Obadde Okimanyi?
Amakuŋŋaaniro gaatandikawo gatya?
EKIGAMBO “ekkuŋŋaaniro” kyavvuunulwa okuva mu kigambo ky’Oluyonaani ekitegeera “olukuŋŋaana” oba “okukuŋŋaana awamu.” Erinnya eryo lituukirawo kubanga okuviira ddala mu biseera eby’edda amakuŋŋaaniro gabadde bifo Abayudaaya mwe bakuŋŋaanira okusinza. Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya tebyogera butereevu ku makuŋŋaaniro, naye okusinziira ku Byawandiikibwa eby’Oluyonaani kyeyoleka kaati nti ekyasa ekyasooka E.E. we kyatuukira amakuŋŋaaniro gaali gaatandika dda okukozesebwa.
Abanoonyereza abasinga obungi bagamba nti amakuŋŋaaniro gaatandikawo mu kiseera ng’Abayudaaya bali mu buwambe mu Babulooni. Ekitabo Encyclopaedia Judaica kigamba nti: “Olw’okuba Abayudaaya abaali mu buwambe tebaalina yeekaalu mu nsi engwira gye baalimu, baakuŋŋaananga wamu olumu n’olumu oboolyawo ku Ssabbiiti ne basoma Ebyawandiikibwa basobole okubudaabudibwa olw’ennaku gye baalina.” Bwe baamala okuteebwa okuva mu buwambe, kirabika Abayudaaya beeyongera okukuŋŋaana awamu okusaba n’okusoma Ebyawandiikibwa era ne bassaawo amakuŋŋaaniro yonna gye baagenda.
Ekyasa ekyasooka E.E. we kyatuukira, Abayudaaya abaali mu bitundu ebyetoolodde Ennyanja Meditereniyani, mu nsi za Buwalabu, ne mu Isirayiri, baali bakozesa amakuŋŋaaniro okusinza n’okukola ebintu ebirala ebikwata ku bulamu obwa bulijjo. Profesa Lee Levine owa yunivasite emu ey’omu Yerusaalemi agamba nti: “[Amakuŋŋaaniro] gaakozesebwanga ng’ebifo eby’okuyigiririzaamu, eby’okuliiramu ebijjulo ebitukuvu, eby’okuwozesezaamu emisango, eby’okuterekamu ssente ez’okukola ku mirimu egitali gimu, era baagafunirangamu n’enkuŋŋaana ezikwata ku by’obufuzi ne ku bintu ebya bulijjo. Naye ekintu ekisinga obukulu ekyakolebwangayo kwe kusinza.” N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Yesu yateranga okugenda mu makuŋŋaaniro. (Mak. 1:21; 6:2; Luk. 4:16) Yayigirizanga abantu abaabeerangayo era n’abazzaamu amaanyi. Oluvannyuma lw’ekibiina Ekikristaayo okutandikibwawo, omutume Pawulo naye yabuulirira nnyo mu makuŋŋaaniro. Abantu abaali bettanira eby’omwoyo, baagendanga mu makuŋŋaaniro. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo bwe yayingiranga mu kibuga, yateranga kusooka kugenda mu kkuŋŋaaniro n’abuulira abaabangayo.—Bik. 17:1, 2; 18:4.