Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weewale Okutwalirizibwa Pokopoko

Weewale Okutwalirizibwa Pokopoko

OLINA omulabe akulwanyisa! Omulabe oyo ye Sitaani. Sitaani akozesa eky’okulwanyisa eky’omutawaana ennyo okukulwanyisa. Eky’okulwanyisa ekyo okusingira ddala ekikozesa okwonoona ebirowoozo byo. Kyakulwanyisa ki ekyo? Ye pokopoko.

Omutume Pawulo yali akimanyi nti pokopoko wa Sitaani wa kabi nnyo, naye Abakristaayo abamu ekyo baali tebakimanyi. Kirabika abamu ku Bakristaayo mu kibiina ky’e Kkolinso baali beekakasa ekisukkiridde nga balowooza nti baali banywevu nnyo mu mazima era nti baali tebasobola kugwa. (1 Kol. 10:12) Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yabalabula ng’agamba nti: “Ntya nti ng’omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukuusa bwagwo, nammwe ebirowoozo byammwe biyinza okwonoonebwa ne mukyamizibwa okuva ku bwesimbu n’obulongoofu ebigwanira Kristo.”2 Kol. 11:3.

Ebigambo bya Pawulo ebyo biraga nti kikulu nnyo obuteekakasa kisukkiridde. Bwe tuba ab’okwewala okwonoonebwa pokopoko wa Sitaani, tulina okukimanya nti wa kabi nnyo, era tulina okumwewala.

POKOPOKO WA KABI KWENKANA WA?

Pokopoko kye ki? Bye bigambo eby’obulimba ebikozesebwa okubuzaabuza abantu, basobole okukyusa mu ngeri gye balowoozaamu ne gye bakolamu ebintu. Ekitabo ekiyitibwa Propaganda and Persuasion kigamba nti pokopoko ‘wa mutawaana nnyo era taliimu bwenkanya. Omuntu asaasaanya pokopoko aba akola ekintu ekitali kya buntu, kubanga aba azannyira ku bwongo bw’abalala era aba agenderera okubabuzaabuza.’

Pokopoko wa kabi kwenkana wa? Pokopoko wa kabi nnyo era alinga omukka ogw’obutwa gwe tutasobola kulaba wadde okuwunyiriza. Akyusa mpolampola ebirowoozo byaffe nga n’okukitegeera tetukitegedde. Omukugu omu ayitibwa Vance Packard eyeetegereza enneeyisa y’abantu agamba nti: “Pokopoko akola kinene ku nneeyisa yaffe n’okusinga bwe tulowooza.” Omuyivu omu agamba nti: ‘Pokopoko aleetedde abantu okukola ebintu ebibi ennyo nga balinga ddala abatalowooza. Abantu beenyigira mu bintu ng’entalo, ekitta bantu, n’okuyigganya abalala olw’eddiini yaabwe oba olw’eggwanga lyabwe.’Easily Led—A History of Propaganda.

Bwe kiba nti abantu obuntu basobola okutubuzaabuza nga bakozesa pokopoko, olwo ate Sitaani? Sitaani abadde yeetegereza enneeyisa y’abantu okuviira ddala lwe baatondebwa. “Ensi yonna” eri mu buyinza bwe. Asobola okukozesa ekitundu kyonna eky’ensi ye okusaasaanya obulimba bwe. (1 Yok. 5:19; Yok. 8:44) Sitaani akuguse nnyo mu ‘kuziba amaaso g’abantu ag’okutegeera’ ne kiba nti kati ‘alimbalimba ensi yonna.’ (2 Kol. 4:4; Kub. 12:9) Oyinza otya okuziyiza pokopoko wa Sitaani?

NYWEZA AMAZIMA

Yesu yatubuulira engeri ennyangu gye tuyinza okuziyizaamu pokopoko. Yagamba nti: ‘Mumanye amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.’ (Yok. 8:31, 32) Mu lutalo, omusirikale aba alina okumanya wa w’alina okufuna obubaka obwesigika kubanga omulabe aba agezaako okusaasaanya ebigambo eby’obulimba asobole okumubuzaabuza. Kati olwo wa gy’oyinza okufuna obubaka obwesigika. Yakuwa atuwadde Ekigambo kye Bayibuli. Mu Bayibuli mwe tusobola okufuna byonna bye twetaaga okusobola okwewala okubuzaabuzibwa pokopoko wa Sitaani.2 Tim. 3:16, 17.

Ekyo ne Sitaani akimanyi. Eyo ye nsonga lwaki akozesa ensi ye okugezaako okutulemesa okusoma Bayibuli n’okugifumiitirizaako. Weewale okugwa mu katego ke ako. (Bef. 6:11) ‘Tegeerera ddala’ amazima agali mu Kigambo kya Katonda. (Bef. 3:18) Ekyo okusobola okukikola weetaaga okufuba ennyo. Ng’omuwandiisi w’ebitabo ayitibwa Noam Chomsky bwe yagamba: “Tewali muntu ajja kuteeka mazima mu bwongo bwo. Ggwe olina okugeezuulira.” N’olwekyo, ‘weezuulire amazima’ nga ‘buli lunaku ofuba okwekenneenya n’obwegendereza Ebyawandiikibwa.’Bik. 17:11.

Okusobola okwewala okutwalirizibwa pokopoko wa Sitaani, olina okukimanya nti wa kabi nnyo era n’omwewala

Kijjukire nti Sitaani tayagala okozese bulungi obusobozi bwo obw’okulowooza. Lwaki? Ekitabo ekiyitibwa Media and Society in the Twentieth Century kigamba nti: “Kyangu abantu okutwalirizibwa pokopoko singa . . . balemesebwa okulowooza obulungi.” N’olwekyo, tomala gakkiriza kintu nga tosoose kukirowoozaako bulungi. (Nge. 14:15) Kozesa obusobozi bwo obw’okulowooza n’okutegeera Katonda bwe yakuwa, osobole okunyweza amazima.Nge. 2:10-15; Bar. 12:1, 2.

SIGALA NG’OLI BUMU NE BAKKIRIZA BANNO

Abajaasi bakozesa pokopoko okumalamu amaanyi abajaasi b’eggye eddala. Bayinza okuleetera abalabe baabwe okutandika okulwanagana bokka na bokka oba okubalimbalimba ne babaleetera okweyawula ku bannaabwe. Omuduumizi omu mu ggye lya Bugirimaani yagamba nti ensonga emu eyaviirako eggye lya Bugirimaani okuwangulwa mu Ssematalo I eri nti “abalabe baakozesa pokopoko okusannyalaza abajaasi ba Bugirimaani, ng’omusota bwe gusannyalaza akamyu.” Sitaani akozesa akakodyo ke kamu ng’ayagala okumalawo obumu mu kibiina atuleetere okukivaamu. Ng’ekyokulabirako, ayinza okuleetera ab’oluganda okufuna obutategeeragana, oba okubaleetera okulowooza nti ekibiina kya Yakuwa tekibayisizza bulungi oba nti kikoze ekintu ekikyamu.

Tolimbibwalimbibwa! Kolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda osobole okusigala ng’oli bumu ne bakkiriza banno. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli etukubiriza okweyongera ‘okusonyiwagananga’ era n’okwanguwa okugonjoola obutakkaanya. (Bak. 3:13, 14; Mat. 5:23, 24) Era etukubiriza obuteeyawula ku kibiina. (Nge. 18:1) Oyinza otya okumanya obanga oli mwetegefu okuziyiza pokopoko wa Sitaani. Weebuuze: ‘Ku mulundi gwe nnasembayo okufuna obutategeeragana ne muganda wange, nneeyisa mu ngeri esanyusa Katonda oba esanyusa Sitaani?’Bag. 5:16-26; Bef. 2:2, 3.

WEEYONGERE OKWESIGA ABO KATONDA B’AKOZESA

Omusirikale ateesiga mukama we, tasobola kulwana bulungi. N’olwekyo, oluusi abalabe basaasaanya pokopoko okusobola okuleetera omusirikale obuteesiga muduumizi we. Basobola okwogera ebigambo nga bino: “Teweesiga bakama bo. Bajja kukusuula mu buzibu!” Okusobola okuleetera omusirikale okulowooza nti bye boogera bituufu, bayinza okukuliriza ezimu ku nsobi bakama be ze baba baakola. Ekyo kyennyini ne Sitaani ky’akola. Afuba okulaba nti akuleetera okulekera awo okwesiga abo Yakuwa b’akozesa okukulembera abantu be.

Osobola otya okwekuuma? Ba mumalirivu okunywerera ku kibiina kya Yakuwa n’okuwagira abo Yakuwa b’akozesa okukulembera abantu be, wadde nga tebatuukiridde. (1 Bas. 5:12, 13) Bakyewaggula oba abantu abalala abalimba bwe boogera obubi ku kibiina kya Yakuwa ne bwe kiba nti bye boogera birabika ng’ebituufu, tokkiriza ‘kutabulwatabulwa.’ (2 Bas. 2:2; Tit. 1:10) Kolera ku magezi amalungi agaaweebwa Timoseewo. Nywerera ku mazima era jjukiranga ekibiina ekyakuyamba okugayiga. (2 Tim. 3:14, 15) Mu butuufu, waliwo ensonga nnyingi ezandikuleetedde okwesiga omuddu omwesigwa Yakuwa gw’akozesezza okutuyigiriza amazima kati okumala emyaka nga kikumi.Mat. 24:45-47; Beb. 13:7, 17.

TOTYA

Kijjukire nti oluusi Sitaani pokopoko we tamusaasaanya mu ngeri nneekusifu. Omu ku pokopoko gw’akozesa kwe kuleetera abantu okutya, era ng’ono ‘y’omu ku pokopoko ezze akozesebwa okuviira ddala mu biseera eby’edda.’ (Easily Led—A History of Propaganda) Ng’ekyokulabirako, Profesa omu ayitibwa Philip M. Taylor yagamba nti, Abaasuli baawangulanga abalabe baabwe nga basaasaanya pokopoko era nga bakozesa akakodyo ak’okuleetera abalabe baabwe okutya. Ng’agezaako okukuleetera okulekera awo okuweereza Yakuwa, Sitaani ayinza okukozesa ebintu ng’okutya abantu, okutya okuyigganyizibwa, okutya okufa, oba okutya okw’engeri endala yonna.Is. 8:12; Yer. 42:11; Beb. 2:15.

Tokkiriza kugwa mu katego ka Sitaani ako. Yesu yagamba nti: “Temutya abo abatta omubiri naye ng’oluvannyuma lw’ekyo tebalina kisingawo kye bayinza kukola.” (Luk. 12:4) Weesige Yakuwa nti ajja kukukuuma era nti ajja kukuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo,” era nti ajja kukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa nga Sitaani akutiisatiisa.2 Kol. 4:7-9; 1 Peet. 3:14.

Kya lwatu nti waliwo embeera eziyinza okukuleetera okutya. Naye bw’otuuka mu mbeera ng’ezo, jjukiranga ebigambo Yakuwa bye yagamba Yoswa. Yamugamba nti: “Beera muvumu era beera wa maanyi. Totya era totekemuka, kubanga Yakuwa Katonda wo anaabeeranga naawe yonna gy’onoogendanga.” (Yos. 1:9) Bw’ofuna ebikweraliikiriza, tuukirira mangu Yakuwa mu kusaba omubuulire byonna ebikuli ku mutima. Bw’okola bw’otyo, ‘emirembe gya Katonda gijja kukuuma omutima gwo n’ebirowoozo byo’ oleme kutwalirizibwa pokopoko wa Sitaani.Baf. 4:6, 7, 13.

Lowooza ku pokopoko Labusake, omubaka wa Bwasuli, gwe yakozesa okutiisatiisa abantu ba Katonda. Yabagamba nti, ‘Tewali kiyinza kubanunula kuva mu mukono gwa Bwasuli. Ne Katonda wammwe Yakuwa tasobola kubanunula.’ Era yabagamba nti: ‘Yakuwa kennyini ye yatugamba okuzikiriza ensi eno.’ Naye kiki Yakuwa kye yagamba abantu be? Yabagamba nti: ‘Temutya olw’ebigambo bye muwulidde, abaweereza ba kabaka wa Bwasuli bye boogedde nga banzivoola.’ (2 Bassek. 18:22-25; 19:6) Oluvannyuma Yakuwa yatuma malayika we n’atta Abaasuli 185,000 mu kiro kimu!2 Bassek. 19:35.

BEERA WA MAGEZI OWULIRIZENGA YAKUWA

Wali olabyeko firimu nga waliwo omuntu gwe balimbalimba? Muli wawulira ng’oyagala okumugamba nti: ‘Bakulimba, tokkiriza bye bakugamba!’ Bwe batyo ne bamalayika bwe babeera nga Sitaani agezaako okutulimbalimba.

N’olwekyo, towuliriza pokopoko wa Sitaani. (Nge. 26:24, 25) Wuliriza Yakuwa era mwesige n’omutima gwo gwonna. (Nge. 3:5-7) Yakuwa akwagala nnyo era akugamba nti: “Mwana wange beeranga wa magezi osanyusenga omutima gwange.” (Nge. 27:11) Bw’onookola bw’otyo, tojja kubuzaabuzibwa pokopoko wa Sitaani!