kutambula n’Abantu ab’Amagezi
Mu kiseera ky’amaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna, William Samuelson afunye emikisa mingi n’okusoomooza okutali kumu.
Wa Ekitiibwa Abo Be Kigwanira
Baani abagwanidde okuweebwa ekitiibwa, era lwaki? Bw’owa abalala ekitiibwa kikuganyula kitya?
Yoleka Okukkiriza—Era Salawo mu Ngeri ey’Amagezi!
Ebimu ku bintu by’osalawo bijja kukwata ku bulamu bwo bwonna. Kiki ekiyinza okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi?
Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna!
Asa, Yekosafaati, Keezeekiya, ne Yosiya bonna baakola ensobi. Naye Katonda yakitwala nti baamuweereza n’omutima gwabwe gwonna. Lwaki?
Onossaayo Omwoyo ku Bintu Ebyawandiikibwa?
Tulina bye tusobola okuyigira ku nsobi z’abalala, nga mw’otwalidde n’abo aboogerwako mu Bayibuli.
Okunywerera ku Mukwano Gwo Ne mu Mbeera Enzibu
Mukwano gwo ayinza okuba nga yeetaaga okuyambibwa okuddamu okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa. Oyinza otya okumuyamba?
Ensumbi ey’Edda Eriko Erinnya Eriri mu Bayibuli
Ebipapajjo by’ensumbi ey’emyaka 3,000 eyayiikuulwa mu 2012 byewuunyisa nnyo abanoonyereza. Lwaki byabeewuunyisa?