Emikisa Abo Abagondera Katonda Gye Bajja Okufuna
Nnabbi Musa yagamba nti bwe tugondera Katonda, Katonda ajja kutuwa emikisa. (Ekyamateeka 10:13; 11:27) Tetugondera Katonda olw’okuba tutya nti ajja kutubonereza. Engeri ennungi Katonda z’alina zituleetera okumugondera olw’okuba tumwagala era tetwagala kukola kintu kyonna kiyinza kumunyiiza. “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye.”—1 Yokaana 5:3.
Naye okugondera Katonda kiyinza kutuganyula kitya?
1. BWE TUGONDERA KATONDA TUFUUKA ABANTU AB’AMAGEZI
“Nze Yakuwa, nze Katonda wo, akuyigiriza osobole okuganyulwa, akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata.”—ISAAYA 48:17.
Yakuwa, Omutonzi waffe, atumanyi bulungi era atuwa obulagirizi bwe twetaaga. Bwe tuba twagala ebyo by’atuyigiriza bituyambe okusalawo obulungi, tulina okusoma Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ne tumanya by’ayagala tukole era ne tubikola.
2. BWE TUGONDERA KATONDA TUBA BASANYUFU
“Abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!”—LUKKA 11:28.
Leero, abantu bangi bakolera ku Kigambo kya Katonda era basanyufu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku musajja omu abeera mu Sipeyini, eyali omukambwe ennyo era eyayisanga obubi abalala, nga mw’otwalidde ne mukyala we. Lumu yasoma ku Yusufu mutabani wa Yakobo, mu kimu ku bitabo nnabbi Musa bye yawandiika. Yusufu yatundibwa mu buddu, baamuyisa bubi, era yasibibwa mu kkomera; kyokka, yasigala mukkakkamu, era yasonyiwa abo abaamuyisa obubi. (Olubereberye, essuula 37-45) Omusajja oyo yagamba nti: “Okufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yusufu kyannyamba okuba omuntu omukkakkamu, ow’ekisa, era n’okuyiga okwefuga. Era kati ndi musanyufu.”
Mu Byawandiikibwa Ebitukuvu mulimu obulagirizi obulala obukwata ku ngeri gye tusaanidde okuyisaamu abalala. Ka tulabe ensonga eyo mu bujjuvu mu kitundu ekiddako.