“Abawombeefu Balisikira Ensi”
Ffenna tulabye obutali bwenkanya, era abantu ababi banyigiriza abo abafuba okukola ebirungi. Olowooza ekiseera kirituuka ebikolwa ebibi n’obutali bwenkanya ne biggwaawo?
Mu Zabbuli 37, Bayibuli eddamu ekibuuzo ekyo, era etuwa amagezi agasobola okutuyamba ne mu kiseera kino. Weetegereze engeri zabbuli eyo gy’eddamu ebibuuzo bino.
Twandikoze ki singa tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya?—Olunyiriri 1, 2.
Kiki ekinaatuuka ku bantu ababi?—Olunyiriri 10.
Abo abakola ebirungi banaafuna mpeera ki?—Olunyiriri 11, 29.
Kiki kye tusaanidde okukola kati?—Olunyiriri 34.
Ebisuubizo bya Katonda ebiri mu Zabbuli 37 biraga nti abo ‘abateeka essuubi lyabwe mu Yakuwa era ne batambulira mu kkubo lye,’ ebiseera byabwe eby’omu maaso bijja kuba birungi. Abajulirwa ba Yakuwa baagala okukuyamba okuyiga Bayibuli, ebiseera byo eby’omu maaso n’eby’ab’omu maka go bisobole okuba ebitangaavu.