OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Febwali 2020

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Apuli 6–Maayi 3, 2020.

Yakuwa Kitaffe Atwagala Nnyo

Tuli bakakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu atwagala nnyo, atufaako, era nti tasobola kutwabulira.

Twagala Nnyo Kitaffe Yakuwa

Lowooza ku bintu ebimu bye tusobola okukola okulaga nti twagala Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu atufaako.

Noonya Emirembe nga Weewala Obuggya

Oluusi tuyinza okufuna obuggya. Laba ebintu ebitali bimu ebisobola okutuyamba okwewala obuggya tusobole okuba mu mirembe n’abalala.

Leka Yakuwa Akugumye

Kaana, omutume Pawulo, ne Kabaka Dawudi baalina ebibeeraliikiriza. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yababudaabudamu era n’abagumya?

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Okuyigira ku Bantu Abassaawo Ekyokulabirako Ekirungi Kinviiriddemu Emikisa

Léonce Crépeault ayogera ku ngeri ekyokulabirako ekirungi abantu abaaweereza Yakuwa n’obwesigwa kye bassaawo gye kyamuyambamu okuvvuunuka ebintu bye yali atya n’asobola okufuna emikisa mingi mu myaka 58 gy’amaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna.

Obadde Okimanyi?

Ebintu eby’edda ebyayiikuulwa bikakasa bitya ekifo Berusazza kye yalina mu Babulooni?