OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 5 2016 | Ani Ayinza Okutubudaabuda?
Ffenna twetaaga okubudaabudibwa okuva eri Katonda, naddala nga tufunye ebizibu. Ebitundu bino binnyonnyola engeri Katonda gy’atubudaabudamu nga tufunye ebizibu.
OMUTWE OGULI KUNGULU
Ffenna Twetaaga Okubudaabudibwa
Ani ayinza okutubudaabuda nga tufunye ebizibu, gamba ng’okufirwa omuntu waffe, omulimu gwaffe, okulwala, oba ng’obufumbo bwaffe busattulukuse?
OMUTWE OGULI KUNGULU
Engeri Katonda gy’Atubudaabudamu
Ebintu bina ebiyamba abantu nga balina ebizibu.
OMUTWE OGULI KUNGULU
Okubudaabudibwa mu Biseera Ebizibu
Engeri abantu gye baabudaabudibwamu nga bafunye ebizibu.
KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE
“Olutalo lwa Yakuwa”
Kiki ekyayamba Dawudi okuwangula Goliyaasi? Biki bye tuyigira ku Dawudi?
Ebikwata ku Dawudi ne Goliyaasi—Ddala Bituufu?
Abantu abamu babuusabuusa obanga ebintu ebyo ddala byaliwo. Batuufu?
BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW'ABANTU
Nnali Mukambwe era Wa Fujjo
Kiki ekyaleetera omuvubuka ow’e Mexico eyali ow’efujjo okukyusa enneeyisa ye?
Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
Abantu balina endowooza za njawulo ku Bwakabaka bwa Katonda. Naye, kiki ddala Ebyawandiikibwa kye bigamba ku nsonga eyo? Eky’okuddamu kiyinza okukwewuunyisa.
Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa
Kikulu Okusaba? Katonda Anaddamu Essaala Zange?
Katonda okuddamu essaala zo, kisinziira nnyo ku ggwe.