‘Katonda Akufaako’
Abantu abalala bonna ne bwe bakwabulira, waliwo atayinza kukwabulira. Y’ani oyo?
Kabaka Dawudi yagamba nti: “Kitange ne mmange ne bwe banjabulira, Yakuwa ajja kumbudamya.”—Zabbuli 27:10.
Yakuwa ye “Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna, atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.”—2 Abakkolinso 1:3, 4.
‘Mumukwase byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.’—1 Peetero 5:7.
Okumanya ebisingawo ku ngeri Katonda gy’akufaako, laba essomo 8 ery’ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Osobola n’okukifuna ku www.isa4310.com/lg