Obadde Okimanyi?
Lwaki mu Isirayiri ey’edda bazadde b’omuwala baaweebwanga omutwalo?
MU BISEERA by’edda, omugole omusajja oba ab’omu maka ge waabwe baasasulanga ab’owaabwe w’omugole omukazi omutwalo, ng’amaka gombi gamaze okukkiriziganya nti abaana bafumbiriganwe. Omutwalo guyinza okuba nga gwali guzingiramu ebintu eby’omuwendo, ensolo, oba ssente. Oluusi abantu baakolanga emirimu okusobola okusasula omutwalo, gamba nga bwe kyali eri Yakobo eyakkiriza okukolera taata wa Laakeeri okumala emyaka musanvu asobole okumuwa Laakeeri amuwase. (Lub. 29:17, 18, 20) Lwaki omutwalo gwasasulwanga?
Omwekenneenya wa Bayibuli omu ayitibwa Carol Meyers agamba nti: “Omutwalo guyinza okuba nga gwasasulwanga okusobola okusasulira emirimu omuwala gye yandibadde akola egyali egy’omuganyulo ennyo eri abantu abo abaali abalimi era abalunzi.” Ate era omutwalo guyinza okuba nga gwayambangako mu kunyweza enkolagana eyali ezzeewo wakati w’amaka gombi. Enkolagana eno yabanga yamuganyulo nnyo naddala mu biseera ebizibu. Ate era omutwalo bwe gwasasulwanga bwabanga bukakafu obulaga nti omuwala agenda kuva mu mikono gya bazadde be agende mu mikono gy’omwami we.
Okusasula omutwalo kyali tekiraga nti omuwala yali kintu kya maguzi ekyali kiyinza okutundibwa oba okugulibwa. Ekitabo ekiyitibwa Ancient Israel—Its Life and Institutions kigamba nti: “Okuba nti ab’ewaabwe w’omuwala baalinanga okusasulwa ssente oba ebintu kiyinza okuleetera omuntu okulowooza nti omuwala yabanga atundiddwa butundibwa. Naye kirabika omutwalo tegwabanga gwa kusasulira muwala, wabula kusasula ab’omu maka ekyo kye babanga bafiiriddwa.”
Leero mu nsi ezimu, bazadde b’omuwala bakyasasulibwa omutwalo. Abazadde Abakristaayo bwe baba basaba omutwalo bafuba okulaba nti: ‘Obutali bukakanyavu bwabwe bweyoleka eri abantu bonna’ nga tebasaba ssente nnyingi oba bintu bisukkiridde. (Baf. 4:5; 1 Kol. 10:32, 33) Bwe bakola bwe batyo, baba bakiraga nti: ‘tebaagala nnyo ssente,’ oba si ba mululu. (2 Tim. 3:2) Ate era abazadde Abakristaayo bwe batasaba ssente nnyingi oba bintu bingi, kisobozesa omusajja obutongezaayo kiseera kya kuwasa olw’okuba alina okusooka okunoonya ssente ez’okusasula omutwalo. Ate era omusajja tajja kulekayo kuweereza nga payoniya olw’okuba alina okusooka okukola ennyo asobole okufuna ssente ez’okusasula omutwalo.
Mu bitundu ebimu eby’ensi, gavumenti ze zigereka omutwalo omuntu gw’alina okusasula. Ekyo bwe kiba kityo, abazadde Abakristaayo baba balina okugondera etteeka eryo. Lwaki? Kubanga Ekigambo kya Katonda kiragira Abakristaayo ‘okugonderanga ab’obuyinza’ n’okugonderanga amateeka agateekebwawo kasita gaba nga tegakontana na mateeka ga Katonda.—Bar. 13:1; Bik. 5:29.